TOP

Bamuzibe baakusomesebwa obusawo bw’okukebera kookolo w’amabeere

By Ruth Nazziwa

Added 4th October 2019

Ekitone kya bamuzibe okuwulira n'okuzuula kookolo w'amabeere nga beeyambisa okukwata ku muntu kyakukozesebwa mu kuzuula abamufunye nga tannasaasaana mu mubiri

Giftedwebuse 703x422

Ivan Otim owa Gifted Hands n'omu ku bakyala be bagenda okuyigiriza obusawo bw'okukebera kookolo w'amabeere

Bya Ruth Nazziwa

Nga tuli mu mwezi gw’okubunyisa enjiri ku kookolo w’amabeere, minisitule y’ebyobulamu wamu n’ekitongole ekikumaakuma bamuzibe n’okubunyisa enjiri ku kookolo w’amabeere ekya Gifted Hands batandise kaweefube w’okukunga abantu okwekebeza obulwadde buno n’ekiruubirirwa ky’okulaba ng’omuwendo gw’abantu abafuna kookolo w’amabeere gukendeera.

Ivan Otimu owa Gifted Hands agamba nti, ekisinga okwennyamiza, abantu abasinga obungi tebamanyi kwekebera kookolo w’amabeere ate nga n’okwekebeza tebakikola. So nga bw’otegeera amangu ebimukwatako kikuyamba okubuziyiza n’obujjanjabi bwangu naddala ng’omutegeera tannasaasaana.

Mu mbeera eno, ekitongole kya Gifted Hands kitandise kaweefube w’okusomesa bamuzibe obusawo nga basobola okuyambako mu kukebera abantu kookolo w’amabeere kubanga amaaso gaabwe gasobola okulaba okusinga ag’abalala.

Okunoonyereza kulaga nti, olw’okuba abantu ab’ekikula kino basobola okusoma nga bakozesa obwongo bwabwe, ssaayansi ataddewo embeera okulaba nga basobola okufuna obutoffaali bwa kookolo obusingayo obutono n’omusawo bwatasobola kutuukako mangu ekinaatusobozesa okuzuula obulwadde buno nga bukyali n’emikisa gy’okuwona gibeera mingi.

Kino kyakuyambako okukendeera ku muwendo gw’abantu abatuuka mu ddwaaliro nga kookolo akuze nga n’omusawo takyasobola kutaasa bulamu bwe.   

Baategese ekyeggulo kwe bagenda okusondera ssente ez’okusomesa abasawo bamuzibe ku kivvulu kye bayise ‘Dinner in the dark’ ku Sheraton Hotel nga 18 ng’okuyingira kwa 100,000/-. Era ng’okusomesa ku bulwadde buno n’okukebera kookolo w’amabeere ku bwereere.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Enanga1 220x290

Taata wa Enanga atuuyanye ku by’ettaka...

TAATA w’omwogezi wa poliisi mu ggwanga, Fred Enanga abadde mu kaseera kazibu ng’annyonnyola engeri ye ne mutabani...

Lukwago 220x290

‘Sasula obukadde 50 oba ogende...

Sandra Katebaralwe, mukyala wa Paasita David Ngabo eyacaaka ennyo olw’okusabira FDC ng’alumba gavumenti ye yadduka...

Omukyala w'olubuto bamulagajjalidde...

Omukyala w'olubuto bamulagajjalidde

Taxi5 220x290

Poliisi emukutte awambye abaana...

POLIISI y’e Bujuuko etaayizza omusajja agambibwa okuwamba abaana b’essomero n’emussa ku mpingu. Yeewozezzaako nti...

M71 220x290

Museveni awadde Sabiiti ekiragiro...

PULEZIDENTI Museveni awadde amyuka omuduumizi wa poliisi mu ggwanga, Maj. Gen. Sabiiti Muzeeyi, ennaku bbiri aveeyo...