TOP

Mulekere awo okunywesa abaana amata g’ente

By Musasi wa Bukedde

Added 8th August 2019

Abakyala abanywesa amata g'ente ku nywanto mubasindika kufuuka bawandwadde

Breastfeeding1webuse 703x422

Minisita Moriku n'abakungu ba minisitule y'ebyobulamu ng'ayogera ku kuyonsa abaana

Bya Paul Kakande

Minisita omubeezi ow’ebyobulamu ebisookerwako, Dr. Joyce Moriku akubirizza abakazi abazadde okulekeraawo okuwa abaana abatannaweza myezi mukaaga  amata g’ente kubanga galimu ebiriisa bitono ku ebyo omwana omuto bye yeetaaga.

Minisita ategeezezza nti, waliwo abazadde abatafaayo ku bulamu bw’abaana baabwe mu kifo ky’okubayonsa obulungi basalawo kweyambisa mata g’ensolo n’emmere enkolerere okubaliisa y’ensonga lwaki abaana balwalalwala nga kino kiva ku kubeera nti emibiri gyabwe tegifuna mmere emala.

“Amata g’ente ge mwesibako omugaso omukulu ogulimu masavu naye ebiriisa ebirala ebyetaagibwa omwana okusobola okukula obulungi tebiriimu. Abantu abamu munywesa abaana bammwe amata ne bagejja ne mulowooza nti baba bulungi so ng’ebiriisa ebirala baba tebabifunye kye muva mulaba bwe balumbibwa endwadde zibakosa”.

Okuyonsa kikulu era omukyala asaana okuyonsa omwana we mu ssaawa emu nga yaakamuzaala ate era alina okuyonseza emyezi mukaaga nga tannamuwa kyakulya kyonna okuggyako amabeere kubanga amata ga maama gabeeramu ebirungo byonna ate nga biteeketeeke bulungi okusobola okukuza omwana nga mulamu bulungi. Kyokka ne bw’aba atandise okubaako ebirala by’omuliisa kikulu okumuyonsa emirundi egitakka wansi w’etaano mu lunaku okumala emyaka ebiri.

Minisita era ategeezezza nti, waliwo ebitongole ebityoboola eddembe ly’abakyala nga tebibakkiriza kuzaala ate ebirala tebibakkiriza kuwummula nga bazadde ekikyamu era tutandise okunoonyereza ku nsonga eyo gwe tunaakwatako waakuvunaanibwa.

Gavumenti eri mu kuteekateeka okulaba ng’ebbanga eriweebwa bannakawere okuwummula lyongerwako n’ery’abasajja okusobola okuyonsa obulungi abaana.

Amakampuni agatunda emmere y’abaana abato tugalabula okukomya okutimba ebipande mu malwaliro n’okulangirayo kubanga basigudde abantu bangi ne bava ku kuyonsa  ekivaako abaana abamu okufa.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sevo 220x290

Museveni ayongedde ggiya mu kulwanyisa...

PULEZIDENTI MUSEVENI ayongedde ggiya mu kulwanyisa abali b’enguzi era n’awa amagezi abawa abantu emirimu mu bitongole...

Ppp2 220x290

Abantu 20 be bafa obulwadde bw'akafuba...

Bebe Cool akoowoodde Bannayuganda okumwegattako mu kulwanyisa obulwadde bw’akafuba emu ku ndwadde zi nnamutta mu...

Ucumussanyu9214 220x290

UCU Lady Canons ewangudde n'edda...

JKL Dolphins yeetaaga kuwangula nzannya bbiri ku UCU Lady Canons okusitukira mu kikopo kya sizoni eno.

Hat12 220x290

Bebe Cool atongozezza Kampeyini...

Bebe Cool atongozezza Kampeyini y'okulwanyisa TB oluvannyuma lw'okusaka ensimbi ezikunukkiriza obuwumbi bubiri...

Freskid10 220x290

Fresh Kid akunze abato okweyiwa...

Fresh Kid akyaddeko ku kitebe kya Vision Group n'akunga abazadde okuleeta abaana baabwe mu kivvulu kya Toto Christmas...