TOP
  • Home
  • Asiika Obulamu
  • Abasajja mwettanire okubakomola mukendeeze ku kusaasaanya akawuka ka siriimu

Abasajja mwettanire okubakomola mukendeeze ku kusaasaanya akawuka ka siriimu

By Musasi wa Bukedde

Added 18th October 2019

Ab'ebyobulamu bakubirizza abasajja okukomolebwa bakendeeze ku mikisa gy'okukwatibwa akawuka ka siriimu

Img3176webuse1 703x422

Dr. Karagu Karusi ng'alaga emikebe gy'eddagala erigabwa eri abalina akawuka ka siriimu bwe baabadde kukitebe kyabwe e Kamwokya

Bya Peace Navvuga

Buli luvannyuma lw’ennaku musanvu, abantu 1,000 be bafuna akawuka ka siriimu so ng’ate abantu 500 be bafa oluvannyuma lw’okufuna akawuka.

Lipooti eno yaweereddwa akakiiko akavunaanyizibwa ku nsonga eno mu lukiiko lwa bannamawulire nga yakakasiddwa minisita avunaanyizibwa ku nsonga z’omukulembeze w’eggwanga Esther Mbayo akola ku nteekateeka y’omukulembeze w’eggwanga eya ‘Fast Track Initiave’, ng’eno yateekebwawo n’ekigendererwa eky’okumalawo siriimu nga 2030 tegunnatuuka era nga yatongozebwa mu 2017.

Dr. Vincent Bagambe owa Uganda Aids Commission agamba nti, wakyaliwo omulimu munene ng’abantu abasoba mu kakadde kamu be balina akawuka ka siriimu nga 50,000 be bapya abakafuna buli mwaka naye nga tuli wadde waddeko okusinziira ku muwendo gw’abantu abafanga emyaka egiyise.

r arusi akulira  mu ganda minisita bayo nga naye mukungu ku lukiiko lwa  bwe baabadde ku kitebe kya bannamawulire mu ampala   Dr. Karusi akulira UNAIDS mu Uganda (ku kkono), minisita Mbayo nga naye mukungu ku lukiiko lwa UNAIDS bwe baabadde ku kitebe kya bannamawulire mu Kampala.

 

Nga bino tebinnabaawo, ekitongola ky’ensi yonna ekya UNAIDS kyasisinkanye bannamawulire ku kitebe kyabwe e Kamwokya ne bakubiriza abantu okwongera okwewala ebikolwa ebiyinza okuvaako okufuna akawuka ka siriimu nga okwegadanga n’abantu ab’enjawulo b’oteekakasa bwe bayimiridde.

Akulira ekitongole kino, Dr. Karusi Kiragu yakubirizza abasajja okwettanira okukomolebwa kuba kiyambako mu kukendeeza emikisa gy’okukwatibwa akawuka ka siriimu.

Okusinziira ku lipooti, abaana be bakyasinze okukosebwa nga bano bafa ebitundu 66 ku buli 100.

 

 

 

 

 

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abataka1webuse 220x290

Tetugenda kusirika ng'ebika bisereba...

Bakatikkiro b'ebika balayidde obutaleka bika kusereba ne basalawo okwegatta bakolere wamu okubitumbula

Muzaata 220x290

Ebyabadde mu nsisinkano ya Museveni...

Pulezidenti Museveni asisinkanye akakiiko ka poliisi akafuzi n’alagira abaserikale essira balisse ku kulwanyisa...

Lim21webuse 220x290

Engeri gy'olimira mu kkutiya okufuna...

Omusomesa akulaga bw'akozesa ebikutiya okukola ssente mu kulima enva endiirwa

Bebi 220x290

Aba Ghetto Kids bafunye ku kamwenyumwenyu...

Aba Ghetto Kids bafunye ku kamwenyumwenyu

Pawa4 220x290

Gav't etongozza enteekateeka ya...

MINISITA w'eby’amasanyalaze n’obugagga bw’omuttaka Eng. Irene Muloni atongoza entekateeka empya gavumenti mwegenda...