TOP

Kabaka alagidde ku kugema obulwadde bw'ekibumba ne siikoseero

By Lilian Nalubega

Added 11th October 2019

Ssaabasakka Kabaka Ronald Muwenda Mutebi agguddewo kaweefube w'okulwanyisa obulwadde bw'ekibumba (Hepatitis B), akawuka ka siriimu ne siikoseero

Omusajjangabamugemaekirwaddekyekibumbawebuse 703x422

Omusawo ng'agema omuvubuka obulwadde bw'ekibumba

Bya Lilian Nalubega

Ekitongole kya Kabaka eky'okwekulaakulanya ekya Kabaka Foundation kitandise kaweefube waakyo okugema abantu obulwadde bw'ekibumba mu Ssaza ly'e Kkooki.

Abantu 762 be baagemeddwa nga guno gwe muwendo ogukyasinze obunene bw'ogeraageranya n'ogw’abantu ababadde bagemebwa mu masaza amalala kaweefube ono gye yaakatandika.

 bantu nga beewandiisa okukeberebwa ku ulange Abantu nga beewandiisa okukeberebwa ku Bulange

 

Akulira Kabaka Foundation, Eddie Ndagala Kaggwa eyabadde ku Bulange e Mmengo ng’akulembeddemu okugema obulwadde bw'ekibumba yategeezezza nti, kino kyabawalirizza okuteekawo ebifo bibiri mwe bajja okugemeranga abantu mu ssaza lya Kkooki abantu basobole okujjanjabwa.

Yategeezezza nti, era Ssaabasajja yasiimye abantu batandike n’okukeberebwa akawuka ka siriimu n'okukebera abantu obutoffaali obuleeta obulwadde bwa siikoseero. 

"Tugenda kutandika okukebera abantu okubamanyisa oba balina obutoffaali obuleeta siikoseero ate n'akawuka ka siriimu nga November 12 ne 13 ku Bulange. Tusuubira n'okutuuka mu masaza amalala nga bwe twongera n'okugema obulwadde bw'ekibumba," Ndagala bwe yagambye.

 bantu nga balinze okukeberebwa Abantu nga balinze okukeberebwa

 

Abantu abasoba mu 100,000 be baakagemebwa obulwadde bw'ekibumba kasookedde batandika kaweefube ono mu 2017.

Amasaza okuli Ssingo ge gagenda okuddako nga October 15 ate nga October 23, babeere e Gomba. 

Okukebera siikoseero kwa ku kukomekkerezebwa ku misinde gy'amazaalibwa ga Kabaka aga 2020.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abataka1webuse 220x290

Tetugenda kusirika ng'ebika bisereba...

Bakatikkiro b'ebika balayidde obutaleka bika kusereba ne basalawo okwegatta bakolere wamu okubitumbula

Muzaata 220x290

Ebyabadde mu nsisinkano ya Museveni...

Pulezidenti Museveni asisinkanye akakiiko ka poliisi akafuzi n’alagira abaserikale essira balisse ku kulwanyisa...

Lim21webuse 220x290

Engeri gy'olimira mu kkutiya okufuna...

Omusomesa akulaga bw'akozesa ebikutiya okukola ssente mu kulima enva endiirwa

Bebi 220x290

Aba Ghetto Kids bafunye ku kamwenyumwenyu...

Aba Ghetto Kids bafunye ku kamwenyumwenyu

Pawa4 220x290

Gav't etongozza enteekateeka ya...

MINISITA w'eby’amasanyalaze n’obugagga bw’omuttaka Eng. Irene Muloni atongoza entekateeka empya gavumenti mwegenda...