TOP

Lwaki bankaka okwekebeza buli lwe mbeera olubuto?

By Ruth Nazziwa

Added 6th November 2019

Emigaso gy'okwekebeza akawuka ka siriimu ne balo ng'oli lubuto

Aiderickamyaggabatradingwebuse 703x422

Omusajja nga yeekebeza

Bya Ruth Nazziwa

Ndi mulamu naye lwaki buli lwe mbeera olubuto bankaka okwekebeza siriimu? 

Omukugu mu kukebera n’okubudaabuda abalina akawuka ka siriimu ku Taso e Ntebe, Pamela Irene Nakato annyonnyola nti, bw’ofuna olubuto, olina okwekebeza akawuka ka siriimu omulundi ogusooka ng’ogenze mu ddwaaliro okunywa eddagala wamu ne balo kubanga kibayamba okumanya obulamu bwammwe bwe buyimiridde ku nsonga z’akawuka ekiyamba okumanya engeri y’okutaasa omwana ssinga obeera okalina.

Bw’omala okutegeera nti, olina akawuka kikukakatako okutandika eddagala okusobola okutaasa obulamu bw’omwana ali mu lubuto, kikusobozese obutamusiiga kawuka n’endwadde z’ekikaba omuli kabootongo, obulwadde bw’ekibumba (Hepatitis B), enziku n’endala.

Jjukira maama bw’aba alina akawuka, emikisa gy’okukasiiga omwana gibeera waggulu naddala ng’omwana akyali mu lubuto, ng’ozaala oba ng’oyonsa ssinga tomira bulungi ddagala.

 


More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bre 220x290

Aba Miss Uganda batongozza okugaba...

Aba Miss Uganda batongozza okugaba paadi mu masomero ng'erimu ku makubo okumalawo ekizibu ky'abayizi abawala abayosa...

Lukyamuziwebuse 220x290

Mukozese ekisiibo okwezza obuggya...

Abayizi bakubiriziddwa okukozesa ekisiibo kino okwenenya olwo bafune obulamu obulungi.

Gattako 220x290

Hosni Mubarak owa Misiri yafudde...

EYALI Pulezidenti wa Misiri, munnamagye Hosni Mubarak, bannansi gwe baanaabira mu maaso ne bamumaamula ku ntebe...

St14 220x290

Obululu bwa Stambic Uganda Cup...

Obululu bwa Stambic Uganda Cup bukwatiddwa

Got12 220x290

Emmotoka z'empaka zizzeeyo e Jinja...

Emmotoka z'empaka zizzeeyo e Jinja