TOP

By'olina okutunuulira nga tonnakola masaagi

By Musasi wa Bukedde

Added 18th July 2019

Nakola masaagi ne ntemwako okugulu era ntambulira mu kagaali - Dr. Karuhanga

Massagebeingdonewebuse 703x422

Omukulu ng'akola masaagi ku feesi y'omukyala

Bya Stella Naigino

Abantu abasinga okwettanira masaagi babeera baagala ebinywa n’emisuwa gyabwe okunyigibwa mu ngeri ey’ekikugu olwo gikkakkane, naye kino bwe kikolebwa nga tokebedde mubiri gwo kumanya bwe guli oyinza okufuna obuzibu.

Dr. Vincent Karuhanga alaga bwe yafuna oluvannyuma lw’okukola masaagi ekyavaako okutemwako okugulu nga kati atambulira mu kagaali. Annyonnyola nti, lumu yava ku mulimu n’asalawo okugenda okukola dduyiro  era bwe yamaliriza n’akola ne masaagi.

Wabula mu kumunyiganyiga yawulira obulumi mu kugulu ne bugenda nga bweyongera kwe kugenda mu ddwaaliro eddene. Omusawo yankebera ne bazuula ng’amasavu gaatambula ne gaziba omusuwa ogumu era okuva olwo obulamu bwakyuka. Nasindikibwa mu China gye bansalirako okugulu, era ne mmanya n’ebimu ku muntu by’alina okukola nga tannakola masaagi okuli:

mukugu ngakola masaagi womugongoOmukugu ng'akola masaagi w'omugongo

 

  1.  Weekebeze puleesa: Olina okwekebeza puleesa n’omanya obungi bw’amasavu agali mu mubiri gwe n’omanya oba okkirizibwa okukola masaagi oba nedda.
  2.  Weekebeze omusaayi: Dr. Steven Mukasa agamba nti, abantu abamu balina omusaayi ogwakwata obukulungwa nga omukugu mu kukola masaagi ye yekka alina okumukolako okwewala okutambuza obuwulungwa buno.
  3. Weekebeze sukaali: Kyangu omuntu alina ssukaali okuzirika nga bamukola masaagi kuba ayinza okulinnya oba okukka.

Brian Ssemanda ng’akola masaagi agamba nti, abantu balowooza okunyiganyiga omubiri kubeera kukkakkanya bulumi kyokka wabula nga lino ddagala ssinga abeera akoleddwa mukugu.

 r incent aruhanga yatemwako okugulu lwa masaagi omukyamu Dr. Vincent Karuhanga yatemwako okugulu lwa masaagi omukyamu

 

Masaagi wa bika bingi ng’akolebwa mu ngeri ez’enjawulo okusinziira ku kiruma omuntu.

Wabula ono alina kukolebwa mukugu kuba waliwo ebitundu ebitalina kukwatibwako naddala ensingo kuba erina emisuwa mingi.

 

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Got2 220x290

Obadde okimanyi nti butto w’ekisubi...

Obadde okimanyi nti butto w’ekisubi akola ku musujja mu bantu, enkoko n’ebisolo ? Soma wano mu mboozi y'omukenkufu...

Lab2 220x290

Bawadde endowooza ku Ssemateeka...

Bawadde endowooza ku Ssemateeka

Kcca1 220x290

Mutebi awawudde abazannyi be

Lwokutaano, KCCA yeetegekera kuddiηηana ne African Stars ey'e Namibia, mu CAF Champions League e Lugogo. Mu gwasooka,...

Aviv 220x290

Aviv akubye ku mattu

Aviv, eyamenyekera mu kutendekebwa mu Amerika omwezi oguwedde wabula kati ali mu mbeera nnungi ng’era empaka za...

Kip2 220x290

Kkooti ewadde Lukwago obukadde...

Kkooti ewadde Lukwago obukadde 600