TOP
  • Home
  • Asiika Obulamu
  • Ab'e Kabowa batudde ku bbomu lwa kaabuyonjo ezikulukutira mu mayumba gaabwe

Ab'e Kabowa batudde ku bbomu lwa kaabuyonjo ezikulukutira mu mayumba gaabwe

By Vivien Nakitende

Added 13th August 2019

Kaabuyonjo ezijjude nga zikulukutira mu mayumba g'abatuuze, n'okukwata mu mbinabina zisuza abatuuze b'e Kabowa bakukunadde olw'okutya okulumbibwa endwadde eziva ku bujama

Toile3webuse 703x422

Omutuuze ng'alaga kaabuyonjo ejjudde ebituli

Bya Vivien Nakitende  

Abatuuze b’e Kabowa batudde ku ccupa olw’embeera ya kaabuyonjo eyeeraliikiriza, eziriwo ntono ate nnyingi zajjula dda, enkuba bwetonnya zikulukuta ne mukoka ne ziyiwa mu myala n’okuyiwa mu mayamba g’abatuuze ekivuddeko endwadde eziva ku bujama okwegiriisiza mu kitundu.

Endwadde zinnamutta nga, kkolera n’endala zeesigamizibwa ku nsonga y’okukozesa kaabuyonjo obubi, kazambi n’agenda mu bantu ekivaako okukozesa amazzi gaayiiseemu okufumba n’okunywa.

Ebitundu ebimu mu Kabowa naddala Zooni ya Ssembule ‘B’ emanyiddwa nga Nakayiza, enkuba bw’etonnya teweesaazaayo olw’embeera ya kaabuyonjo zaayo embi.

Zino za kalina, nnyingi zikutte mu mbinabina, zirimu ebituli wansi ebifulumya kazambi ng’enkuba etonnye n’akulukuta ne mukoka ate aggweera mu mayumba g’abatuuze ne gujabagira.

 aabuyonjo eziriraanye omwala mu sembabule  Kaabuyonjo eziriraanye omwala mu Ssembabule B

 

Bw’otuuka mu zooni eno, yonna yeetooloddwa emyala, kaabuyonjo zaazimbirwa ku mayumba kwennyini ate ne zikolerwako ebituli ebifulumya kazambi ng’enkuba etonnye ne biyiwa mu mwala, ate amazzi ge gamu ne ganjaalira mu mayumba g’abatuuze ekireetera endwadde z’obucaafu omuli: Kkolera, ekiddukano, omusujja n’endala okweriisa enkuuli.

Lawrence Mbabaali, ow’ebyobulamu (VHT)mu zooni ya Ssembule B ne Kironde e Kabowa agamba nti, embeera ya kaabuyonjo mu bitundu byaffe ebya Kabowa ne Ndeeba mbi.

Olw’ekitundu kyaffe okuba eky’omugotteko, temuli makubo, kizibu ebimotoka ebinuuna kazambi okutuuka munda, tukozesa tukutuku okunuuna kazambi ate buno butono tebumumalaaamu,  wayitawo akaseera katono nga ziddamu okujjula.

 aabuyonjo ngenoo enkuba bwetonnya ekulukutira mu mwala Kaabuyonjo ng'enoo enkuba bwetonnya ekulukutira mu mwala

 

Engeri gye tuli mu kisenyi, twesanga nga buli luvannyuma lwa myezi ebiri kaabuyonjo zaffe zeetaaga okunuunamu, ekintu eky’obuseere eri abantu ekivaako kuzita ne zikulukutira mu myala.

Mu zooni ya Ssembule B, mulimu abantu abasukka mu 5,000 kyokka twesanga abantu 30 bakozesa kaabuyonjo emu ekizireetera okujjula amangu ate abalala bangi tebalina kaabuyonjo we beeyamba, era bangi bakozesa buveera ne baketi ne bayiwa mu myala ekintu eky’obulabe.

Kaabuyonjo z’olukale ze twalina, zaamenyebwa nga basengula abantu abaali baasenga ku luguudo lw’eggaali y’omukka, okuva olwo tetuddangamu kufuna ndala.

 aabuyonjo za kalina ezikulukutira mu mayumba gabantu Kaabuyonjo za kalina ezikulukutira mu mayumba g'abantu

 

Joyce Nabbosa Ssebuggwaawo, Meeya wa munisipaali y’e Lubaga: Ab’e Kabowa twabasomesa engeri y’okwekuumamu nga bayonjo mu kiseera we baakwatibwa kkolera ku ntandikwa y’omwaka guno era bakimanyi, nga bwe balinda okubafunira kaabuyonjo ennungi.

Tukyalinzeeko omwaka gw’ebyensimbi ogujja 2019/2020 tubeeko kye tukola, waliwo ensimbi ezaayisiddwa nga za kugula bimotoka ebinuuna kazambi n’okuzimba kaabuyonjo, ku zino ab’e Kabowa be bamu ku bagenda okuganyulwa.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Det2 220x290

Famire ekyasattira olwa ssemaka...

Famire ekyasattira olwa ssemaka okubula

Lip2 220x290

Bakutte abadde alimba abantu okubatwala...

Bakutte abadde alimba abantu okubatwala ku kyeyo

Sab 220x290

adde abba ATM ku bantu akwatiddwa...

adde abba ATM ku bantu akwatiddwa

Fut2 220x290

Akulira kkampuni etwala abantu...

Akulira kkampuni etwala abantu ku kyeyo akwatiddwa lwa kufera

Set1 220x290

Omuyambi wa Museveni bamuloopye...

Omuyambi wa Museveni bamuloopye