TOP
  • Home
  • Asiika Obulamu
  • Amalwaliro g'omu byalo aga Health Centre IV gatuusibwe ku mutendera gw'okulongoosa abazaala

Amalwaliro g'omu byalo aga Health Centre IV gatuusibwe ku mutendera gw'okulongoosa abazaala

By Ruth Nazziwa

Added 15th August 2019

Omuwandiisi ow'enkalakkalira mu minisitule y'ebyobulamu, Dr. Diana Atwine ayagala amalwaliro naddala mu byalo gasuumusibwe gatuuke ku ddaala erikkirizibw aokulongoosa naddala abakyala abazaala okukendeeza omuwendo gw'abafiira mu ssanya

Honjaneruthacengwebuse 703x422

Minisita Acenge ng'ayogera mu lukung'aana

Bya Ruth Nazziwa

Minisitule y'ebyobulamu esabye abakulira abakozi ba gavumenti mu disitulikiti abeetaaga abasawo okubawandiikira babaweereze basobole okukola mu malwaliro agali ku ddaala lya Health Centre IV.

Omuwandiisi ow’enkalakkalira mu minisitule eno, Dr. Diana Atwine agamba nti, baagala buli ddwaaliro eriri ku mutenderera gwa Health Centre IV okubeera nga lirina abasawo abalongoosa abakyala abazaala naddala mu bitundu eby'omu byalo. Bino yabyogeredde mu lukung’aana lw’ebyobulamu olwa buli mwaka olukwata ku nsonga z’okuzaala ku wooteeri ya Imperial Royale.

Olukung’aana lwatambulidde ku mulamwa ogugamba nti, “Tulina okulaba nti, tukozesa bye tulina obulungi, obudde n’embalirira entuufu nga tukolera wamu”, ng’essira balitadde ku kunyweza ebyobulamu mu malwaliro ga gavumenti okusobola okumalawo omuwendo gw’abakyala abafa nga bazaala n’abaana abafa nga bazaalibwa.

 r iana twine ngaliko byannyonnyola mu lukungaana Dr. Diana Atwine ng'aliko by'annyonnyola mu lukung'aana

 

Mu ngeri y’emu, twagala okukendeeza ku muwendo gw’abaana abawala abafuna embuto nga tebanneetuuka. Kubanga abawala bangi be tufiirwa oluvannyuma okwetaba mu bikolwa by’okwegatta nga bakyali bato ekibaleetera ne bafuna embuto ze bateeyagalidde.

Mu mbeera eno, twongera okubayigiriza okwekuuma ebikolwa by’ekikaba n’okubaleka mu masomero basobole okumalako.

Atwine era yagambye nti, gavumenti egenda kwongera okutereeza ebyobulamu bw’abakyala bakendeeze ku buzibu abakyala bwe basinga okufuna ng'abazaala nga tukola ekisobola okulaba waliyo abasawo ababa beetaagisa n’ebikozesebwa n’okulaba ng’abakyala b’embuto tebatambula ng’endo mpanvu nga bagenda okufuna obujjanjabi oba okuzaala.

Era tujjukiza Bannayuganda nti, obuweereza bwa famire pulaningi weebuli ate buyamba kubanga twagala famire ezituula ne ziteesa ku muwendo gw’abaana be baagala okuzaala na buli kimu ekyetaagisa, olwo abaana baffe bakule bulungi.

Minisita w’ebyobulamu, Jane Ruth Aceng bwe yabadde mu lukung’aana luno  yategeezezza nti wadde ng’omuwendo gw’abakyala abafiira mu ssanya gwakendeera okuva ku bakyala 438 okutuuka ku 336 ku buli 100,000 mu mwaka 2016, tukyalina olugendo lunene okusobola okuziba okusoomoozebwa okuli mu mulimu guno.

 bamu ku beetabye mu lukungaana Abamu ku beetabye mu lukung'aana

 

Nga n’ekisooka mu byonna, abakyala, abavubuka n’abawala abato bakyafa ebintu ebyekuusa ku kubeera olubuto ate ng’ebimu bisobola okwewalika.

Bwe kiba nga tukyalina okusoomoozesebwa mu kufuna obujjanjabi obulungi, tulina okwebuuza oba nga tuli ku mulamwa ogw’okumalawo omuwendo gw’abakyala abafa nga bazaala nga tetunnatuuka mu mwaka 2020.

Kubanga buli mwaka, abantu beeyongera obungi era okunoonyereza kulaga nti, buli mwaka abaana 5,000,000 be bazaalibwa buli mwaka ekitegeeza nti, n’abakyala bafuna embuto.

Mu mbeera eno, minisitule y’ebyobulamu ngeri wamu n’abagikwasizaako bakola butaweera okulaba ng’amalwaliro agali ku mutendera gwa Health Centre IV gateekebwamu ebikozesebwa n’abasawo abatuufu okusobola okukola obulungi ku bakyala abazaala ababeera bagenzeeyo okusobola okutumbula ebyobulamu bw’abakyala okuva mu bitundu ebyo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Visionagmndijjo2 220x290

Abalina emigabo mu kkampuni ya...

Abalina emigabo mu kkampuni ya Vision Group basiimye enkulaakulana etuukiddwaako omwaka guno.

Muteesa14 220x290

Mutesa yaggulawo enkolagana ya...

Okufuuka Pulezidenti, Ssekabaka Mutesa yalondebwa Palamenti, n’amyukibwa Sir. William Wilberforce Nadiope Kajumbula...

Gira 220x290

Ssentebe bamukutte lubona ng'asinda...

Ssentebe wa LCI akwatidwa lubona ng'anyumya akaboozi k'ekikulu ne muk'omutuuze.

Muteesa1 220x290

OKUJJUKIRA SSEKABAKA MUTESA II;...

Essimu gye yankubira lwe yakisa omukono nkyagijjukira

Sisiri 220x290

Siisiri w’abakazi bamukubyemu ttooci...

ABAKUGU bazudde ng’abakazi okuyimba siisiri mu buliri kijja lwa butonde. Bagamba nti kiva ku bwagazi omukazi bw’afuna...