TOP

Emigso 6 gy'ofuna mu kulya enseenene

By Musasi wa Bukedde

Added 5th November 2019

Omusawo alaga ensonga 6 lwaki olina okulya enseenene

Grass4webuse1 703x422

Omusuubuzi (ku ddyo) ng'aguza kasitoma enseenene

Bya Sauyah Namwanje

Omwezi gwa November buli lwe gutuuka, omuntu nga tannalowooza nti omwaka guweddeko asooka kulowooza ku nseenene. 

Enseenene olw’obuwoomi bwazo zibeera ku buseere era wabaawo ez’ebyoya n’enkongole eziwedde okusiika ne z’osobola okutwala ne weesiikira oba okufumbako n’olya oba okukaza n’okolamu ensaano gy’oliira mu nva naddala ebinyeebwa. 

Enseenene zino zirimu Vitamiini A, B ne C, zirimu ekirungo ekizimba omubiri okusinga ekiri mu byennyanja era zirimu ekiriisa ekyongera amaanyi mu mubiri. 

 mukyala omukadde ngakongola enseenene Omukyala omukadde ng'akongola enseenene

 

Dr. Yusuf Mwinike ow’eddwaaliro ekkulu e Mulago agamba nti, enseenene nnungi kubanga zirimu, ebirungo eby’enjawulo eby’omugaso eri emibiri gyaffe, okuli: 

1. Ebirungo ebiyambako okutangira okuggwaamu omusaayi. 

2. Ebiyamba mu kuzimba obutoffaali bw’omubiri. 

3. Ebiyambako okucamusa obwongo bw’omuntu. 

 nseenene nga zikyali nnamu Enseenene nga zikyali nnamu

 

4. Zirimu ebirungo ebitangira okukaddiwa amangu omuntu n’atafuna nkanyanya. 

5. Ebirungo ebiyamba okukuuma amannyo n’amagumba nga magumu. 

6. Mu bakyala abali embuto zibayambako okuwona okulumizibwa omugongo.

Dr. Mwinike agamba nti, si kirungi omuntu okulya enseenene nga mbisi kubanga zisobola okuvaako endwadde endala.  Ensawo ey’enseenene kati esuubulwa 30,000/- ng’osobola okuzifunako amagoba agali wakati wa 20,000/- ne 40,000/-.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Capture 220x290

Emitimbagano gya Vision Group gyakuvaako...

Emitimbagano gya Vision Group okuli ogwa bukedde.co.ug ne newvision.co.ug gyakuggalawo ku wiikendi eno okutandika...

Br3 220x290

Ensonga za Brian White ez'okkabasanya...

Ensonga za Brian White ez'okkabasanya abaali abakozi be zisajjuse

Kit1 220x290

Engeri akasaawe k'e Mulago gye...

Engeri akasaawe k'e Mulago gye kaalera Jimmy Kirunda

Jit1 220x290

Afiiridde mu kibanda kya firimu...

Afiiridde mu kibanda kya firimu e Mukono

Bad1 220x290

King Michael akaayidde Balaam

King Michael akaayidde Balaam