TOP

Maama ayonsa bino byewale okufuna amabeere agamala omwana

By Musasi wa Bukedde

Added 16th September 2019

Ayonsa komya okulya ebisiikesiike okufuna amabeere agamala omwana wo

Naomenomwanagweyazaalaoluvannyumalwokuwonakkookolowomumwagwannabaana2webuse 703x422

Omukyala ng'ayonsa omwana we

Bya Norah Mutesi

Omukyala yenna ayonsa buli ky’alya kifulumira mu mabeera y’ensonga lwaki oluusi bagaana oyo aliko eddagala ly’amira ery’ebika ebimu okuyonsa oba abo abakozesa ebiragalalagala kuba n’omwana abifunira mu mabeere.

Susan Olupot, omukugu mu byendya y’abaana mu ddwaaliro ekkulu e Mulago agamba nti bw’oba oyonsa toteekedwa kulya bintu ebirimu kaawa omungi nga cokoleeti.

Olupot agamba nti, emmere erimu kaawa omungi eremesa obusimu obuleeta amata mu mabeere okukola ekigabuza.

Ekirala, maama ayonsa tateekeddwa kunywa mwenge kuba nagwo gukosa enkola y’omubiri ga mw’otwalidde n’obusimu obukola amabeere.

 mmere ensiike nga cipusi si nnungi ku mukyala ayonsa Emmere ensiike nga cipusi si nnungi ku mukyala ayonsa

 

Ebiragalalagala omuli ne sigala nabyo bikosa enkola y’amabeere n’omwana agayonka.

Wilberforce Bushara, omusawo ku Ages Health Care agamba nti  omukyala ayonsa tateekedwa kwejjanjaba na mpeke zataweereddwa okuva ew’omusawo omukugu.

“Empeke ezimu tetuziwa bakyala bayonsa, kubanga ziyinza okukosa omwana.”

Ebisiikesiike nabyo bya bulabe ku bayonsa kuba tebiriimu kiriisa kiyamba mu kukola amabeere agayonsebwa omwana.

Waliwo n’enkola z’okugema okuzaala ezibuza amabeere n’oolwekyo maama akubirizibwa okuyonsa ennyo omwana we aziyize okufuna olubuto mu kifo ky’okukozesa enkola ezo.

Israel Jombwe, omukugu mu byendya agamba nti, omukyala ayonsa ateekeddwa okulya emmere enfumbe omuli enva endiirwa ez’akakoolakoola, ebibala, okunywa amazzi agamala n’ebirala.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Thumbnailunaiemerypoints 220x290

Martin Keown anyiizizza aba Arsenal...

Martin Keown, omu ku bazibizi abaayitimukira ennyo mu Arsenal era nga yali mu ttiimu eyawangula Premier nga tekubiddwaamu...

Gareth Bale ali ku yoleke

Gareth Bale ali mu kattu olw’abawagizi ba Real Madrid abaanyiize olw’okulaga nti ttiimu eno y’ekoobera mu bintu...

Mauriciopochettino2019 220x290

Barcelona eyagala Pochetinno asikire...

Barcelona, bakyampiyoni ba Spain bandikola eky’omuzizo ne bakansa omutendesi eyatendekako Espanyol FC, bwe batalima...

Bwakikola 220x290

Biibino ebitundu ebirala ebyefudde...

NE WANKUBADDE ng’abantu abasinga Bermuda Triangle bamumanyi ng’ekifo ekibuzaawo abasaabaze ababeera mu nnyonyi...

Son 220x290

Taata na yasooka kunkolako byawongo...

OKUSOBYA ku bawala ng’ate ababasobyako bahhanda zaabwe mu maka mwe babeera kikyali kizibu kinene ekyetaaga okunogera...