TOP

Abavubuka bayambibwe mu byobulamu basobole okutuuka ku nkulaakulana

By Olive Lwanga

Added 20th August 2019

Abavubuka basaana bayambibwe mu byobulamu basobole okwekuuma, okwejjanjabisa n'okumanyisibwa ebikwata ku byobulamu lwe banaasobola okubeera abalamu n'okwekulaakulanya

Npc03webuse 703x422

Gen. Moses Ali ne Dr. Jotham Musinguzi akulira ekitiongole kya National Population Council

Bya OLIVE LWANGA
Abavubuka balina okuteekebwa ku mwanjo mu by’obulamu ku lw’enkulaakulana y’eggwanga era Bannayuganda bakubiriziddwa okubayamba okulaba nga basobola okwebeezaawo n’okulwanyisa endwadde ezibatawaanya okusobola okuleeta enkulaakulana mu ggwanga. 
Bino omumyuka w’omukulembeze w’eggwanga asooka, Gen. Moses Ali yabyogeredde ku mukolo gw’okwogereganyamu oluvannyuma lw’olunaku lw’obungi bw’abantu mu ggwanga olwategekeddwa ku Kabira Country Club olwategekeddwa aba National Population Council. 
 
Yagambye nti, Uganda erina abavubuka ebitundu 70 ku 100 nga bano be bajja okusalawo ku ggwanga ery’omu maaso. 
Gavumenti efubye okugema abaana ekikendeezezza omuwendo gw’abafa. Yasabye gavumenti omulaka esinge kuguteeka ku bavubuka ng’erwanyisa endwadde ezisobola okubalemesa okukola, okubatonderawo emirimu, okubasomesa, kuba eggwanga erikula liba lyetaaga abantu baalyo okuba abalamu kubanga bakola nga kyabugagga kya ggwanga.
 en oses li ne r onatham usinguzi akulira ekitiongole kya ational opulation ouncil Gen. Moses Ali ng'ayogera mu lukung'aana ne Dr. Jonatham Musinguzi akulira ekitongole kya National Population Council

 

 
Dr. Olive Ssentumbwe, ow’ekitongole ky’ensi yonna eky’ebyobulamu (WHO) yagambye nti ebyobulamu by’abavubuka mu by’okwegatta birina kinene kye bikosa ku nkulaakulana y’eggwanga bwe biba nga sibitebenkevu. 
 
Yagambye nti, mu bazaala mulimu n’abavubuka era abantu abazaalira mu malwaliro bali 73 ku 100, abakozesa enkola ya famire bali 35 ku 100. Abavubuka abali embuto bali 25 ku 100, abakyala abafiira mu ssanya bali 336 ku buli 100,000. 
 
Akawuka ka siriimu mu bavubuka nako kangi ng’abawala be basinga okukosebwa. 
Mu mbeera eno, abavubuka basoomoozebwa omuli okuva mu masomero, amalwaliro agasomesa abavubuka ku by’okwegatta n’empereeza y’akawuka ka siriimu matono ate ng’abasawo abamu tetatendekeddwa bulungi kutuusa bubaka buno eri bavubuka.
 r live sentumbwe ku kkono r arah akalamba ne r enansius aryamureeba nga bali mu lukungaana ku abira ountry lub Dr. Olive Ssentumbwe (ku kkono), Dr. Sarah Nakalamba ne Dr. Venansius Baryamureeba nga bali mu lukung'aana ku Kabira Country Club.

 

 
 Okumalawo okusoomoozebwa kuno, abavubukabaweebwe obujjanjabi obutalina kyekubiira ku by’okwegatta n’okuzaala, okussaawo ebikozesebwa gye bali n’abasawo ababatuusaako empeereza mu byobulamu. n’ebirala.
 
Dr. Jotham Musinguzi owa National Population Council yagambye nti, omuwendo gw’abavubuka mu ggwanga mungi era balina okufiibwako mu byobulamu, ebyenjigiriza n’embeera zaabwe eza bulijjo okusobola okutumbula enkulaakulana mu ggwanga. 
 
Dr. Venansius Baryamureba yagambye nti, abavubuka balina okuwagirwa nga babawa amagezi n’obukugu obutali bumu okukyusa endowooza zaabwe nga bayita mu pulogulamu ezitali zimu n’okutumbula ebyobulamu byabwe. 

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kkooti1 220x290

Poliisi eremeddwa okutwala fayiro...

POLIISI eremeddwa okutwala fayiro eriko omusango gw’okutemula eyali omwogezi wa poliisi, Andrew Felix Kaweesi mu...

Luwum 220x290

Abattakisi beegugunze olw’okuggala...

ABAGOBA ba takisi mu ppaaka enkadde abakozesa omulyango oguli ku Luwum Street bavudde mu mbeera ne bateeka akaziko...

Namanve 220x290

Ab’e Namanve balaajanidde ab’ekitongole...

ABATUUZE b’e Namanve (Kireku leerwe) abali ku ttaka ly’ekitebe ky’eggaali y’omukka, balaajana oluvannyuma lw’ekitongole...

Remassebunnya 220x290

Eyeekiika mu bba wa Rema aggyeeyo...

OMUSAJJA eyavaayo ne yeesimba mu bba wa Rema, abamu kye baataputa ng’ayagala okugootaanya emikolo gy’okwanjula,...

Brian 220x290

Mukula atutte Bryan White mu kkooti...

BRYAN White, ebibye bibi. Kkampuni ya Capt. Mike Mukula emututte mu kkooti lwa kumuguza mmotoka ku doola 120,000...