TOP

Musomesa amasomo ga ssaayansi -Abakugu

By Musasi wa Bukedde

Added 29th October 2019

Abakugu balabudde ku bulabe bw'ovutabeera na ggwanga lisomeseddwa bya ssaayansi

Studentinthepracticallabarotarywebuse 703x422

Omuyizi ng'asoma ebitundu by'omubiri gw'omuntu mu ssomo lya ssaayansi

Bya Stella Naigino

Abakugu bakubirizza abalina amatendekero okusomesa abayizi amasomo ga ssaayansi kisobole okuyimusa eggwanga.

Polof. Eriabu Lugujjo, omumyuka wa cansala wa yunivasite ya Ndejje yagambye nti, okusomesa ssaayansi kijja kutaasa eggwanga lwaffe ebintu okuli:

  1. Okusaasaanya ku basawo okuva ebweru w’eggwanga: Ebiseera ebisinga, abasawo abamu bava wabweru okujja wano okujjanjaba endwadde ezimu.

Kino kiva ku kubulwa bakugu abasobola okujjanjaba endwadde ezo era nga kino kireetera gavumenti okusaasaanya ensimbi empitirivu.

Okumalawo kino, tulina kusomesa baana baffe bintu bya ssaayansi olwo bakuguke mu bintu eby’enjawulo.

 muyizi ngasoma ku nkizi zomuntu Omuyizi ng'asoma ku nkizi z'omuntu

 

  1. Okukendeeza ku bantu abagenda okujjanjabibwa ebweru: Abantu abagenda ebweru okujjanjabibwa nabo bangi ekitwala ssente ennyingi.
  2. Kyongera ku basawo be tulina: Dr. Nelson Wasswa, asomesa amasomo ga ssaayansi ku yunivasite e Ndejje agamba nti, “Abasawo abakugu batono era nga bwe twettanira okusomesa abasawo abawera, tubeera tujja kwongera ku muwendo gw’abasawo be tulina.

Kino kijja kwongera ne ku kukola n’abo abaliwo nga bajja kumanya nti balina abalala abajja okubeegattako bakolere wamu nga tebamenyese,” Wasswa.

 r elson asswa Dr. Nelson Wasswa

 

Dr. Steven Mukasa ow’eddwaaliro ly’e Nsambya agamba nti, okusoomoozebwa okuliwo mu malwaliro be bantu ababba eddagala ne balemesa enzijanjaba esaanidde.

Ekirala ebikozesebwa bikyali bitono nakyo ekikosa enkola y’abasawo.

Gavumenti esaana eyongere ne ku misaala gy’abasawo baleme okutangatanga.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Br3 220x290

Ensonga za Brian White ez'okkabasanya...

Ensonga za Brian White ez'okkabasanya abaali abakozi be zisajjuse

Kit1 220x290

Engeri akasaawe k'e Mulago gye...

Engeri akasaawe k'e Mulago gye kaalera Jimmy Kirunda

Jit1 220x290

Afiiridde mu kibanda kya firimu...

Afiiridde mu kibanda kya firimu e Mukono

Bad1 220x290

King Michael akaayidde Balaam

King Michael akaayidde Balaam

Dot1 220x290

Ebyokutambula bino byetaagamu kasooda...

Ebyokutambula bino byetaagamu kasooda