TOP

Temwenyigira mu kubba eddagala lya Gavumenti

By Lilian Nalubega

Added 24th September 2019

Abasomeredde obujjanjabi bakubiriziddwa okwewala emize gy'obubbi bw'eddagala mu malwaliro okutaasa Bannayuganda abatalina busobozi kwejjanjabisa mu malwaliro aga ssente

Grad1webuse 703x422

Polof. Badru Kateregga ng'ayogera eri abasawo

Bya Lilian Nalubega   

Abasomesa b'abasawo mu ttendekero ly'abasawo erya Kampala University School of Nursing and Midwifery e Mutundwe beegasse ku mutandisi waalyo Polof. Alhajji Badru Kateregga ne bavumirira abasawo abalekeredde ogw'obujjanjabi ne badda mu kukukusa eddagala lya gavumenti ekivaako abantu bangi okufiirwa obulamu bwabwe.

Abasomesa bano nga bakulemberwa akulira ettendekero lino, Robinah Nakijoba bakkaanyizza kimu n'omutandisi waalyo ne bategeeza nti, bino biva ku basawo abafuluma mu matendekero nga tebayize mulimu gwabwe n'amateeka agagufuga n'ekiddirira kwe kufa ku nsimbi ze balina okufuna okusinga okujjanjaba abantu.

"Omusawo omutendeke tayinza kukukusa ddagala Gavumenti ly'eteeka mu malwaliro okujjanjaba abantu baayo n'alitwala mu kalwaliro akake gye basaba abantu ensimbi empitirivu.

Abantu abamu tebalina zisasula malwaliro ng’ago, era kyennyamiza okulaba ng’abasawo be bamu balagira abalwadde okugenda mu bulwaliro bwabwe nga beerimbika mu kubanga eyo ye wali abakugu ekitali kituufu," bwatyo Polof. Kateregga bwe yagambye.

Yabadde ayanjula enteekateeka ey'okufulumya abasawo 500 okuva mu ttendekero lino ku mukolo ogugenda okubeerawo ku Lwokuna lwa wiiki eno e Mutundwe.

Yategeezezza nti, Gavumenti esaana eveeyo n'omukono ogw'ekyuma ekangavvule abasawo abagwa mu ttuluba lino era n'alabula abasawo abafuluma okuva mu ttendekero lye obutagezaako kumuvumaganya naddala mu kiseera kino ng’aluubirira okutandikawo enkola ey'okusomesa bannansi amasomo agatabaddeewo kuno batandike n'okujjanjaba endwadde abantu ze balowooza nti nkakali.

Guno gwe gugenda okuba omulundi ogwokuna nga Kampala University efulumya abasawo era nga kati yaakafulumya abasawo 1,500 nga bano bonna baweereza mu malwaliro ga Gavumenti n'abalala bakolera ebweru w'eggwanga.

 

 

 

 

 

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kib11 220x290

Ba Kansala ku district e Kiboga...

Ba Kansala ku district e Kiboga bakubye ebituli mu budget ya District

Capture 220x290

Emitimbagano gya Vision Group gyakuvaako...

Emitimbagano gya Vision Group okuli ogwa bukedde.co.ug ne newvision.co.ug gyakuggalawo ku wiikendi eno okutandika...

Br3 220x290

Ensonga za Brian White ez'okkabasanya...

Ensonga za Brian White ez'okkabasanya abaali abakozi be zisajjuse

Kit1 220x290

Engeri akasaawe k'e Mulago gye...

Engeri akasaawe k'e Mulago gye kaalera Jimmy Kirunda

Jit1 220x290

Afiiridde mu kibanda kya firimu...

Afiiridde mu kibanda kya firimu e Mukono