TOP

Ab'e Mukono bayonjezza ekibuga okulwanyisa endwadde eziva ku bujama

By Musasi wa Bukedde

Added 6th July 2019

Omukungu wa Ssaabasajja Ffeffeka Sserubogo yeegasse ku batuuze b'e Mukono okuuyonja ekibuga nga balindirira Kabaka n'okulwanyisa endwadde eziva ku bujama

Kabaka3webuse 703x422

Omukungu wa Kabaka Ffeffeka Sserubogo (mu ssuuti) n'abatuuze nga balongooza ekibuga Mukono

Bya Madinah Sebyala

Omukungu wa Kabaka yeetabye mu kuyonja ekibuga Mukono

Omukungu wa Kabaka Ffeffeka Sserubogo yeegasse ku bavubuka abeegattira mu kibiina kya Hope for Life ne bayonja ekibuga Mukono nga beetegekera okulambula kwa Kabaka e Bugerere n'okugoba endwadde eziyinza okuva ku bucaafu.  

Sserubogo, omukiise e Mmengo okuva mu Ssaza ly’e Kyaggwe akulembedde abavubuka ne batalaaga Mukono nga bwe bagogola emyala, okulonda kasasiro mu maduuka, obutale n’ebifo byonna e Mukono.

Ssentebbe w'ekibiina kya Hope for Life Enock Kalazungu yagambye nti, kizibu okutuuka ku nkulaakulana ng’omuntu w'asula ne w'akolera wacaafu kubanga ssente ze yandibadde atereka okugenda mu maaso ate azimalira mu ddwaaliro. 

Sserubogo agamba nti, okuyonja kuno bakukoledde mu kiseera ekituufu nga beetegekera omutanda agenda okulambula Essaza lye ery’e Bugerere n'agamba nti, abavubuka bwe beetaba mu buyonjo kiwa omukisa munene eri eggwanga okwegobako endwadde kubanga nnyingi ziva ku bucaafu ate ng’abavubuka bangi era be bamu abasinga okuzisaasaanya.

Era bagamba nti, kya bugunjufu buli muntu okuyonja w'akolera n’okusula kisobozese abantu okutangira endwadde.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Story 220x290

Bamukubye kalifoomu ne bamuwamba...

POLIISI y'omu Bbuto ekisangibwa e Bweyogerere mu munisipaali y'e Kira eronze omuwala Joan Nagujja (32) mu kiwonvu...

Wanika1 220x290

'Okusomesa abaana eddiini kye ky'okulwanyisa...

AKULIRA yunivasite y’Abasiraamu asabye Bannayuganda okukosomesa abaana eddiini ng’ekyokulwanyisa okumalawo ebikolobero...

Card1 220x290

Kiki ekifuna sizoni eno?

Obadde okimanyi nti ku 40,000/= osobola okutandika bizinensi ya Success Cards ne wenogera ensimbi?!

Uneb3 220x290

Ebigezo by'e Mbarara byatuukidde...

Ebigezo bya S4 ebya UCE byatuusidwa ku Poliisi y'e Mbarara nga bikuumibwa butiribiri abaserikale ba miritale...

Exams3 220x290

Ebibuuzo bya UCE 2019 bitandise...

Ebibuuzo bya S4 bitandise na kigezo kya Physics Practicals.