TOP

Omuwendo gw’abantu abakozesa kondomu guserebye

By Ruth Nazziwa

Added 22nd October 2019

Bannayuganda bakubiriziddwa okwettanira okukozesa kondomu bwe tunaaba baakumalawo siriimu ng'omwaka 2030 tegunnatuuka

4webuse 703x422

Sarah Nakku n'abakungu ba UNAIDS abalala nga boogera ku kawuka ka siriimu

Bya Ruth Nazziwa

Uganda yeeteekateeka okukuza olunaku lwa siriimu olw’ensi yonna olubeerawo buli lwa December/1  buli mwaka, olunaabeera e Kayunga ng’essira liteekebwa ku maanyi abantu okuva mu bitundu gye babeera ge bateekamu mu kulwanyisa siriimu kubanga bakola kinene mu kunoonyereza ku siriimu," akulira ekitongole kya UNAIDS mu ggwanga Dr. Karusa Kiragu - Gikonyo bwe yagambye.

Sarah Nakku, ow’ekitongole kya UNAIDS agamba nti okulaba nga tutuukiriza ekiruubirirwa kyaffe eky’okukomekkereza obulwadde bwa siriimu ng’omwaka 2030 tegunnatuuka abantu balina okubaako ebintu bye bakola okulaba nga tutuukiriza, okuli: Okwettanira okukozesa kondomu buli kiseera w’ozeetaagira.

 r arusa iragu owa  ngayogera Dr. Karusa Kiragu owa UNAIDS ng'ayogera

 

Kyazuulibwa nga mu bantu abakulu, abantu 36 ku buli 100 be bettanira okuzikozesa, so nga kimanyiddwa nti kondomu nsaale mu kutangira akawuka ka siriimu, embuto z’oteetegekedde n’obulwadde bw’ekikaba obulala.

Era kyazuulibwa nga mu bafumbo, 33 ku buli 100 be bokka abakozesa kondomu nga beegasse n’abantu abalala abatali baagalwa baabwe ababulijjo.

Ebiremesa abantu okukozesa kondomu

  1. Okulemererwa okuzifuna mu budde mwe bazeetaagira kuba bangi beegatta tebeetegese okugeza ababeera mu biduula.
  2. Oluusi abantu batya okuzeegulira olw’okutya okusongebwamu emimwa.
  3. Ate n’abazikozesa kibabeerera kizibu okuzinywererako okumala ekiseera.
  4. Abantu abamu oluzikozesa omulundi ogusooka n’ogwokubiri, ogwokusatu tebaddamu kuzikozesa.
 r oses uwonge okuva mu amasha edical oundation ngasomesa enkozesa ya kondomu yabakyala eyakapale empya eya female panty condom Dr. Moses Muwonge okuva mu Samasha Medical Foundation ng'asomesa enkozesa ya kondomu y’abakyala ey’akapale empya eya “female panty condom”

 

Era mu kunoonyereza okwakolebwa ekitongole kya UNAIDS mu 2018 kulaga nti, abantu 33 ku buli 100 beegatta n’abantu abatali baagalwa baabwe ab’enjawulo eky’obulabe.

Kino kyongera okulaga nti, abantu 67 ku buli 100 tebakozesa kondomu, ekyetaagisa amaanyi okwongerwamu okulaba ng’abantu tebazisuulirira mu kulwanyisa okufuna n’okusaasaanya akawuka ka siriimu.

Wabula buli muntu alina okukimanya nti, siriimu akyaliwo ate nga tasosola mu myaka era mu wiiki, wabeerayo abantu abapya 1,000 abafuna akawuka kano era ng’obulwadde buno businga kwegiriisiza mu bakyala abali wakati w’emyaka 25 ne 34 n’abasajja abali wakati w’emyaka 35 ne 49.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abataka1webuse 220x290

Tetugenda kusirika ng'ebika bisereba...

Bakatikkiro b'ebika balayidde obutaleka bika kusereba ne basalawo okwegatta bakolere wamu okubitumbula

Muzaata 220x290

Ebyabadde mu nsisinkano ya Museveni...

Pulezidenti Museveni asisinkanye akakiiko ka poliisi akafuzi n’alagira abaserikale essira balisse ku kulwanyisa...

Lim21webuse 220x290

Engeri gy'olimira mu kkutiya okufuna...

Omusomesa akulaga bw'akozesa ebikutiya okukola ssente mu kulima enva endiirwa

Bebi 220x290

Aba Ghetto Kids bafunye ku kamwenyumwenyu...

Aba Ghetto Kids bafunye ku kamwenyumwenyu

Pawa4 220x290

Gav't etongozza enteekateeka ya...

MINISITA w'eby’amasanyalaze n’obugagga bw’omuttaka Eng. Irene Muloni atongoza entekateeka empya gavumenti mwegenda...