TOP

Omusuubuzi afudde n’olubuto lwa myezi 7 n’asattiza ekyalo

By Musasi wa Bukedde

Added 4th November 2019

Omukyala afudde n'olubuto ku myezi musanvu asobedde abatuuze oluvannyuma lw'abasawo okulemwa okuzuula ekimuluma.

Kabembe21webuse 703x422

Abamu ku baana b'omugenzi Nakagolo

Bya Madinah Sebyala
Abasuubuzi mu katale k’e Nakawa n’abatuuze b’e Kabembe bali mu kiyongobero oluvannyuma lwa mutuuze munnaabwe okusangibwa ng’afiiridde mu nju n’olubuto lwa myezi musanvu ekibaleetedde okusigala nga beebuuza ebibuuzo bingi. 
 mugenzi akagolo bwabadde afaanana Omugenzi Nakagolo bw'abadde afaanana

 

Fatuma Nakagolo 47, gwe baakazaako erya maama Mariam abadde mutuuze w’e Kabembe mu Gombolola y’e Kyampisi mu Disitulikiti y’e Mukono era abadde musuubuzi wa birime mu katale k’e Nakawa ye yafudde n’olubuto lwa myezi musanvu nga kigambibwa nti, yandiba ng’omwana yamusambye omutima n’afa.
Muwala w’omugenzi owookubiri, Laziya Ssuuba yategeezezza Bukedde nti olubuto nyina lw’abadde nalwo lubadde lwa mwana wa 10.
Yannyonnyodde nti, ennaku ssatu emabega nnyina yafuna Puleesa oluvannyuma lw’okusanga enkoko enfu ng’esuuliddwa mu mulyango gwe ku makya ekyamweraliikiriza.
 uwala womugenzi ngakungaanya amabugo ga nnyina Muwala w'omugenzi Lazia Ssuuba ng'akung'aanya amabugo ga nnyina

 

Yaddusibwa mu ddwaaliro e Naggalama gye baamukeberera obulwadde ne bubuka n’asiibulwa n’adda eka wabula n’atabuka ne bamwongerayo e Nsambya nayo gye baamusiibula nga tebalaba bulwadde n’adda eka kyokka ku ssaawa 10 ez’oku makya n’assa omukka ogw’enkomerero.
Omugenzi alese bba Tonny Katende n’abaana abato ng’asembayo wa myaka ebiri era yaziikiddwa mu Disitulikiti y’e Mayuge.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Capture 220x290

Emitimbagano gya Vision Group gyakuvaako...

Emitimbagano gya Vision Group okuli ogwa bukedde.co.ug ne newvision.co.ug gyakuggalawo ku wiikendi eno okutandika...

Br3 220x290

Ensonga za Brian White ez'okkabasanya...

Ensonga za Brian White ez'okkabasanya abaali abakozi be zisajjuse

Kit1 220x290

Engeri akasaawe k'e Mulago gye...

Engeri akasaawe k'e Mulago gye kaalera Jimmy Kirunda

Jit1 220x290

Afiiridde mu kibanda kya firimu...

Afiiridde mu kibanda kya firimu e Mukono

Bad1 220x290

King Michael akaayidde Balaam

King Michael akaayidde Balaam