TOP

Omwana anaabeera ow'obuvunaanyizibwa omulabira ku nyumba mwe basula

By Musasi wa Bukedde

Added 8th October 2019

Omwana bw'akulira mu nju enzimbe obulungi ne bw'akula abeera wa buvunaanyizibwa

Webuse1 703x422

Nabirye n'abamu ku baana be omwenda baasula nga bali mu nyumba mwe basula n'enkoko ssaako embuzi

Bya Peace Navvuga

Ephrance Nabirye 49, omutuuze w’e Kityerere mu disitulikiti y’e Mayuge nnamwandu alina abaana mwenda baasuza mu kasenge kamu mw’asuza enkoko n’embuzi by’alina ng’ekyobugagga mw’asuubira okufuna ssente ezibalabirira.

Buli enkuba lw’etonnya azuukusa abaana n’azingako ebikunta ne bayimirira mu bufo awatatonnya oktuusa lw’ekya, wabula era omutima tegumubeeramu kuba n’akayumba kakutte mu mbinabina ng’ekiseera kyonna akasolya kasobola okugwaamu nako okugwa.

 baana ba abirye nga bazannya awaka waabwe Abaana ba Nabirye nga bazannya awaka waabwe

 

Endwadde okuva ku musujja gw'ensiri, ekiddukano, endwadde z'ensusu n'ebirala bitawaanya abaana bano ng'ate n'obusobozi obubajjanjabisa mu ddwaaliro tabulina.

Embeera eno yawalirizza ab’ekibiina kya Habitat for Humanity okuvaayo okumudduukirira nga bamuzimbira enju  naddala nga Uganda ekuza olunaku lw’okuzimba mu nsi yonna nga lino ly’eddagala erisooka eri buli munnayuganda okukulaakulana kubanga omwana bw’ava mu nju etegeerekeka era abeera wa buvunaanyizibwa.

 aabuyonjo abirye nabaana be gye bakozesa Kaabuyonjo Nabirye n'abaana be gye bakozesa

 

Robert Otim, maneja wa Habitat annyonnyola nti ssinga abazadde tebazimbira mwana waabwe kyangu naye obutazimba kubanga kino kiva ku bwavu obukudde ejjembe bwe babeeramu. Wano we baviirayo okuyamba ku abo abateesobola mu bitundu by’eggwanga eby’enjawulo nga babazimbira amayumba ku bwereere.

Akulira enteekateeka eno, Gilbert Omedda agamba nti bakwatagana n’abakulembeze mu kitundu abawaayo amannya g’abo abeetaaga okuyamba naye nga bano balina okuba n’ekyapa ky’ettaka olwo ne bakwatagana n’abatuuze okubazimbira nabo ne babeerako mu bulamu obweyagaza.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Nsonga 220x290

FUFA etongozza kampeyini ya AFCON...

FUFA etongozza kkampeyini ya Uganda okugenda mu Africa Cup of Nations e Cameroon omwaka ogujja ne bateekawo engombo...

Fufaafconprepsoct23bukedde6 220x290

Cranes yaakutambulira mu Bombardier...

Abakungu ba FUFA bagamba nti ennyonyi ya Uganda Airlines y'egenda okubatumbuza nga bagenda okuzannya Burkina Faso...

Capture 220x290

Poliisi ekutte omuwala abba ssente...

Poliisi ekutte omuwala abba ssente ku masimu: Akoppa pin code n'azeesindikira

Buv1 220x290

Omuliro gusaanyizzaawo ebintu ku...

Omuliro gusaanyizzaawo ebintu ku kizinga e Buvuma

Kcca1 220x290

Ow'e Swaziland waakulamula ogwa...

Sifiso Nxumalo, Petros Mzikayifani Mbingo (Swaziland) ne Njabulo Dlamini (South Sudan)baakuyambako Thulani Sibandze...