TOP

Ensonga lwaki tolina kufumbira mu nju

By Musasi wa Bukedde

Added 16th September 2019

Ekivaako abantu okufiira mu nnyumba mwe bafumbira

Isaakwebuse333 703x422

Isaac Akugizibwe ng'afumbira mu nnyumba

Bya Benjamin Ssemwanga

Abantu bangi balina omuze gw’okufumbira mu nju oba okuyingiza essigiri olw’okutya okubbibwa kw’emmere yaabwe wabula ne beebaka ekivaako okufuna endwadde oluusi n’okufa.

Dr. Emmanuel Katende owa St. Thereza Medical Clinic annyonnyola obulabe obuva mu kufumbira mu nnyumba ku bintu ng’essigiri, sitoovu n’ebyuma by’amasannyalaze.

Omuntu bw’afumbira mu nnyumba aleetera omukka ogussibwa okukendeera engeri omuliro ogubeera gukumiddwa gye gugukozesa okwaka ne kiteeka omuntu abeera afumba mu bulabe bw’okuziyira obutaba na kye bakozesa ate nga ogw’obutwa guliwo mu bungi.

Okufumbira mu nyumba kireetera omuntu okuzirika olw’ebbula ly’omukka ogussibwa ekintu eky’obulabe ekiyinza n’okuvaako okufa.

 Oluusi omuliro gusobola okukwata ennyumba n'esaanawo n'okutwaliramu obulamu bw'abantu ssinga tebanguyirwa kuyambibwa.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Gendayo 220x290

Kiki ekinakuwazza Naava Grey?

NAYE kiki ekyanyiizizza omuyimbi Naava Grey alyoke anakuwalire ku mukolo gwa munne bw’ati!

Dece 220x290

Nneebaza Mukama okumpa omutuufu...

MU buvubuka bwange, nalina omutima omunafu ku nsonga z’omukwano kubanga nali ntya abasajja olw’ebyo bye nnawuliranga...

Kola703422 220x290

Nnoonya mwana wa bulenzi

NNINA abaana abawala basatu, era ndi mufumbo. Nnina omusajja anjagala agamba nti asobola okukyusa oluzaalo ne nzaala...

Sinza 220x290

Katemba eyabadde mu kuziika ssemaka...

NNAAMUNGI w’omuntu yeetabye mu kuziika omugenzi Erisa Settuba eyalwanya abakazi mu kiseera bwe yali agenda okugattibwa...

Like 220x290

Minisita azzizza ab’e Gomba ku...

MINISITA w’eggwanga ow’ebyettaka Persis Namuganza azzizza abatuuze ku byalo bibiri e Kitemu ne Nkwale mu bibanja...