TOP

Batongozza akuuma k'okozesa okwekebera siriimu awaka

By Olive Lwanga

Added 27th September 2019

Akuuma ka OraQuick Self Testing Kit ka bwereere mu malwaliro ga Gavumenti, kafune weekeberere awaka wo olabe bw'oyimiridde

Ora1webuse22 703x422

OraQuick HIV Self Testing Kit bwe kafaanana

Bya Olive Lwanga

Mu kaweefube w’okukendeeza ku kawuka ka siriimu, ab’ekitongole kya Human Diagnostics batongozza akuuma akakebera omuntu nga bakozesa amalusu okuzuula oba mulimu obuwuka. Omuntu yenna asobola okwekebera nga tagenze mu ddwaaliro okuleka ng’asangiddwa ng’ebivuddemu biraga nti, alina akawuka olwo n’agenda mu ddwaaliro okwongera okukeberebwa n’okubudaabudibwa.

Akuuma akayitibwa ‘OraQuick HIV Self Testing Kit’ akeeyambisibwa okuzuula ‘Anti bodies’ oba mweziri mu mubiri gw’omuntu era ssinga omuntu yeekebera ne kamulaga nti, azirina kiba kitegeeza nti ayinza okuba n’akawuka ka siriimu era nga kimwetaagisa okugenda mu ddwaaliro okwongera okwekebejjebwa.

Dr. Diana Atwine, omuwandiisi w’enkalakkalira ow’ebyobulamu yagambye nti omuntu okumanya bw’ayimiridde mu byobulamu kikulu kikusobozesa okusigala nga weekuumye ng’oli mulamu. Era tekikwetaagisa kutya bivudde mu musaayi oluvannyuma lw’okwekebeza kuba kino kikuyamba okwetegekera ebiseera byo eby’omu maaso.

Yakubirizza abantu okwettanira akantu kano kuba kakkirizibwa ekitongole ky’Ensi yonna eky’ebyobulamu nga kakola bulungi. Era ne gavumenti ke yakkiriza okuba nga kakozesebwa wano mu ggwanga era kagenda kubuna wonna.

 r iana twine ngayogera mu kutongoza rauick  elf esting it Dr. Diana Atwine ng'ayogera mu kutongoza OraQuick HIV Self Testing Kit

 

Dr. Atwine yagambye nti, kati kakozesebwa mu disitulikiti 90 naye nga bali mu nteekateeka okulaba nga kabuna wonna ate ka bwereere mu malwaliro ga gavumenti ate ag’obwannanyini osobola okuwaayo akassente akatonotono.

Omuntu akakwata n’akayisa ku bibuno by’awaggulu ne wansi omulundi gumu olwo n’akateeka mu kakebe omuli amazzi ga baffar era ssinga kujjako obusaze bubiri ku nnukuta C ne T olwo omuntu aba alina akawuka ate bwe kutajjaako kalayini ku T omuntu oyo taba na kawuka.

Polof. Vinand Natulya yagambye nti, ekigendererwa ky’okuleeta akuuma kano kwe kulaba ng’abantu ababa basigalidde nga batya okugenda mu malwaliro basobola okukakozesa awaka waabwe, abagamba nti tebalina budde bugenda mu malwaliro osobola okukagula n’okakozesa awaka.

Kino kijja kuyamba okukendeeza ku muwendo gw’abalwadde b’akawuka abapya abafunibwa buli lukedde. Ate n’okulaba ng’abategedde nti balina akawuka batandika ku ddagala mu bwangu kisobozese okwebasa akawuka olwo ekigendererwa kya gavumenti ekya 90% 90% 90% kituukirizibwa.

Bino baabyogeredde ku Protea Hotel mu Kampala ku Lwokuna nga bakatongoza.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Got11 220x290

Engeri enkuba gye yagotaanyizza...

Engeri enkuba gye yagotaanyizza entambula n'okugoya amayumba e Ndejje

Mag1 220x290

Omubaka wa Igara West Rafael Magyezi...

Omubaka wa Igara West Rafael Magyezi eyaleeta ekiteeso ky'okuggya ekkomo ku myaka gya Pulezidenti aweereddwa obwa...

Bra1 220x290

Biibino bye wasubiddwa mu mpaka...

Biibino bye wasubiddwa mu mpaka z'emisono

Ritahpenny1 220x290

Akabaga k’amazaalibwa ga Ritah...

Ritah Penny bamukoledde akabaga k'amazaalibwa akamucamudde.

Lytobosswife4 220x290

Mukyala wa Lyto Boss asulirira...

Omuyimbi Lyto Boss yeesunga 'ssukaali' mukyala we asulirira kuzaala