TOP

Emmere gy’olya n’ofuna amaanyi g’ekisajja

By Musasi wa Bukedde

Added 14th August 2019

By’okola okusigaza amaanyi agataakufuule ‘bulijjo si bwe mbeera’mu by'omukwano

Manyigakisajjavoxp4webuse 703x422

Budalah Sempijja ow'e Kateera agamba nti, eddagala ly'amaanyi g'ekisajja kirabika abamu ku balikola batabulamu ebintu ebitategeerekeka kubanga bw'olikozesa likuleetera entunnunsi, nalikozesaako omulundi gumu era ne nfuna ekizibu ekyo saabiddira.

 

Bya Paul Kakande

Buli w’oyita mu Kampala n’ebitundu ebirala naddala ebyetooloddewo owulira ebizindaalo ebiyita abalina ebizibu n’amaanyi g’ekisajja ssaako abao abatawera basembere bayambibwe.

Eddagala ly’amaanyi g’ekisajja kye kimu ku bika by’eddagala erisinga okubeera n’akatale mu ggwanga era lino litundibwa abasawo ab’ekinnansi n’abagaba ery’ekizungu nga buli alitunda akakasa alina obuzibu bw’ajja okutereera.

Dr. Sam Muliira, okuva ku Lisa Medical Center e Mengo agamba nti mu kiseera kino abantu bangi balina okusoomoozebwa mu nsonga z’obufumbo ate obuzibu buli mu butamanya wa awatuufu aw’okulaga okuyambibwa ku kye balina okukola okubuvvuunuka olwo ne bagula buli kye bagwaako.

 oseph ebadduka owe uzira agamba nti muganda we yagulanga eddagala eryo ku musawo omu eyeeranga ku ttivvi wabula bwe yalinyweera ebbanga yatandika okulumwa omugongo nomutwe bwe yagenda mu ddwaaliro ne bamutegeeza nga bwe kibadde kiva ku ddagala eringi lyanywedde era yali agenda kulwala ensigo Joseph Sebadduka ow'e Luzira agamba nti, muganda we yagulanga eddagala eryo ku musawo omu eyeeranga ku ttivvi wabula bwe yalinyweera ebbanga yatandika okulumwa omugongo n'omutwe bwe yagenda mu ddwaaliro ne bamutegeeza nga bwe kibadde kiva ku ddagala eringi ly'anywedde era yali agenda kulwala ensigo.

 

Ebizibu omuntu akozesa eddagala ly’amaanyi g’ekisajja by’ayolekedde

  1. Erisinga libeeramu ekirungo eky’amaanyi ekiwaga ebinywa mu mubiri nga lino likyusa enkola y’omubiri gwonna ne weeyongera okunafuwa.
  2. Bw’otandika okulinywa kizibu okulyewala nga bw’otolikozesa tobeera na busobozi kubaako kye weekolera.
  3. Lirwaza omutima kuba lirinnyisa emisinde kwe gukubira mu kiseera embeera eyo w’ebeera teyeetaagisa.
  4. Lisobola okuvaako omuntu okusannyalala.
  5. Lirwaza puleesa.
  6. Lirwaza ensigo ssinga olikozeseza ekiseera ekiwanvu.
  7. Likosa amaaso nga kino kiva ku ddagala okukosa egimu ku misuwa egiva ku bwongo era bwe kisukka gasobola okuziba.
  8. Olw’okuba eddagala lino likwata butereevu ku ntambula y’omusaayi, obumu ku bubonero obulaga nti litandise okukukolako obulabe kwe kutandika okuwuuma amatu eky’obulabe.
  9. Lirumya nakanyama n’omugongo.
  10.  Bw’olikozesa ebbanga eddene otandika okulumwa omutwe, emisuwa egikwatagana n’ennyindo gizibikira n’ofuna obuzibu bw’ekiwanga.

Dr. Sam Muliira agamba nti, ku nsi teriiyo ddagala litalina buzibu ssinga olikozesa bubi, wabula eky’enjawulo kiri nti eddagala erimu obuzibu bwalyo tebulabikirawo naddala ery’ekinnansi abantu kye bava balowooza nti teririna bulabe eri omuntu.

  van gaba owe isaasi agamba nti eddagala eryekinnansi tasuubira nti lirina obulabe naye eddagala ezzungu lyo lisobola okukola obulabe newankubadde ku byonna talina kye yali akozesezzaako naye ssinga abeera alyetaaze waakiri asobola okukozesa eryekinnansi kubanga balikola mu miti Ivan Agaba ow'e Kisaasi agamba nti, eddagala ery'ekinnansi tasuubira nti lirina obulabe naye eddagala ezzungu lyo lisobola okukola obulabe newankubadde ku byonna talina kye yali akozesezzaako naye ssinga abeera alyetaaze waakiri asobola okukozesa ery'ekinnansi kubanga balikola mu miti.

 

Ddi lwe wandikozesezza eddagala ly’amaanyi g’ekisajja

Omusajja akyesobola si kirungi kukozesa ddagala lya maanyi ga kisajja kubanga likukosa engeri omubiri gye gukola era amaanyi ag’obutonde gatandikirawo okukendeera.

Eddagala lino teriwonya kizibu kya maanyi matono wabula likuwa amaanyi mu kaseera buseera era omuntu asaanidde okulikozesa ng’agenda mu kisaawe nga wabulayo ekiseera ekitasukka ssaawa.

Nga tonnakozesa ddagala lino, sooka weebuuze ku musawo oba osaanidde okulikozesa kino tekiriiko zzungu oba ery’ekinnansi eritundibwa ku nguudo.

 illary iyaga mu ikuubo agamba nti eddagala eryo talikozesangako naye alina mikwano gye egirikozesa era omu yamugamba nti liringa bwolaba sigala kasita olitandika buli kiseera oba oyagala kusooka kulinywa Hillary Kiyaga mu Kikuubo agamba nti, eddagala eryo talikozesangako naye alina mikwano gye egirikozesa era omu yamugamba nt,i liringa bw'olaba sigala kasita olitandika buli kiseera oba oyagala kusooka kulinywa.

 

Ebika by’emmere n’ebyokunywa by’okozesa n’ofuna amaanyi g’ekisajja

Emmere okuli; akawunga, lumonde, ebibala omuli amenvu, wootameroni, entuntunu, enkomamawanga, kaamulali, kaawa, entangawuzi, spinach, ebiryo by’ensujju, cokoleeti n’ebirala.

Ebyokulya ebyo bw’obyemanyiiza biyambako mu ntambula y'omusaayi ennungi mu mubiri ssaako okuyamba ku kukendeeza ku bukoowu bw’omubiri era ebyo bwe bitereera osobola okutereera.

Ebibuza amaanyi

  1. Ebirowoozo ebingi.
  2. Endwadde z’ekikaba.
  3. Okwezannyisa.
  4. Okwambala obupale obukutippa.
  5. Omwenge n’enjaga ssaako ebiragalalagala ebirala.
  6. Obulwadde bw’omugongo.

Obulwadde bwa sukaali, n’ebirala.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sharifah1 220x290

Sharifah Kateete waakuvuga ddigi...

Wadde ng'olutalo ku ngule ya MX125 luli wakati wa Wazir Omar ne Fortune Ssentamu, Sharifah Kateete alayidde okubalaga...

Kasozi 220x290

Owa KCCA yeesunga kukaabya URA...

Oluvannyuma lwa Allan Okello, Charles Lukwago ne Nicholas Kasozi okukomawo, Mike Mutebi mugumu nti bagenda kulabya...

Ssengalogo 220x290

Ssenga nsobola okuloga omulenzi...

Mpulira bagamba osobola okuloga omusajja n’akwagala. Ggwe olina ku ddagala ssenga.

Ssengalogo 220x290

Mukazi wange alabika yayenda n’azaala...

Nnina abakyala babiri, mukyala muto ali mu kyalo naye kati omukyala oyo alabika ayenda era yazaala omwana mulenzi....

Ssengalogo 220x290

Emyezi ebiri sigenda mu nsonga...

Nneegatta oluvannyuma ne ngenda mu kalwaliro ne ngula empeke okwetangira okufuna olubuto naye kati mmaze emyezi...