TOP

Alina olubuto lw'abalongo ne by'olina okufaako obutabafiirwa

By Musasi wa Bukedde

Added 17th September 2019

Abasawo balaze abalina olubuto olulimu omwana asukka mu omu bye balina okukola obutabafiirwa nga tebannazaalibwa

Florencekiberunabalongowebuse 703x422

Nnaalongo Florence Kiberu n'abalongo be

Bya Norah Mutesi

Abantu bangi baagala okuzaala abalongo era abafunye alabibwa nga ow’enjawulo ku balala era n’abaana bakwatibwa mu ngeri ya njawulo. Mu Buganda ababazaala babateerako n’obukwakkulizo era ne bwe baasangibwanga mu lusuku olutali lwabwe nga bayunja emmere baabalekanga kubanga baakitwalanga nti bagenda kuliisa baana.

Nnaalongo Damalie Namulondo ow’e Kawempe, alina abalongo ba myaka musanvu, wabula agamba nti tebyali byangu ng’afunye olubuto okutuuka okuluzaala ate nakati.

Namulondo agamba nti, “Okuva lwe nafuna olubuto nabeeranga ndwalalwala, nga nsesema, n’ebirala ng abwe kiba ku mbuto z’abaana abalala.

Wabula nga nkyali mu mbeera eno, ate Ssaalongo yanzirukako obuzibu ne bweyongera.

Olw’okweraliikirira aw’okufuna obuyambi n’okulwalalwala, abaana nabazaala ku myezi munaana nga tebatuuse ne ntandika obugubi bw’okulabirira.”

 naalongo amulondo abaana yabazaala ku myezi munaana Nnaalongo Namulondo abaana yabazaala ku myezi munaana

 

Abakugu kye bagamba

Dr. Castro Robertson Kisuule, omukugu mu ndwadde z’abakyala mu ddwaaliro ly’e Nsambya agamba nti, embuto ez’abalongo zibeera n’obuzibu ng’okuleetera maama okufuna obulwadde bwa puleesa.

Ekirala embuto oluusi zivaamu olw’obuzito obubeera busukkiridde ku nnabaana bw’abeera munafu oba abaana bwe babeera tebagyamu nga mufunda.

Kisuule ayongerako nti, abakyala abalina omwana asukka mu omu mu lubuto batera okuzaala abaana abatatuuse, era oluusi abamu tebalama.

Victoria Nakibuuka, ow’eddwaaliro ly’e Nsambya agamba nti, abakyala ababeera embuto z’abalongo abamu babalongoosa wadde abamu bazaala bulungi.

Batera okulwala sukaali ng’ono awona bazadde ate mu bamu n’asigala ng’abatawaanya, noolwekyo kisaana omukyala okugenda amangu mu ddwaaliro n’amanya embeera ye bw’eri n’ayambibwa nga kyetaagisizza.

Moses Mugisha, omukugu mu kujjanjaba abakyala, agamba nti batera okuggwaamu omusaayi olw’okuba babeera bagabirira abaana bangi munda nga bagabana omusaayi n’ebiriisa byonna era alina okulabirirwa obulungi naddala mu byendya.

 naalongo wakizi Nnaalongo Rwakiziba

 

Abalala kye bagamba

Nnaalongo Florence Kiberu, agamba nti olubuto lw’abalongo lwamuyisa bubi okusinga embuto ez’abaana abalala b’alina.

N’abasawo baatuuka ekiseera ne bamugamba asigale mu ddwaaliro asobole okuwummula ekimala. Ebigere byazimba nga tasobola kutambula okuggyako okusindikibwa mu kagaali ak’abalema.

Nnaalongo Rwakiziba naye bwe yafuna olubuto lw’abalongo agamba nti, lwagejja ate ng’abeera ayagala okulya buli kiseera, ate n’azimba n’ebigere.

“Olubuto lw’abalongo lwansesemya okutuuka ku myezi mukaaga, bwe nagenda eri omusawo yang’amba nti eky’okusesema kijja kuggwaawo nga mmaze okuzaala,” Rwakiziba bw’agamba.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Enanga1 220x290

Taata wa Enanga atuuyanye ku by’ettaka...

TAATA w’omwogezi wa poliisi mu ggwanga, Fred Enanga abadde mu kaseera kazibu ng’annyonnyola engeri ye ne mutabani...

Lukwago 220x290

‘Sasula obukadde 50 oba ogende...

Sandra Katebaralwe, mukyala wa Paasita David Ngabo eyacaaka ennyo olw’okusabira FDC ng’alumba gavumenti ye yadduka...

Omukyala w'olubuto bamulagajjalidde...

Omukyala w'olubuto bamulagajjalidde

Taxi5 220x290

Poliisi emukutte awambye abaana...

POLIISI y’e Bujuuko etaayizza omusajja agambibwa okuwamba abaana b’essomero n’emussa ku mpingu. Yeewozezzaako nti...

M71 220x290

Museveni awadde Sabiiti ekiragiro...

PULEZIDENTI Museveni awadde amyuka omuduumizi wa poliisi mu ggwanga, Maj. Gen. Sabiiti Muzeeyi, ennaku bbiri aveeyo...