TOP
  • Home
  • Asiika Obulamu
  • Abalwanirizi b'eddembe batutte eddwaaliro ly'abakyala e Mulago mu kkooti

Abalwanirizi b'eddembe batutte eddwaaliro ly'abakyala e Mulago mu kkooti

By Musasi wa Bukedde

Added 9th August 2019

Ab’ekibiina ekirwanirira eddembe ly’abantu kigenze mu kkooti olwa Mulago w’abakyala okusasuza abagendayo ssente ng'ate ssente z'omuwi w'omusolo ze zaalizimba kye bagambye nti kuba kuwa musolo mirundi ebiri

Img20190809102236webuse 703x422

Abakyala nga bawanise ebipande ebiwakanya okusasulira eddwaaliro lya Mulago w'abakyala nga bagenzeeyo okujjanjabwa

Bya Norah Mutesi

Ab’ekibiina ekirwanirira eddembe ly’abantu ekya Center for Human Rights Initiative (CEHURDI) bawaabidde Mulago ajjanjabirwamu abakyala n’abaana ku kkooti enkulu.

Ensonga ekubizza eddwaaliro lino mu mbuga, ya kusasuza bantu ssente  ate nga lyeyita lya Gavumenti.

Kigambibwa nti, omuntu okufuna obujjanjabi mu ddwaaliro lino ateekeddwa okusasula omutemwa gw’ensimbi, okusinziira ku bujjanjabi bw’aba yeetaaga.

Noor Nakibuuka, Dayirekita w’ebikolebwa ku CEHURDI agamba nti, okusasuza abantu ssente mu ddwaaliro lya Gavumenti, kuba kubasasuza musolo gwa mirundi ebiri.

“Ffenna tumanyi nti ssente ezeewolebwa, tuzisasula mu musolo, kati lwaki ate abantu basasula endala okufuna obujjanjabi, eyo teba kutusasuza musolo mirundi ebiri?,” Nakibuuka bwe yabuuzizza.

Nakibuuka agamba nti, obuwumbi obusukka 92,583,750,000 bwewolebwa okuzimba eddwaaliro lino naye engeri gye zisasulibwa mu musolo, tekyetaagisa kusasuza ssente ndala.

Agattako nti, newankubadde Kiruddu ne Kawempe gye gali, naye obujjanjabi obumu tegabulina ate ng’abantu babwetaaga.

CEHURDI ekoowodde Paalamenti okuvaayo ne bannamateeka n’abalala abalumirwa Bannayuganda okwesowolayo okuwakanya ssente zo.

Okwo aba CEHURDI bagasseeko nti okusasuza ssente kuleeta obusosoze mu balina ssente n’abatalina kubanga kitegeeza nti, abatalina ssente si baakufuna bujjanjabi mu ddwaaliro eryo, ate nga nabo basasula omusolo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kab18 220x290

Kabaka ayimirizza abakozi b’e Mmengo...

Kabaka ayimirizza abakozi b’e Mmengo

Sam13 220x290

Minisita Sam Kuteesa awadde ab'e...

Minisita Sam Kuteesa awadde ab'e Mawogola Ambulance n'ebimotoka by'amazzi mu kaweefube w'okutangira COVID-19

Rob12 220x290

Abavubi ku mwalo gw'e Kawunge bataddewo...

Abavubi ku mwalo gw'e Kawunge bataddewo embeera y'okulwanyisa COVID-19

Dav1 220x290

Mukyala w'omuyimbi Davido akwatiddwa...

Mukyala w'omuyimbi Davido akwatiddwa ekirwadde kya Coronavirus

Thequeeneliabethiienglandcrowntodaynewslatestroyalfamily1180775 220x290

Kkwiini akkakkanyizza emitima gy'abantu...

Kkwiini akkakkanyizza emitima gy'abantu