TOP

Ziizino endwadde eziva mu kinaabiro

By Musasi wa Bukedde

Added 14th August 2019

Ebika by’endwadde by’olina okwewala ng’oyita mu kuyonja ekinaabiro kyo

Ebisengebyekinabironabyobirinakubakiyonjowebuse 703x422

Ekinaabiro kyonna n'ebisenge olina okubiyonja okuziyiza obuwuka obulwaza kandida

 

Bya Stella Naigino

Abantu ebiseera ebisinga bafuna endwadde z’obukaba nga balowoza nti ziva mu kwegatta naye nga kiva mu kukozesa biyiigo na binaabiro ebijama naddala ku bakyala.

Dr. Steven Mukasa owa St. Vincent Hospital Nsambya agamba nti, mu maka oba ku mulimu, ekintu ekirina okubeera nga kiyonjo ky’ekinaabiro era kino bwe kitafiirwako kisobola okulwaza abantu abali mu maka bonna.

aabuyonjo nayo olina okugikuuma nga nnyonjo kuba etambuza endwadde eziva ku bujama Kaabuyonjo nayo olina okugikuuma nga nnyonjo kuba etambuza endwadde eziva ku bujama

 

Obulwadde abantu bwe basinga okufunira mu kinaabiro ye kandida era nga buno omuntu bw’abeera afuuyisa awajama nga waliwo eyakozesezzaawo ng’alina akawuka naye kamukwata.

Endabirira y’ekinaabiro

  1. Dr. Mukasa agamba nti, omuntu alina okugula ebintu nga bbulaasi, sabbuuni n’eddagala eritta obuwuka nga bino biyamba okukuuta ekinaabiro ne bitta obuwuka obuleeta kandida.
  2. Ekinaabiro Kisaana okubeera ekikalu nga tekikozesebwa noolwekyo kisiimuule kikale oba kozesa akapiira akasika amazzi ne kgamalamu obutasikiriza buwuka kukibeeramu.
  3. Ate bw’oba osobola kizimbe nga kisobola okuyingiramu akasana ne kakikaza nga tekikozesebwa.

 

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

760c92ca9f694295837ec90b52ac134f 220x290

Ssekiboobo aziikiddwa mu kitiibwa...

Omwami wa Kabaka ow'essaza ly'e Kyaggwe eyawummula, Ssekiboobo Alex Benjamin Kigongo Kikonyogo olwaleero aziikiddwa...

A84388d55eaa4efa9fcc00052969dc53 220x290

Omuyimbi Grace Ssekamatte alwanaganye...

Omuyimbi Grace Ssekamatte omu ku ba dayirekita ba Golden band asiibuddwa okuva mu ddwaaliro gy’amaze wiiki nnamba...

Cor 220x290

Beerumirizza okusaddaaka owabbooda...

OMUTUUZE eyasaddaakiddwa ne bamusuula mu kinnya okumpi n’ekyuma ky’omugagga Ephraim Bbosa, akwasizza abantu bana...

Tra 220x290

Eddagala lya ARV’S lisobola okulwanyisa...

OLWALEERO tewali ddagala ttuufu lyazuuliddwa okuba nga lijjanjaba obulwadde bwa COVID 19 .

Tabu 220x290

Ziizino endwadde endala ezirina...

ABANTU 44 baakakasiddwa mu Uganda nga balina ssennyiga omukambwe (coronavirus) era bajjanjabwa nga n’abalala bateekeddwa...