TOP

Lwaki abakyala abalina akawuka bafunira embuto ku nkola za famire?

By Ruth Nazziwa

Added 6th November 2019

Ebivaako abakyala abalina akawuka ka siriimu okufuna embuto nga bali ku nkola za famire

Condom2webusefemalecondoms 703x422

Vastha Kibirige amanyiddwa nga 'Maama kondomu' okuva mu Minisitule y'ebyobulamu ng'asomesa ku nkozesa ya kondomu y'abakyala.

Bya Ruth Nazziwa

Lwaki abakyala abalina akawuka bafunira embuto ku nkola za famire?

Omukugu mu kukebera n’okubudaabuda abalina akawuka ka siriimu ku Taso e Ntebe, Pamela Irene Nakato annyonnyola nti, abakyala abafunye embuto nga bali ku nkola ya famire kituufu gyebali wabula ebiseera ebisinga omubisi gw’omubiri guba gugaanye okukolagana n’eddagala lya ARV naddala abakozesa enkola ya kapiso ey’omu mukono.

Eddagala ery’akawuka oluusi lisinza amaanyi eddagala eriri mu kapiso ekivaako omukazi ali ku nkola eno okugifunirako olubuto.

Bw’ofuna obuzibu buno ebiseera ebisinga tekikwetaagisa kuggyamu mwana oyo kubanga eddagala eryo terimukosa.

Naye olw’okuba obuzibu buno weebuli, abakyala abalina akawuka tubasomesa enkola za famire endala ze tulina ne tubakyusiza oba ne beesalirawo gye baagala okukozesa.

Mu ngeri y’emu, bw’obeera ku nkola ya famire era tukukubiriza n’okukozesa kondomu kikusobozese okufuna obukuumi obusingawo nga bwe weeyongera okumira eddagala eriweweeza ku kawuka.

Kubanga bw’oba olimira bulungi akawuka ne keebaka, tolwalalwala ate obeera tosiiga mulala.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bre 220x290

Aba Miss Uganda batongozza okugaba...

Aba Miss Uganda batongozza okugaba paadi mu masomero ng'erimu ku makubo okumalawo ekizibu ky'abayizi abawala abayosa...

Lukyamuziwebuse 220x290

Mukozese ekisiibo okwezza obuggya...

Abayizi bakubiriziddwa okukozesa ekisiibo kino okwenenya olwo bafune obulamu obulungi.

Gattako 220x290

Hosni Mubarak owa Misiri yafudde...

EYALI Pulezidenti wa Misiri, munnamagye Hosni Mubarak, bannansi gwe baanaabira mu maaso ne bamumaamula ku ntebe...

St14 220x290

Obululu bwa Stambic Uganda Cup...

Obululu bwa Stambic Uganda Cup bukwatiddwa

Got12 220x290

Emmotoka z'empaka zizzeeyo e Jinja...

Emmotoka z'empaka zizzeeyo e Jinja