TOP

Omwana azuulibwa ddi ng'alina akawuka?

By Ruth Nazziwa

Added 7th November 2019

Omwana azaalibwa maama alina akawuka alina okukeberebwa okutuusa ku myezi 24 okukakasa nga ddala talina kawuka

Breastfeedingwebuse 703x422

Omusawo ng'annyonnyola omukyala ku ndiisa y'abaana

Bwe nzaala omwana, muzzaayo mu bbanga ki okumukebera akawuka ka siriimu?

Omukugu mu kukebera n’okubudaabuda abalina akawuka ka siriimu ku Taso e Ntebe, Pamela Irene Nakato annyonnyola nti, omwana bw’aweza emyezi mukaaga, muzzeeyo mu ddwaaliro bamukebere siriimu ng’omusawo bw’aba akulagaanyizza. Olw’okuba maama w’omwana olina akawuka, emikisa gy’okusiiga omwana wo obulwadde buno gibeera waggulu naddala nga togoberera bulungi biragiro bya basawo.

Kikulu okukebeza omwana akawuka ka siriimu ng’akyali muto, kikusobozese okutegeera amangu obulamu bwe bwe buyimiridde ku nsonga z’akawuka. Bw’okizuula nga yakafuna omutandisa ku bujjanjabi bw’eddagala eriweweeza ku kawuka ka siriimu ng’omusawo bw’aba akulung’amizza.

Era olina okuddayo mu ddwaaliro buli luvannyuma lw’omwezi  okutuusa ng’omwana awezezza emyezi mukaaga n’oluvannyuma otandika okumuzzaayo buli luvannyuma lwa myezi esatu okutuusa ng’awezezza emyezi 24.

Jjukira omwana omu ku baana babiri abalina akawuka oba ebitundu 50 ku buli 100 afa nga tannaweza myaka ebiri ssinga tafuna bujjanjabi.

Naye ssinga kizuulibwa ng’omwana wo mulamu bulungi, genda mu maaso n’okumuyonsa okutuusa ng’awezezza emyezi mukaaga.

Oluvannyuma lw’ekiseera ekyo, mugabirire bulungi n’okweyongera okulaba omusawo ku nsonga ez’enjawulo ng’omusawo bw’aba akulagidde.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abamukubasuubuzingabakunganyaembiddemukifokyamatookegebattikanga 220x290

Ekirwadde ekikwata ebitooke kitiisizza...

Ekirwadde kino kisensera ekikolo ky'ekitooke era kw’omanyira nti kikwatiddwa ekirwadde kino endagala zaakyo ziwotookerera...

Abamukubasentebengabalimulukiikoenakulabye1 220x290

Bassentebe ba LC1 ne 2 bakukkulumidde...

Stephen Nsereko ssentebe w’ekibiina ekigatta bassentebe b’ebyalo n’emiruka mu Kampala yategeezeza nti gavumeti...

Omusajjangasimuulaengatozomulangiraherbertkimbugwe2 220x290

Bayiiyizza obukodyo bw’okuggya...

Abamu ku bagenyi abaabaddewo mwe mwavudde abasajja babiri abaakutte obutambaala nga buli munnabyabufuzi asituka...

Ssengalogonew 220x290

Emyezi ebiri sigenda mu nsonga...

Ndi muwala wa myaka 21. Nneegatta oluvannyuma ne ng'enda mu kalwaliro ne ngula empeke okwetangira okufuna olubuto...

Matovu002 220x290

Abasajja abanoonya embooko z'abakazi...

Twagala abakazi abeetegefu okukola obufumbo ate nga bamamyi omukwano