TOP

Ab’ebyobulamu bafuuzizza abatalina kaabuyonjo e Mpatta

By Musasi wa Bukedde

Added 25th July 2019

Abatuuze amaaso gabamyuse nga poliisi ebatwala okubaggalira oluvannyuma lw'okusangibwa nga tebalina kaabuyonjo ne beewozaako nti baazimba ku lwazi

Abaserikalebapoliisingabatwalaabatasinganiddwanakabuyonjokupoliisiwebuse 703x422

Poliisi ng'etwala omukadde eyasangiddwa nga talina kaabuyonjo

Bya Joanita Nakatte
Abatuuze ku byalo Gobero ne Kabanga mu ggombolola y’e Mpatta mu disitulikiti y’e Mukono boolekede okulumbibwa obulwadde obuva ku bujama ekiwalirizza ab’ebyobulamu mu ggombolola eno okukola ekikwekweto okufuuza abatalina kaabuyonjo.

Bano abaawerekeddwaako Poliisi baazinzeeko abatuuze era bangi abaasangiddwa nga tebalina kaabuyonjo, bakira bababuuza gye beeyambira nga batunula abalala ne badduka n’okweggalira mu mayumba gaabwe ekyawalirizza Poliisi okubakukunulayo wakati mu maziga.

Abamu ku batuuze beekwasizza njazi era ne bategeeza ng’okusima kaabuyonjo bwe kuli okw’ebbeeyi kyokka nga tebalina ssente ne bongerako nga bwe batali basanyufu olw’okubaggalira ennyumba zaabwe, ebbaala n’amasinzizo.

 muserikale ngayaza omutuuze eyabadde akwatiddwa olwobutaba na kaabuyonjo Omuserikale ng'ayaza omutuuze eyabadde akwatiddwa olw'obutaba na kaabuyonjo

 

“Kaabuyonjo z’ewaffe bazisimira ssente mpitirivu ng’olwo byonna biwedde omalira mu 2,000,000/- ze tutalina. Nga tebannatuggala bandisoose kuzuula bye batugamba nga bisoboka baleme kutuleka nga tetulina wa kwebaka,” abamu ku batuuze bwe baategeezezza.
Mu baayaziddwa mwasangiddwaamu abalina enjaga mu nsawo ne batwalibwa ku poliisi ekyaleeseewo akajagalalo olw’abamu obutakkiriza kubakwata ekyawalirizza poliisi okukuba amasasi mu bbanga.
Akulira ebyobulamu ku ddwaaliro lya Gavumenti erya Kabanga Health Centre III Margaret Kisakye yannyonnyodde nti, abalwadde abasinga okujjanjabwa e Kabanga babeera n’endwadde ezeekuusa ku bujama olw’abasinga obungi obutaba na kaabuyonjo, nga n’amazzi ge banywa nago tebafaayo kugafumbako.

 mutuuze ngasobeddwa oluvannyuma lwekikwekweto Omutuuze ng'asobeddwa oluvannyuma lw'ekikwekweto

 

Clare Naluwu, atwala omuluka gw’e Kabanga yagambye nti ekyabakozesezza ekikwekweto kino kya kulwanyisa obujama mu batuuze n’okulwanyisa endwadde ezibatigomya.
Paul Isabirye, akulira ebyobulamu mu ggombolola y’e Mpatta yategeezezza ng’abantu mu ggombolola eno bwe batamanyi mugaso gwa kaabuyonjo nga batuuse ku maka mangi ag’amaanyi naye nga tegalina kaabuyonjo n’asaba ab’ebyobulamu okubategekera emisomo egyekuusa ku nsonga nga zino ku lw’obulungi lw’obulamu bw’abantu b’ekitundu ekyo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

760c92ca9f694295837ec90b52ac134f 220x290

Ssekiboobo aziikiddwa mu kitiibwa...

Omwami wa Kabaka ow'essaza ly'e Kyaggwe eyawummula, Ssekiboobo Alex Benjamin Kigongo Kikonyogo olwaleero aziikiddwa...

A84388d55eaa4efa9fcc00052969dc53 220x290

Omuyimbi Grace Ssekamatte alwanaganye...

Omuyimbi Grace Ssekamatte omu ku ba dayirekita ba Golden band asiibuddwa okuva mu ddwaaliro gy’amaze wiiki nnamba...

Cor 220x290

Beerumirizza okusaddaaka owabbooda...

OMUTUUZE eyasaddaakiddwa ne bamusuula mu kinnya okumpi n’ekyuma ky’omugagga Ephraim Bbosa, akwasizza abantu bana...

Tra 220x290

Eddagala lya ARV’S lisobola okulwanyisa...

OLWALEERO tewali ddagala ttuufu lyazuuliddwa okuba nga lijjanjaba obulwadde bwa COVID 19 .

Tabu 220x290

Ziizino endwadde endala ezirina...

ABANTU 44 baakakasiddwa mu Uganda nga balina ssennyiga omukambwe (coronavirus) era bajjanjabwa nga n’abalala bateekeddwa...