TOP

Super Charger ajaguzza emyaka 25 ng’alwanyisa akawuka ka siriimu

By Ruth Nazziwa

Added 24th September 2019

Moses Nsubuga (Super Charger) ajaguzza emyaka 25 n'akawuka ka siriimu ng'asomesa n'okubudaabuda abakalina n'abatannakafuna

S2webuse 703x422

Moses Nsubuga (Super Charger) mu kitengi n'omugenyi omukulu Dr. Carl.W. Dieffenbanch (Omuzungu) n'abakungu abalala nga basala kjeeki okujaguza emyaka 25 gy'awezezza ng'alwanyisa akawuka ka siriimu

Bya Ruth Nazziwa  

Moses Nsubuga (Super Charger) ajaguzza okuweza emyaka 25 ng’alwanyisa akawuka ka siriimu, okusomesa n’okubudaabuda abakalina okuva lwe yakafuna ekibasobozesezza okunywerera ku kumira eddagala obulungi era annyonnyola:

 Mmaze emyaka 25 nga ntaasa abantu abalala obutafuna siriimu era njaguza emyaka 25 nga nsomesa abantu obutayita mu kye nayitamu basobole okwekuuma.

Okuva mu 1994 lwe nategeera nti, nnina akawuka ka siriimu, olutalo terubadde lwangu. Mubaddemu okusosolwa, okutulugunyizibwa mu birowoozo, okwekyawa, ebbula ly’eddagala n’ebintu ebirala ffe abalina akawuka ka siriimu bye tusanga.

Nkubiriza abantu abatannakafuna okwekuuma obutakafuna wabula abakafunye obutaggwaamu maanyi wabula okusituka tutambule kubanga eddagala kati gyeriri.

Mu myaka 25 gye mmaze nga nnwanyisa akawuka ka siriimu nsomesezza abantu naddala abavubuka ebikwata ku kawuka ka siriimu, engeri gye beerabiriramu, okumira obulungi eddagala, okwekuuma obutakasiiga bannaabwe, okulwanyisa obusosoze 

Wabula ekisinga okunnenyamiza kiri nti, olugendo olwa 25 lwe mmaze nga ntoba n’obulwadde buno ate okunoonyereza kulaga nti, siriimu akyeriisa nkuuli mu bavubuka okusinga abantu abalala.

Mu Uganda yonna tulina abavubuka 28,000 abalina akawuka ka siriimu naye ng’abasinga okubufuna bali wakati w’emyaka 16 ne 24. Kino kiraga nti, kati we tutuuse, abaana batandika ensonga z’okwegatta nga bali wakati w’emyaka 16 ne 18. Noolwekyo, buli muzadde alina okwekubamu ttooki okulaba ng’akoze ekimala okubuulirira abaana kubanga ebiseera ebisinga bagwa mu nsobi kubanga tetukyafuna budde kwogera nabo.

uper harger ngannyonnyola r arl ieffenbanch empagi essatu ezeesigamizibwako mu bujjanjabi nokunywerera ku ddagala  nga bwe tulindirira eddagala erinaawonya siriimuSuper Charger ng'annyonnyola Dr Carl.W. Dieffenbanch empagi essatu ezeesigamizibwako mu bujjanjabi n'okunywerera ku ddagala nga bwe tulindirira eddagala erinaawonya siriimu.

 

Abaana tubatuuze twogere nabo, tubawe eky’okukola ekirungi nga bwe tubawa ebyokulabirako ebirungi.

Mu buufu bwe bumu, okunoonyereza kulaga nti omuntu alina akawuka ka siriimu bw’abeera ku ddagala n’alimira bulungi, tasiiga naye ggwe onoomanya otya nti, omuntu gw’oli naye mulamu ate bw’aba alina akawuka, eddagala lye alimira bulungi. Ekyokudamu kiri kimu kya kwekebeza, kumanya kituufu na kutandika kumira ddagala mu bwangu n’okulinywererako.

Mu myaka 25 gino ntandiseewo omusingi n’ekigendererwa ky’okubudaabuda abantu abalina akawuka n’okubazzaamu amaanyi. Tugenda kuba nga tukung’aanira mu kifo kino ekisangibwa e Matugga ku mabanda e Sanga era tuli mu nteekateeka okulaba ng’abantu bonna abali mu kitundu kino n’abatuliraanye, basobola okugya mu kifo kino ne bafuna okubuulirirwa, okwekebeza akawuka ka siriimu, okubudaabudibwa n’okufunirawo obujjanjabi bw’akawuka. 

Omugenyi omukulu ku mukolo guno, Dr. Carl.W. Dieffenbanch okuva mu National Institute of Health - USA yasiImye Super Charger olw’okulowooza ku bantu be n’abasembereza obuweereza n’obujjanjabi bw’akawuka. 

Olw’okuba tuli ku mulamwa gw’okulwanyisa siriimu okumumalirawo ddala nga tetunnatuuka mu 2030, ekifo kino kigenda kusobozesa abantu naddala abaana n’abavubuka okufuna obujjanjabi obulungi baleme kubulira mu byalo. Mu mbeera eno, tukwatire wamu, bwe bamala okubaleeta bakeberebwe, bwe baba nga balwadde bafune eddagala ate bakomengawo beebuuze bafune okuwabulwa okw’ekikugu, kijja kubayamba okumira eddagala obulungi babeere balamu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Enanga1 220x290

Taata wa Enanga atuuyanye ku by’ettaka...

TAATA w’omwogezi wa poliisi mu ggwanga, Fred Enanga abadde mu kaseera kazibu ng’annyonnyola engeri ye ne mutabani...

Lukwago 220x290

‘Sasula obukadde 50 oba ogende...

Sandra Katebaralwe, mukyala wa Paasita David Ngabo eyacaaka ennyo olw’okusabira FDC ng’alumba gavumenti ye yadduka...

Omukyala w'olubuto bamulagajjalidde...

Omukyala w'olubuto bamulagajjalidde

Taxi5 220x290

Poliisi emukutte awambye abaana...

POLIISI y’e Bujuuko etaayizza omusajja agambibwa okuwamba abaana b’essomero n’emussa ku mpingu. Yeewozezzaako nti...

M71 220x290

Museveni awadde Sabiiti ekiragiro...

PULEZIDENTI Museveni awadde amyuka omuduumizi wa poliisi mu ggwanga, Maj. Gen. Sabiiti Muzeeyi, ennaku bbiri aveeyo...