TOP

Abalotale banoonya buwumbi okuzimbira aba kookolo

By Musasi wa Bukedde

Added 19th August 2019

Obuwumbi 18 bwe bwetaagibwa okuzimba ebizimbe bibiri (2) omunajjanjabirwa aba kookolo ku ddwaaliro e Nsambya

Mengo2webuse 703x422

Aba Lotale nga bakwasibwa ambyulensi ey'okubayambako mu misinde gy'okusonda ssente za kookolo ku ddwaaliro e Mengo

Bya Paul Kakande

Mu kaweefube w’okulwanyisa obulwadde bwa kookolo w’omumwa gwa nnabaana, eddwaaliro ly’e Mengo lyegasse ku  ku bitongole okuli Rotary Uganda, Vision Group n’ebirala ebyetabye mu nteekateeka y’emisinde egigenda okubaawo nga August 25, okukung’aanya ssente  ezigenda okuyambako mu kujjanjaba abakyala abalina obuzibu buno.

Eddwaaliro ly’e Mengo, liwaddeyo emmotoka eya ambyulensi egenda okuyambako mu misinde nga beerinda obuzibu bwonna obuyinza okutuukawo mu misinde.

Rose Mutumba, omusawo mu ddwaaliro ly’e Mengo ategeezezza nti, “Mulimu gw’abasawo okujjanjaba abantu era tusazeewo okwegatta ku bitongole eby’enjawulo okulaba nga twenyigira mu kulwanyisa obulwadde bwa kookolo w’omumwa gwa nnabaana era tuteeseteese n’okukebera abakyala kookolo w’omumwa gwa nnabaana nga August 22 ku ddwaaliro e Mengo nga kugenda kubeera kwa bwereere.

r ichard alungi ku kkono ne r osr utumba akulira eddwaaliro lye engo wakati nga boogerako eri bannamawulireDr. Richard Kalungi (ku kkono) ne Dr. Rose Mutumba akulira eddwaaliro ly'e Mengo (wakati) nga boogerako eri bannamawulire

 

Omuddusi omukulu agenda kubeera sipiika wa Paalamenti, Rebecca Kadaga era n’ababaka bawaddeyo 1,000,000/- buli omu.

Dr. Richard Kalungi, okuva mu Rotary yeebazizza ebitongole omuli Vision Group, Bbanka ya Centenary ne kkampuni endala eziriko kye zitodde mu kulwanyisa obulwadde buno.

Yagambye nti, abaddusi baakusasula 25,000/- buli muntu era nga tikiti ziri ku woofiisi za Rotary ku kizimbe kya NIC, Capital Shoppers, ku  Game ne ku ttabi lya Bbanka ya Centenary e Lugogo.

Kalungi agamba nti, basuubira abaddusi  50’000 era baluubirira okufuna obuwumbi 18 okusobola okumaliriza ebizimbe bibiri (2) ebigenda okujjanjabirwamu abalwadde ba kookolo e Nsambya.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kkooti1 220x290

Poliisi eremeddwa okutwala fayiro...

POLIISI eremeddwa okutwala fayiro eriko omusango gw’okutemula eyali omwogezi wa poliisi, Andrew Felix Kaweesi mu...

Luwum 220x290

Abattakisi beegugunze olw’okuggala...

ABAGOBA ba takisi mu ppaaka enkadde abakozesa omulyango oguli ku Luwum Street bavudde mu mbeera ne bateeka akaziko...

Namanve 220x290

Ab’e Namanve balaajanidde ab’ekitongole...

ABATUUZE b’e Namanve (Kireku leerwe) abali ku ttaka ly’ekitebe ky’eggaali y’omukka, balaajana oluvannyuma lw’ekitongole...

Remassebunnya 220x290

Eyeekiika mu bba wa Rema aggyeeyo...

OMUSAJJA eyavaayo ne yeesimba mu bba wa Rema, abamu kye baataputa ng’ayagala okugootaanya emikolo gy’okwanjula,...

Brian 220x290

Mukula atutte Bryan White mu kkooti...

BRYAN White, ebibye bibi. Kkampuni ya Capt. Mike Mukula emututte mu kkooti lwa kumuguza mmotoka ku doola 120,000...