TOP

Kw'olabira amaaso ageetaaga okujjanjabwa omusawo

By Musasi wa Bukedde

Added 19th July 2019

Kebeza amaaso go buli mwaka okutangira obuzibu okusajjuka ssinga gabeera malwadde

Eyeclinicwebuse 703x422

Omusawo ng'akebera amaaso g'omwana

Bya Norah Mutesi 

Oluusi amaaso gakusiiwa n’ogatakula, tosobola kulengera bintu ebikuli ewala? Ako kabonero akalaga nti, amaaso go galina obuzibu bwe weetaaga okutwala ew’omusawo okukujjanjaba.

By’olina okukola okukuuma amaaso go nga malamu

Dr. Febin Keloth Moidu, omukugu w’amaaso ku Dr. Agarwal’s Eye Hospital mu Kampala, agamba nti fuba okulaba nga w’osomera ebitabo byo, ekitangaala ekiriwo kimala bulungi, nga si kya maanyi ate nga si kitono.

 musawo ngagezesa omulwadde okulaba oba asobola okusoma obulungi ennukuta Omusawo ng'agezesa omulwadde okulaba oba asobola okusoma obulungi ennukuta

 

Moidu agattako nti, oteekeddwa okwambala gaalubindi eziziyiza amaaso okukubibwamu omusana, era nga gaalubindi ezo baziyita ‘Antiglare glasses’.

Alabula obutatakula maaso naddala ssinga gakusiiwa ekisusse, wabula ganaabe n’amazzi agatukula, bwe gagaana okutereera genda mu ddwaaliro okeberebwe.

 Jackie Lalam, naye owa Dr. Agarwal’s Eye Hospital agamba nti,  toteekeddwa kumala bbanga ddene ku kompyuta oba ku ttivvi kubanga ekyo kigalwaza.

 mulwadde ngapimibwa amaaso okufuna gaalubindi Omulwadde ng'apimibwa amaaso okufuna gaalubindi

 

“Temereza amaaso go buli luvannyuma lw’obutikitiki 20 kigakuume nga malamu bulungi kuba olwo obeera ogakozesa dduyiro,” Lalam bw’agamba.

Samuel Kirabo, akolera ku Dr. Agarwal’s eye hospital agamba nti kirungi abantu okunywa buli lunaku n’enva endiirwa nga nnakati, era nakyo kiyambe amaaso okubeera amalamu.

Kirabo akubiriza abantu abali wakati w’emyaka 40 n’okudda waggulu okugendanga okwekebeza amaaso omulundi gumu buli mwaka okugatangira okusajjuka ssinga gabeera galwadde.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Awar 220x290

Owa Bukedde awangudde engule

Bannamawulire n’abayimbi bawangudde engule mu mpaka za Rising Star Awards

6 220x290

Yiga bwe bafumba enkoko erimu enniimu...

Yiga bwe bafumba enkoko erimu enniimu

Omumyuka 220x290

Pulezidenti Museveni teyeeyibaala...

OMUBAKA wa Busiro East mu palamenti, Medard Lubega Sseggona ategeezezza Pulezidenti Museveni nti teyeeyibaala nti,...

Kutte1 220x290

Nakibinge akunyizza Haruna Kitooke...

JJAJJA w’Obusiraamu, Omulangira Kassim Nakibinge, Omulangira Kakungulu Kalifaani, Sheikh Nuuhu Muzaata ne bamaseeka...

And 220x290

Tondaba akanyiriro embeera mbi...

HARUNA alombojjedde Sipapa ebizibu by’ensimbi byatubiddemu olw’okwenyigira mu by’obufuzi.