TOP

Mukuume obuyonjo okuziyiza alusa mu baana

By Musasi wa Bukedde

Added 30th September 2019

Abaana ennaku zino batawaanyizibwa alusa nga kiva ku bujama

Ulcer1webuse 703x422

Omuwala ng'alumwa alusa

Bya Sauyah Namwanje

Wali obaddeko n’omwana ne bakugamba nti, alina alusa nga naye muzadde we amuwa ebyokulya ate mu budde?

Alusa bulwadde obw’obulabe mu bantu ab’enjawulo okuli abakulu n’abato era ng’omuntu bw’abeera tazijjanjabye bulungi busobola okuvaako obulwadde obulala.

mmere erina okuliibwa mu budde ate ngerina emigaso eri omubiri Emmere erina okuliibwa mu budde ate ng'erina emigaso eri omubiri

 

Dr. Yusuf Mwinike, omukugu mu ddwaaliro e Mulago agamba nti, alusa ezisinga ziva ku ndya mbi abantu gye batera okwettanira n’abantu obutabeera bayonjo mu ne basobola okutambuza akawuka okuva ku muntu omu okutuuka ku mulala.

Alusa ezisinga zireetebwa akawuka akava ku bucaafu (Pyrori Ulcers) okuli omuntu obutanaaba mu ngalo ng’avudde mu kaabuyonjo n’avaayo n’akawuka. Dr. Mwinike ategeeza nti, akawuka ak’engeri eno kaabulabe.

Agamba nti, abaana abato ensangi zino basangibwa n’ekika kya alusa zino nga kiva ku kugabanya ebyokulya n’omuntu alina akawuka kano naddala nga waliwo akiriddeko.

 mukyala nganaaba mu ngalo ngavudde mu kaabuyonjo Omukyala ng'anaaba mu ngalo ng'avudde mu kaabuyonjo

 

Akawuka kano kaleeta ekyenda ky’omuntu okwenyoola, okufuna ebbugumu eringi, okuwulira ng’alina ebisaanyi oba ensolosozi mu lubuto, okufuluma oba okusesema omusaayi, kayinza okuleetera ebisenge by’omutima gw’omuntu okuzimba ne asidi okuyitirira mu mubiri, okusinduukirirwa emmeeme, omutima obutakuba bulungi n’okulumwa amaaso n’omutwe.

Akubiriza abantu olufuna obubonero buno okugenda ew’omusawo omukugu bajjanjabwe, okukuuma obuyonjo n’okulya mu budde ate emmere erina emigaso eri emibiri.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Enanga1 220x290

Taata wa Enanga atuuyanye ku by’ettaka...

TAATA w’omwogezi wa poliisi mu ggwanga, Fred Enanga abadde mu kaseera kazibu ng’annyonnyola engeri ye ne mutabani...

Lukwago 220x290

‘Sasula obukadde 50 oba ogende...

Sandra Katebaralwe, mukyala wa Paasita David Ngabo eyacaaka ennyo olw’okusabira FDC ng’alumba gavumenti ye yadduka...

Omukyala w'olubuto bamulagajjalidde...

Omukyala w'olubuto bamulagajjalidde

Taxi5 220x290

Poliisi emukutte awambye abaana...

POLIISI y’e Bujuuko etaayizza omusajja agambibwa okuwamba abaana b’essomero n’emussa ku mpingu. Yeewozezzaako nti...

M71 220x290

Museveni awadde Sabiiti ekiragiro...

PULEZIDENTI Museveni awadde amyuka omuduumizi wa poliisi mu ggwanga, Maj. Gen. Sabiiti Muzeeyi, ennaku bbiri aveeyo...