TOP
  • Home
  • Asiika Obulamu
  • Abatuuze b’e Kiwanga bali mu kutya olw’endwadde ezoolekedde okubalukawo nga ziva ku bujama

Abatuuze b’e Kiwanga bali mu kutya olw’endwadde ezoolekedde okubalukawo nga ziva ku bujama

By Musasi wa Bukedde

Added 24th September 2019

Abatuuze b'e Kiwanga mu Mukono beekubidde enduulu olw'omugagga abadde abasumululira kazambi n'akulukutira mu mayumba gaabwe ekigenda okubalwaza kkolera

Abamukubatuuzeabaakoseddwangabalikobyebanyonyolawebuse 703x422

Abamu kubatuuze b'e Kiwanga abaakoseddwa kazambi nga beekalakaasa

Bya Joanita Nakatte

Abatuuze b’e Kiwanga mu disitulikiti y’e Mukono, beeraliikirivu olw’endwadde eziboolekedde naddala eri abaana nga zeekuusa ku bucaafu okuva mu kazambi ateebwa okuva mu wooteri y’omugaggaa ku kyalo kino, n’akulukutira mu mayumba gaabwe.

Bano beewuunyizza engeri omugagga ono, Joab Kanyima nannyini wooteeri eyitibwa Jit Hotel and Health Club bwe yaweebwa olukusa okuteeka wooteri ennene mu masekkati g’abatuuze nga tateeseteese waakuyiwa kazambi.

 tanka ya kazambi eyayabise Ttanka ya kazambi eyayabise

 

Abatuuze abaabadde abasunguwavu baategeezezza ng’abakozi mu wooteeri eno bwe baludde nga babateera kazambi ono n’abakulukutiramu kyokka nga ne bwe beekubira enduulu gye bali wadde eri abamu ku bakulembeze, bonna nga teri afaayo.

“Omwami oyo n’abakozi be baludde nga batujooga ne bwe twogerako batutunuulira kyamuli teri afaayo, abamu ku ffe tulina bizinensi okumpi ne wooteeri ye era buli lw’amuyiwa tufiirizibwa ssente mpitirivu olw’ekivundu kubanga bakasitoma babeera tebasobola kukyama kutugulako bintu.

 azambi ngakulukuta mu luguudo Kazambi ng'akulukuta mu luguudo

 

Buli lwe tukola olutalo ku kazambi gw’atuyiira, omwami oyo ayingiza abakulembeze baffe nga ne poliisi mw’ogitwalidde mu nsonga ne bibulira awo,” abatuuze bwe baagambye.

Abatuuze baasabye ab’obuyinza okumukwasisa omukono ogw’ekyuma asobole okusima ekinnya mwe banaasobola okuteeka kazambi okusinga okumuteeka mu ttanka nga bwe babadde bakola era bw’alemererwa wooteeri ye eggalwe nga tebannalwala kkolera.

 bakulembeze ne poliisi nga baliko bye babuuza abakozi mu wooteeri evaamu kazambi Abakulembeze n'abakwasisa amateeka okuva mu divisoni y'e Goma nga baliko bye babuuza abakozi mu wooteeri evaamu kazambi

 

Kansala atwala omuluka gw’e Nantabuulirwa, Robert Ssozi yannyonnyodde nga bw’agenda okukolagana ne bakulembeze banne okulaba ng’ensonga eno ekolebwako era n’ategeeza nga bwe watali muntu ali waggulu w’amateeka nga bw’anaalemwa okukkiriziganya nabo, wooteeri ye ya kuggalwa.

Omugagga Joab Kanyima eyafuniddwa ku ssimu yasuubizza okwogera eri abatuuze era ne yeetonda nti kubanga ekyaguddewo tekyabadde kigenderere olw’ensonga nti obuzibu bwavudde ku ttanka mwabadde ayiibwa okutendewalirwa n’eyabika, kyokka n’asuubiza okukkiriziganya ku ky’abakulembeze kye banaaba basazeewo.  

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sud1 220x290

Abaliko obulemu babagabudde ebya...

Abaliko obulemu babagabudde ebya ssava bya Ssekukkulu

Sub1 220x290

Allan Okello awangudde eky'obuzannyi...

Allan Okello awangudde eky'obuzannyi bw'omwaka n'aweebwa Subaru empya ttuku

Tysonfury 220x290

Tyson Fury si waakuzannya Anthony...

Fury agenda kudding'ana ne Deontay Wilder mu February w'omwaka ogujja.

Parma 220x290

ManU etunuulidde musaayimuto wa...

ManU ekyayigga bazannyi banaagizza ku maapu sizoni ejja. Mu kiseera kino eri mu kyamukaaga ku bubonero 24.

2018wolvesceleb32 220x290

Arsenal esabye Wolves olukusa eyogere...

Nuno Espirito yatendekako Valencia eya Spain, FC Porto ne Rio Ave ez'e Portugal nga tanneegatta ku Wolves.