TOP

Abalwadde b'olukonvuba baakufuna amalwaliro agaabwe

By Olive Lwanga

Added 6th September 2019

Minisitule y'ebyobulamu n'ebitongole ebirala baakuyambaokuzimba amalwaliro abalina endwadde ez'olukonvuba gye basobola okujjanjabirwa n'okubudaabudibwa.

Pcauwebuse 703x422

Abakungu okuli aba minisitule, aba Palliative Care Association n'abalala mu lukung'aana

Bya Olive Lwanga

Minisitule y’ebyobulamu nga yeegasse ne Cancer Institute ssaako aba Palliative Care Association bali mu lukung’aana Olwokubiri olwa 2nd Uganda Conference on Cancer and Palliative Care olugendereddwaamu okulaba nga batuusa obujjanjabi obwetaagisa ku balwadde abalina endwadde ez’olukonvuba.

Rose Kiwanuka, yagambye nti baagala abalwadde bonna abeetaaga obujjanjabi obw’okubudaabudibwa nga babufuna ate nga tebatawaanye na kusasula ssente nnyingi.

Olukung’aana luno lwa kutema empenda n’okusala amagezi n’amawanga amalala agali mu nsi ku ngeri gye basobola okujjanjabamu abalwadde bano. Olukung’aana luno luli ku Serena Hotel mu Kampala nga lwatandise nga 5 era luggwa leero. 

Abakungu 350 okuva mu nsi ezitali zimu be balwetabyemu.

Abalwadde abeetaaga obujjanjabi buno mulimu aba kookolo, sukaali, siriimu, n’endwadde endala.

Charles Olaro owa minisitule y’ebyobulamu yagambye nti, balina enteekateeka y’okutondawo amalwaliro amalala agajjanjaba kookolo era nga erimu eriri e Mbarara lyatandika okukola.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Muteesa14 220x290

Mutesa yaggulawo enkolagana ya...

Okufuuka Pulezidenti, Ssekabaka Mutesa yalondebwa Palamenti, n’amyukibwa Sir. William Wilberforce Nadiope Kajumbula...

Gira 220x290

Ssentebe bamukutte lubona ng'asinda...

Ssentebe wa LCI akwatidwa lubona ng'anyumya akaboozi k'ekikulu ne muk'omutuuze.

Muteesa1 220x290

OKUJJUKIRA SSEKABAKA MUTESA II;...

Essimu gye yankubira lwe yakisa omukono nkyagijjukira

Sisiri 220x290

Siisiri w’abakazi bamukubyemu ttooci...

ABAKUGU bazudde ng’abakazi okuyimba siisiri mu buliri kijja lwa butonde. Bagamba nti kiva ku bwagazi omukazi bw’afuna...

Ganja2 220x290

Ebintu 15 by’okola n’oganja ewa...

Edith Mukisa omukugu mu kubudaabuda abaagalana n’abafumbo akuwa ebintu 15 byoyinza okukola okusobola okuganja n'okunyweza...