TOP

Omusingi gw'okukula kw'omwana guzimbire ku kumuliisa magi

By Musasi wa Bukedde

Added 8th October 2019

Enkula y'omwana ennungi n'okukwata by'asoma n'ebimugambibwa byesigama ku ndiisa nga n'ekisinga mu byonna kwe kumuwa eggi okutandikira ku myezi mukaaga

Omwanangawomerwaeggiwebuse 703x422

Omwana ng'alya eggi

Bya Prossy Nababinge

Omusingi gw’obulamu obulungi eri omwana gwesigama ku bintu omuzadde by’amuliisa. Kino kibeera kitegeeza nti, ng’omuzadde okumanya ekituufu eky’okuliisa omwana wo y’emu ku ngeri gy’osobola okukakasa nga ne mu bukulu bwe alibeera mulamu bulungi.

Nga twetegekera okujaguza olunaku lw’amagi olubeerawo buli lwa October 11 mu nsi yonna, Sr. Molly Busingye, akulira abasawo mu ddwaaliro lya KCCA erya Kiswa Health Centre III annyonnyola nti, eggi y’emu ku mmere esinga omugaso naddala mu bulamu bw’omwana gy’otoyinza kubuusa maaso.

 aama ngaliisa omwana eggi lyakubidde mu mmere Maama ng'aliisa omwana eggi lyakutabudde mu mmere

 

Annyonnyola nti, enjuba y’eggi yokka erimu ekiriisa ekizimba omubiri, obwongo, enviiri, amaaso n’akasusu akalungi mu baana.

Osobola okulikubira mu byokulya ng’obuugi ssinga omwanawo abeera tayagala kulya.

Akkaatiriza nti, omuzadde yenna yandibadde atandisa omwana okulya eggi ng’awezezza emyezi mukaaga era ssinga omwana yenna asubwa okulya eggi mu buto bwe, kiyinza n’okukosa engeri gy’akulamu nga kw’otadde n’engeri obwongo bwe gye bukwata mu bukulu bwe.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Nsonga 220x290

FUFA etongozza kampeyini ya AFCON...

FUFA etongozza kkampeyini ya Uganda okugenda mu Africa Cup of Nations e Cameroon omwaka ogujja ne bateekawo engombo...

Fufaafconprepsoct23bukedde6 220x290

Cranes yaakutambulira mu Bombardier...

Abakungu ba FUFA bagamba nti ennyonyi ya Uganda Airlines y'egenda okubatumbuza nga bagenda okuzannya Burkina Faso...

Capture 220x290

Poliisi ekutte omuwala abba ssente...

Poliisi ekutte omuwala abba ssente ku masimu: Akoppa pin code n'azeesindikira

Buv1 220x290

Omuliro gusaanyizzaawo ebintu ku...

Omuliro gusaanyizzaawo ebintu ku kizinga e Buvuma

Kcca1 220x290

Ow'e Swaziland waakulamula ogwa...

Sifiso Nxumalo, Petros Mzikayifani Mbingo (Swaziland) ne Njabulo Dlamini (South Sudan)baakuyambako Thulani Sibandze...