TOP

Minisita acwaanye lwa muwendo gw'abalwadde kweyongera

By Gerald Kikulwe

Added 5th October 2019

Minisita w'ebyobulamu, Dr. Jane Ruth Aceng acwaanye olw'abasawo okumuwa lipooti eraga ng'abantu abalwala beeyongera obungi ng'ate bakola kampeyini z'okulwanyisa n'okugemesa endwadde

Hondrjaneruthacengwebuse 703x422

Minisita Dr. Jane Ruth Aceng ng'ayogera mu lukiiko mwe yeecwanidde

Bya Gerald Kikulwe

Minisita w’ebyobulamu mu ggwanga, Dr. Jane Ruth Aceng yennyamidde olw’ebivudde mu kunoonyereza mu mwaka gw’ebyobulamu 2018/19 okulaga ng’omuwendo gw’abantu abaweebwa ebitanda buli lunaku bwe gweyongedde, abakyala abafiira mu ssanya n’ab’obubenje okufiira mu ddwaaliro.

Yabadde mu ttabamiruka w’ebyobulamu ow’omulundi ogwa 25 eri minisitule y’ebyobulamu ate nga gwe mulundi ogwa 11 ng’ekitongole ky’ebyobulamu kimweyambisa okwanjulira eggwanga engeri gye kikozeemu okutuusa obujjanjabi eri omuntu owa wansi n’enteekateeka y’omwaka oguddako.

Ttabamiruka ono eyamaze ennaku ssatu okuva nga October 2 - 4 2019 ku ofiisi z’Obwapulezidenti e Nakasero mu Kampala.

Yalaze ng’abalwadde abaweebwa ebitanda bwe beeyongera buli lukya era ebyavudde mu kunoonyereza omwaka  gw’ebyobulamu gwonna (2018/19) biraga, omusujja gw’ensiri, lubyamira, ab’obubenje abafa olw’obulagajjavu bw’abasawo n’endwadde ezitasiigibwa bwe byegirisizza ennyo.

 bakungu abeetabye mu lukiiko lwokukubaganyizaamu ebirowoozo Abakungu abeetabye mu lukiiko lw'okukubaganyizaamu ebirowoozo

 

Abalwadde 33 ku 100 be baweereddwa ebitanda lwa musujja gwa nsiri, ate 13 ku 100 be balwadde omusujja gw’ensiri naye ne bataweebwa bitanda.

Lubyamira n’okukolola bali 8 ku 100 abaweereddwa ebitanda ate 11 tebaweereddwa. Abantu 7 ku 100 ba bubenje n’obulwadde obulala.

Abakyala abafiira mu ssanya olw’okusangibwa n’omusujja gw’ensiri bali 13 ku 100, abafa olwa lubyamira bali 8 ku 100, abafa olw’obubenje bali 7 ku buli 100 n’endwadde endala.

Kino kyatabudde minisita n’akuba emmeeza nga yeebuuza engeri kino gye kisoboseemu kyokka ng’endwadde zino zonna zibadde zikolerwa kampeyini w’okuzigema n’okuziziyiza era wano we yakyukidde abavunaanyizibwa ku byobulamu mu buli kitundu ky’eggwanga eky’enjawulo nti, balina okwennyonnyolako.

 inisita r ane uth ceng ku kkono obinah ukwago ne minisita omubeezi arah pendi nga batuuka mu lukiiko Minisita Dr. Jane Ruth Aceng (ku kkono), Robinah Lukwago ne minisita omubeezi Sarah Opendi nga batuuka mu lukiiko

 

“Tetusobola kumala nnaku ssatu nga tuzze kuwulira ngeri balwadde abaweebwa ebitanda gye beeyongedde, kino kiraga nti tetulina kye tukoze mu kutangira endwadde eri abantu baffe, okuntegeeza ku mujjuzo gw’abalwadde mu malwaliro si kye njagala okuwulira, njagala kulaba ng’abantu tebakyalwala.

Mazima kimpa okutya bwe mpulira nti, omuwendo gw’abakyala abafiira mu ssanya gusinga ogw’abaana abafa nga bazaalibwa, bino byombi tekuli kye mpagira kubeerawo naye kyeraliikiriza nti ate abakyala be basinga okufa, ensomesa yaffe ye yeekibogwe oba bulagajjavu,” minisita Acenge bwe yeebuuzizza.

Sarah Opendi, minisita omubeezi ow'ebyobulamu yalabudde Bannayuganda ku kkolera, n'abasaba okukuuma obuyonjo era n’okwewala okukwatibwa endwadde endala ezisobola okuziyizibwa kuba okuziyiza kusinga okuwonya era n’akunga buli gwe kikwatako okusitukiramu okutaasa obulamu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Enanga1 220x290

Taata wa Enanga atuuyanye ku by’ettaka...

TAATA w’omwogezi wa poliisi mu ggwanga, Fred Enanga abadde mu kaseera kazibu ng’annyonnyola engeri ye ne mutabani...

Lukwago 220x290

‘Sasula obukadde 50 oba ogende...

Sandra Katebaralwe, mukyala wa Paasita David Ngabo eyacaaka ennyo olw’okusabira FDC ng’alumba gavumenti ye yadduka...

Omukyala w'olubuto bamulagajjalidde...

Omukyala w'olubuto bamulagajjalidde

Taxi5 220x290

Poliisi emukutte awambye abaana...

POLIISI y’e Bujuuko etaayizza omusajja agambibwa okuwamba abaana b’essomero n’emussa ku mpingu. Yeewozezzaako nti...

M71 220x290

Museveni awadde Sabiiti ekiragiro...

PULEZIDENTI Museveni awadde amyuka omuduumizi wa poliisi mu ggwanga, Maj. Gen. Sabiiti Muzeeyi, ennaku bbiri aveeyo...