TOP
  • Home
  • Asiika Obulamu
  • Abatuuze b’e Katuuso basaba buyambi ku kasasiro n’obucaafu obususse mu kitundu kyabwe

Abatuuze b’e Katuuso basaba buyambi ku kasasiro n’obucaafu obususse mu kitundu kyabwe

By Musasi wa Bukedde

Added 16th September 2019

Abatuuze b'omu Zooni ya Katuuso mu Makindye bakaaba lwa kasasiro agenda okuvaako okubalukawo kw'endwadde enkambwe

Katuuso4webuse 703x422

Ssentebe Ntulume ng'ayogera eri abatuuze ba zooni ya Katuuso

Bya Benjamin Ssemwanga

Abatuuze b’omu Zooni ya Katuuso mu munisipaali y’e Makindye basabye abakulembeze baabwe okubayamba ku kasasiro ne kazambi ayitiridde mu kitundu kyabwe ng’enkuba bwetonnya obucaafu buno basaasaanira mu mayumba gaabwe.

Bino byayogeddwaako mu lukiiko eggulo nga September 15, 2019 ng’abatuuze banoonya engeri y’okumalawo obucaafu n’okutumbula eby’obuyonjo mu kitundu kino.

Fred Ntulume, Ssentebe w’ekitundu kino, yavumiridde ekikolwa ky’abantu okufulumira mu buveera ne babukasuka mu myala n’ebifo ebirala ekisaasaanya endwadde.

“Tulina obuzibu bwa kasasiro mu kitundu kino nga kw’otadde n’abantu abatalina kaabuyonjo nga bafulumira mu buveera bwe bakasuka buli wamu,” Ntulume bwe yeemulugunyizza.

Christine Najjemba, nga mutuuze yasabye abakulembeze obutasuulayo gwa naggamba nga bakola ku by’obuyonjo mu kitundu kino.

Edward Mpagi, eyakiikiridde ekitongole kya KCCA yategeezezza nti, newankubadde obucaafu buyitiridde mu kitundu kino abantu balina okuyita mu mateeka ag’okuyonja ekitundu kino nga bakolagana n’ebitongole ebivunaanyizibwa ku kuyonja ebitundu mu Kampala.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sit16 220x290

Eyali yagongobala ateredde n'asuubiza...

Eyali yagongobala ateredde n'asuubiza okuddayo okusoma

Siminyu703422 220x290

Ab'ekitongole ekigaba paasipooti...

KAMISONA Brig. Johnson Amanya avunaanyizibwa ku Paasipooti n’okulondoola abasaba obutuuze, yategeezezza Bukedde...

Funa 220x290

Eddiini yannemesa ekyana

ENSONGA z’eby’omukwano tezimbeeredde nnyangu okuviira ddala nga naakatandika eby’okwagala.

Lukwago 220x290

‘Twagala kumanya musaala gwa Byamukama’...

LOODI meeya Erias Lukwago ne Male Mabiriizi batutte okusaba mu kkooti nga baagala kkooti ebawe fayiro y’akulira...

Worship 220x290

Abantu beemulugunya ku bukambwe...

BANNAKAMPALA balaze obutali bumativu ku bikwekweto ebikolebwa ekitongole ky’amasannyalaze ekya UMEME ku babba amasannyalaze...