TOP

Omusawo alaze empagi 6 kw'oba otambulira okwewala endwadde

By Musasi wa Bukedde

Added 30th September 2019

Ayagala okulwanyisa endwadde weekwate empagi mukaaga ofune obulamu obweyagaza

Health1webuse 703x422

Okukola dduyiro kuyamba mubiri okubeera omulamu

Bya Sauyah Namwanje

Omuntu okubeera n’obulamu obulungi tekitegeeza kuwuliriza bigambo bya musawo byokka wabula naawe wennyini olina okufaayo okubaako ne ky’omanyi naddala kw’ebyo omusawo by’abeera agenda okukugamba kuba omusawo yenna agenda okuyingirawo mu bulamu bwo nga naawe oluusi oliko by’osobola okwewala.

Dr. Patrick Tusiime, kaminsona ow’eddwadde ezikwata okuva ku muntu omu okutuuka ku mulala  agamba nti, abantu ffenna tulina okwettanira empagi mukaaga ez’okwewala endwadde mu bulamu bwaffe, okuli:

 r atrick usiime omukungu okuva mu minisitule eyebyobulamnu ngayogera ku mpagi omukaaga omuntu zalina okwettanira okusigala ngalina obulamu obweyagaza Dr. Patrick Tusiime, omukungu okuva mu minisitule ey'ebyobulamnu ng'ayogera ku mpagi omukaaga omuntu z'alina okwettanira okusigala ng'alina obulamu obweyagaza.

 

1. Okubeera abayonjo mu maka nga muno mulimu; okufumba amazzi ag’okunywa, okwoza engoye ne zigololwa, okusaawa ensiko eyeetoolodde n’ebirala ebiyinza okulabisa omuntu n’awaka we nga walabika bulungi.

2. Okwettanira okugemebwa endwadde ez'enjawulo: Abantu okugenda okugemebwa okuyambako okutangira endwadde ezitali zimu ng’olukesense kubanga ezimu bw’otozigema zisobola okutta okuli; olukusense, omwana n’azaalibwa ng’obwongo bunafu, okuzaalibwa ng’amaaso tegalaba, okubeera n’ebituli ku mutima nga zino omuntu osobola okuzeewala.

3. Omuntu okulya obulungi naddala emmere erimu ebiriisa byonna kubanga bino biyamba okukuuma omubiri obutafuna ndwadde naddala emmere erimu ebiriisa ebizimba n’okuyamba okulwanyisa endwadde ezirumba omubiri.

 musawo ngakebera puleesa yomuvubuka Omusawo ng'akebera puleesa y'omuvubuka

 

4. Okukola dduyiro omuntu waakiri n’otuuyanako ate ku bantu abalina obusobozi waakiri bagendeko mu ggiimu. Osobola okukola dduyiro ow’eddakiika 30 ng’okudduka, okutambula, okuwuga n’ow’engeri endala kuba dduyiro ayambako mu kutangira endwadde z’omutima, kookolo, sukaali n’okuyambako okukuuma obuzito bw’omubiri gw’omuntu obusaanidde.

5. Okugenda okukeberebwa mu malwaliro awali abasawo abakugu ne bw’oba owulira bulungi kubanga kikuyambako okumanya ebitundu by’omubiri gwo eby’enjawulo bwe biyimiridde n’oziyiza obuzibu ssinga bubaawo nga tonnakiwulira. Weekebeze amaaso, omutima, ensigo n’ebitundu ebirala, okumanya omusaayi gwo kubanga obulamu obulungi bubeera mu mubiri omulamu ddala.

6. Okwewala okulya omunnyo omungi mu byokulya naddala omubisi kubanga gulinnyisa emisinde gy’omusaayi mu mubiri ne gwonoona omutima, ensigo n’obwongo ekirinnyisa puleesa.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Enanga1 220x290

Taata wa Enanga atuuyanye ku by’ettaka...

TAATA w’omwogezi wa poliisi mu ggwanga, Fred Enanga abadde mu kaseera kazibu ng’annyonnyola engeri ye ne mutabani...

Lukwago 220x290

‘Sasula obukadde 50 oba ogende...

Sandra Katebaralwe, mukyala wa Paasita David Ngabo eyacaaka ennyo olw’okusabira FDC ng’alumba gavumenti ye yadduka...

Omukyala w'olubuto bamulagajjalidde...

Omukyala w'olubuto bamulagajjalidde

Taxi5 220x290

Poliisi emukutte awambye abaana...

POLIISI y’e Bujuuko etaayizza omusajja agambibwa okuwamba abaana b’essomero n’emussa ku mpingu. Yeewozezzaako nti...

M71 220x290

Museveni awadde Sabiiti ekiragiro...

PULEZIDENTI Museveni awadde amyuka omuduumizi wa poliisi mu ggwanga, Maj. Gen. Sabiiti Muzeeyi, ennaku bbiri aveeyo...