TOP

Abadde afera abatuuze b'e Kayunga ng'abajjanjaba bamukutte

By Saul Wokulira

Added 9th September 2019

Omusajja abadde yeeyita omusawo nga teyabusomerera n'ajjanjaba abantu ekivuddeko abamu okufa poliisi emukutte

Isikonelsoneyeyitadokitangabamutaddekumpingubamulinnyisakabangaliekifsaulwokulirawebuse 703x422

Isiko ku mpingu ng'alinnyisibwa mmotoka ya poliisi

Bya Saul Wokulira  

Omusajja aludde ng’awuddiisa abalwadde ne yeeyita dokita poliisi e Kayunga emugombyemu obwala.

Nelson Isiko 40, yakola akalwaliro ak’ekimpatiira mu Kabuga k’e Nkokonjeru mu ggombolola y’e Kitimbwa mu disitulikiti y’e Kayunga mw’abbira abantu nga yeeyita dokita era kigambibwa nti, bangi bafiiridde mu mikono gye.

Akulira ebyobulamu mu disitulikiti y’e Kayunga, Patrick Osironi yagambye nti, Isiko awuddiisa abalwadde ne batagenda mu ddwaaliro lya gavumenti ery’e Nkokonjeru olwo ye n’abatwala mu kalwaliro ke okubajjanjaba abamu ne bafa ate abalala bakimanya luvannyuma nti mufere ne bagenda mu malwaliro amalala okujjanjabibwa.

Isiko yaggaliddwa mu kaduukulu ka poliisi e Kayunga era nga talina mpapula ez’obuyigirize ne layisinsi emukkiriza okukola obusawo ate abuzaabuza abalwadde n’abawugula okubaggya ku kituufu.

Isiko mu kwerwanako yategeezezza Bukedde nti, alina essuubi okuddayo asome wabula abadde tannaba kufuna ssente ate ku kya layisinsi waliwo mukwano gwe eyamufera n’amuwa layisinsi y’abasawo ab’ekinnansi.

Akulira bambega ba poliisi e Kayunga, Isaac Mugera yagambye nti Isiko baamugguddeko emisango omuli ogw’okweyita ky’atali kubanga yeeyita musawo ate nga talina biwandiiko bya buyigirize, ogw’obutaba na layisinsi n’emirala era bamutwala mu kkooti avunaanibwe.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Muteesa14 220x290

Mutesa yaggulawo enkolagana ya...

Okufuuka Pulezidenti, Ssekabaka Mutesa yalondebwa Palamenti, n’amyukibwa Sir. William Wilberforce Nadiope Kajumbula...

Gira 220x290

Ssentebe bamukutte lubona ng'asinda...

Ssentebe wa LCI akwatidwa lubona ng'anyumya akaboozi k'ekikulu ne muk'omutuuze.

Muteesa1 220x290

OKUJJUKIRA SSEKABAKA MUTESA II;...

Essimu gye yankubira lwe yakisa omukono nkyagijjukira

Sisiri 220x290

Siisiri w’abakazi bamukubyemu ttooci...

ABAKUGU bazudde ng’abakazi okuyimba siisiri mu buliri kijja lwa butonde. Bagamba nti kiva ku bwagazi omukazi bw’afuna...

Ganja2 220x290

Ebintu 15 by’okola n’oganja ewa...

Edith Mukisa omukugu mu kubudaabuda abaagalana n’abafumbo akuwa ebintu 15 byoyinza okukola okusobola okuganja n'okunyweza...