TOP

Aba siikoseero bategese emisinde gy'okusonderako ssente

By Musasi wa Bukedde

Added 18th September 2019

Aba siikoseero beetaaga obukadde 50 okuzimba eddwaaliro lyabwe era bategese emisinde ku Ssande nga September 22, 2019 okusonderako ssente zino

Emisinde31webuse 703x422

Ruth Nankanja (owookubiri ku ddyo) n'abakungu ba Pharmaceutical Society of Uganda nga balaga emijoozi egigenda okwambalaibwa abaddusi mu kusonda ssente ku Ssande eno

Bya Jaliat Namuwaya


Abatawaanyizibwa obulwadde bwa siikoseero mu ggwanga beetaaga obukadde 50 okumaliriza omulimu gw'okuddaabiriza ekizimbe omugenda okuteekebwa eddwaaliro mwe bagenda okutandika okujjanjabirwa.


Ekizimbe kino kiri ku ttaka eryabaweebwa omu ku bakyala eyalina omwana omulwadde wa siikoseero e Kawanda - Namere mu distilikitti y’e Wakiso, era ng’ebimu ku bikyetaagisa by'ebyuma ebigenda okweyambisibwa nga mukwekebejja n'okujjanjaba abalwadde ba siikoseero.


Abakulira ekitongole omwegattira abalwadde ba siikoseero nga bali wamu n'abasawo ba gavumenti abavunaanyizibwa ku kutabula eddagala aba Pharmaceutical Society of Uganda batongozza emisinde gy'omwaka guno egy'aba siikoseero nga mu misinde gino baluubiriddemu okukung’aanya obukadde bw'ensimbi 50 ze bagenda okwongereza kw'ezo ze bazze bakung’aanya okumaliriza omulimu gw'okuddaabiriza eddwaaliro yaabwe.

 uth ankanja akulira ekibiina kya siikoseero nomukungu wa hamceutical ociety of ganda nga boogera ku misinde egigenda okubaawo ku sande eno nga eptember 222019 Ruth Nankanja akulira ekibiina kya siikoseero n'omukungu wa Phamceutical Society of Uganda nga boogera ku misinde egigenda okubaawo ku Ssande eno nga September 22,2019

 


Ruth Nankanja Mukiibi, akulira ekitongole kino akunze abantu obutabasuulirira wabula beetabe mu misinde gino mu bungi nga gigenda kubeerawo nga September 22, 2019 e Lugogo ku kisaawe kya Kati Kati, tiketi zigula 20,000/-.


“Ebifo ebijjanjabirwamu abalwadde ba siikoseero bikyali bitono ddala mu ggwanga so ng’ate bingi ku byo tebikola kiro ne ku wiikendi y'ensonga lwaki twagala tusseewo eddwaaliro eryetongodde mwe tunajjanjabirwanga ffe,'' Nankanja bwe yalambuludde.


Abaana 25,000 be bateeberezebwa okuzaalibwa ne siikoseero buli mwaka mu ggwanga, kyokka eby'embi 80 ku bano bafa nga tebannaweza myaka 5.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kabuzi1 220x290

Uganda ekubye Malawi 2-0 n'ewaga...

MU Mupiira, waliwo enjogera egamba nti tewali buwanguzi bubi, wabula waliwo bw’otuuka ekiseera ng’olina okutunuulira...

Gendako 220x290

Engeri okwanjula kwa Hamza gye...

Ebika bibiri eky’Endiga n’Ekyolugave Rema mw’azaalwa byali tebimanyiganye era nga tebasisinkanangako.

Bwama 220x290

Rema annyonnyodde by'ayiseemu ng'anoonya...

Rema yabattottolera obuzibu bwe yayitamu ng’anoonya ekika kye. Nti olumu Rema yasisinkana Ssenga we Nabatanzi ku...

Laga 220x290

Rema yasoose kukolebwako mikolo...

E Kyengera mu wiiki eddirira emikolo, Rema yasoose kukolebwako mikolo gya buwangwa okwanjula Hamza, Rema yali ne...

Buuza 220x290

Embaga ya Rema eriko ebibuuza

Kirumira yagasseeko nti ennaku z’omwezi baakuzitegeeza abantu mu kiseera ekituufu; n’annyonnyola nti enteekateeka...