TOP

Ab'obulwaliro obutunda eddagala lya Gavumenti e Kayunga babakutte

By Saul Wokulira

Added 27th August 2019

Abakungu mu minisitule y'ebyobulamu bakoze ekikwekweto e Kayunga ne bakwata ababadde beerimbika mu mulimu gw'obujjanjabi, abatunda eddagala lya Gavumenti n'abatalina bisaanyizo bitunda ddagala.

Abamukubasawoabaakwatiddwaolwobutabanabisanyizoekayungawebuse 703x422

Abamu ku basawo abaakwatiddwa nga bassiddwa ku kabangali ya poliisi.

Bya Saul Wokulira

Abavunaanyizibwa ku mutindo gw'obujjanjabi aba Allied Health Proffessionals Council batalaaze amalwaliro ag’obwannannyini nga banoonya abasawo ab'ebikwangala e Kayunga n'okukebera omutindo gw'obulwaliro obutunda eddagala ne bakwata abasawo n’eddagala lya Gavumenti eribbibwa ne liguzibwa abalwadde.

Nnanyini kalwaliro aka St. Denis Drug Shop e Kangulumira, Richard Daka kano nga katunda eddagala eribbibwa mu gavumenti ate nga tekalina bisaanyizo yawendudde ebbiina ly'abantu ne bagoba abakungu ba minisitule.

yesigire okuva mu minisitule ne sironi nga beekebejja akamu ku bulwaliroOyesigire okuva mu minisitule ne Osironi nga beekebejja akamu ku bulwaliro.

 

Bazze n'emiggo ne beeyiwa mu mulyango gw’akalwaliro ne balagira ba ofiisa ababadde balambula akalwaliro okwamuka ekifo kino.

Ba ofiisa abaakulembeddwa, Michael Mubiru avunaanyizibwa ku mutindo ne Fred Oyesigire akola ogw'obwannampala mu kitongole ekirondoola omutindo gw'abasawo n'obujjanjabi mu masekkati g'eggwanga bagamba nti, ekyabatutte e Kayunga kwe kufuuza abasawo ab'ebikwangala abeerimbika mu busawo abafumbekedde mu kitundu kino wamu n'obulwaliro obw'ekimpatiira.

arah akidde ames avamuno imon kot abaakwatiddwa mu kikwekweto kyokufuuza abatalina bisaanyizo nokubba eddagala lya gavumentiSarah Nakidde, James Wavamuno, Simon Okot abaakwatiddwa mu kikwekweto ky'okufuuza abatalina bisaanyizo n'okubba eddagala lya gavumenti.

 

Beeyongeddeyo mu bitundu ebirala era okukkakkana nga bakutte abasawo abatalina biwandiiko okuli; Sarah  Nakidde, James Wavamuno, Simon Okot ne Nelson Isiko abadde yeeyita Dokita ng’akolera e Nkokonjeru wabula ng’obuyigirize bw’alina bwa S.2 era abakwate bonna baggaliddwa mu kaduukulu ka poliisi e Kayunga.

Baggaddewo n'obulwaliro bungi okuli; Blessing Medical Clinic, Liz Medical Center e Nazigo, St. Denis Drug Shop, Gittoes Drug Shop e Bukolooto, Daltener Clinic e Kyerima n'obulala.

 kibinja kyabatuuze abaalumbye abebyobulamu okubalemesa okukola ekikwekweto ku batalina bisaanyizo bya kujjanjaba bantu Ekibinja ky'abatuuze abaalumbye ab'ebyobulamu okubalemesa okukola ekikwekweto ku batalina bisaanyizo bya kujjanjaba bantu

 

B'ofiisa ba minisitule abaabadde mu kikwekweto bategeeza nti, ekikwekweto kikyayinda.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kkooti1 220x290

Poliisi eremeddwa okutwala fayiro...

POLIISI eremeddwa okutwala fayiro eriko omusango gw’okutemula eyali omwogezi wa poliisi, Andrew Felix Kaweesi mu...

Luwum 220x290

Abattakisi beegugunze olw’okuggala...

ABAGOBA ba takisi mu ppaaka enkadde abakozesa omulyango oguli ku Luwum Street bavudde mu mbeera ne bateeka akaziko...

Namanve 220x290

Ab’e Namanve balaajanidde ab’ekitongole...

ABATUUZE b’e Namanve (Kireku leerwe) abali ku ttaka ly’ekitebe ky’eggaali y’omukka, balaajana oluvannyuma lw’ekitongole...

Remassebunnya 220x290

Eyeekiika mu bba wa Rema aggyeeyo...

OMUSAJJA eyavaayo ne yeesimba mu bba wa Rema, abamu kye baataputa ng’ayagala okugootaanya emikolo gy’okwanjula,...

Brian 220x290

Mukula atutte Bryan White mu kkooti...

BRYAN White, ebibye bibi. Kkampuni ya Capt. Mike Mukula emututte mu kkooti lwa kumuguza mmotoka ku doola 120,000...