TOP

Okukola dduyiro kukosa alina akawuka ka siriimu?

By Ruth Nazziwa

Added 7th November 2019

Dduyiro ayamba alina akawuka ka siriimu okubeera omulamu obulungi.

Aidsworldaidsday08membersofthemarketvendorsaidsprojecttakepartinthemarchduringtheworldaidsdayonemillionhivtestscampaignatlugogocricketgroundscmyknewnew 703x422

Abamu ku bali mu kibiina ky'abakozi b'omu butale nga bakumba mu kujaguza olunaku lwa siriimu omwaka oguwedde

Bya Ruth Nazziwa

Bwe mba nnina akawuka ka siriimu, nsobola okukola dduyiro ne mbeera ‘fiiti’?

Omukugu mu kukebera n’okubudaabuda abalina akawuka ka siriimu ku Taso e Ntebe, Pamela Irene Nakato annyonnyola nti, okubeera n’akawuka ka siriimu tekikumalaako ddembe era tekikulemesa kukola by’oyagala kasita obeera ng’omira bulungi eddagala lyo n’okwerabirira obulungi ng’omusawo bw’abeera akulagidde mu budde obutayosa.

Ate ng’omuntu yenna okubeera omulamu obulungi ng’omubiri gweyagala, olina okuba ng’okola dduyiro kubanga ayambako okuzuukusa obusimu bw’omubiri n’emisuwa okutambuza omusaayi.

Obusimu bwe buzuukuka n’emisuwa ogugguka kiyambako omubiri okufulumya obutwa bwonna naddala obuva mu ddagala ly’omira.

Era bw’oba tosobola kukola dduyiro ow’amaanyi, waakiri tambula otuuyane kisobozese omubiri okufulumya ku butwa. 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Coronavirus2 220x290

Engeri Corona gy’akyusizza enkola...

MU kiseera kino buli muntu amaze okuloza ku bulumi bwa Corona. Ebyenfuna by’amawanga gonna bisannyaladde olwa Corona....

Nonya 220x290

Tunoonya abakyala abalina kebeekoledde...

Nneetaaga omukyala omukkakkamu, alabika bulungi, alina empisa okuva ku myaka 18 ne 28 omwetegefu okwekebeza omusaayi....

Lumba 220x290

Ekisenge ky’ekikomera kigwiiridde...

FFAMIRE ya bantu mwenda yasimattuse okufiira mu nju mwe baabadde beebase ekisenge ky’ekikomera kya kalina ebaliraanye...

Baana1 220x290

Byotalina kusuulirira ku mwana...

Omuzadde buli mutendera omwana gw’atuukako mu kukula kwe olina okwogerako naye.

Jjemba1 220x290

Omuyimbi Jjemba landiroodi amugoba...

OMUYIMBI omuto eyavuganya Fred Ssebatta, Vincent Segawa, Silvester Busuulwa, Mathias Walukagga, n’abalala mu mpaka...