TOP

Eddagala lya siriimu linaazuulibwa ddi?

By Ruth Nazziwa

Added 7th November 2019

Okwejjanjabisa akawuka ka siriimu ne kookolo byetaagisa nga bw'olinda eddagala eriwonya kookolo.

Vr2webuse 703x422

Omukugu ng'alaga ogumu ku mitendera egiyitibwamu okukebera obungi bw'akawuka ka siriimu mu musaayi

Bya Ruth Nazziwa

Nnina akawuka ka siriimu ne kookolo, naye eddagala eriwonya siriimu lyo linaatuuka ddi, kubanga saagala kuwona kookolo ate siriimu n’anzita?

Dr. Flavia Matovu Kiweewa, omukugu mu kunoonyereza okuva mu Makerere University John Hopkin’s University Research Collaboration (MUJHU) e Mulago ne Dr. Kizza Lubega omukugu mu by’eddagala n’okujjanjaba obulwadde bwa siriimu e Mulago bannyonnyola nti, endwadde zombi za maanyi era nga zeetaaga obujjanjabi bwonna obwetaagisa. Ky’olina okukola kwe kugondera obujjanjabi bw’obulwadde buno ng abwe bukuweebwa omusawo.

Akawuka ka siriimu kalumba obutoffaali obulwanyisa yinfekisoni oba obuwuka obuleeta endwadde mu mubiri (T-Cells) nga n’obuwuka obuleeta kookolo mw’obutwalidde.
Era mu bantu abatalina siriimu, abaserikale abalwanyisa endwadde mu mibiri gyabwe babeera basobola okulwanyisa obuwuka obusirikitu nga kookolo tannaba kukukwata.

 mukugu ngakebera obungi bwakawuka ka siriimu mu musaayi  ngali mu laabu Omukugu ng'akebera obungi bw'akawuka ka siriimu mu musaayi ng'ali mu laabu

 

Kyokka bwe kituuka mu bantu abalina akawuka bo, abaserikale abalwanyisa yinfekisoni oba obuwuka obuleeta endwadde mu mibiri gyabwe babeera batono ekibeerera ekizibu emibiri gyabwe okulwanyisa obuwuka obuleeta kookolo ekyongera emibiri gyabwe emikisa gy’okufuna ebika bya kookolo eby’enjawulo nga ow’olususu (kaposis sarcoma), ow’ensanjabavu ne kookolo w’omumwa gwa nnabaana.

Oluusi kiyinza okuva ku ngeri omuntu gye yeeyisaamu naddala ng’alina akawuka, okunywa sigala, omwenge n’ebirala ebitaataaganya enkola y’omubiri.

Bw’oba omira bulungi eddagala lyo, waliwo ebika bya kookolo ebimu ebisobola okugenda n’eddagala ly’oliko ate ebirala nga byetaaga obujjanjabi obw’enjawulo okusobola okuwona. Era ng’obujjanjabi buno businziira ku kika kya kookolo omuntu ky’abeera afunye n’omutendera gw’omuzuuliddeko.

Mu bujjanjabi bw’ofuna  bayinza okukulongoosa, okukukalirira mu masannyalaze, eddagala n’obujjanjani bwa kookolo obulala.

Wabula we twogerera, abakugu mu kunoonyereza kwe baliko baagala kulaba nga bazuula eddagala eriwonya kookolo wadde nga kikyetaaga ekiseera. Mu mbeera eno, kakasa ng’omira bulungi eddagala lyo ery’obulwadde bwombi ng’abasawo bwe baba bakulagidde.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Col2 220x290

Bebe Cool awadde abavubuka b'e...

Bebe Cool awadde abavubuka b'e Gomba obukadde 53 ez'okweggya mu bwavu

Set1 220x290

Rema yagambye nti buli mukazi yenna...

Rema yagambye nti buli mukazi yenna yetaaga kubeera n'omusajja gw'ayita omwami we ebyaddala

Ssematimba1 220x290

Peter Ssematimba atudde ebigezo...

Omubaka wa Busiro South Paasita Peter Sematimba atandise okukola ebigezo bye ebya S6 ku ssomero lya Minister JC...

Zab1 220x290

Muzaata alabudde abasajja abakandaaliriza...

Muzaata alabudde abasajja abakandaaliriza abakazi; Tujja kubabaggyako tubawe abeesobola

Nam1 220x290

Laba engeri Rema gye yafaananye...

Laba engeri Rema gye yafaananye nga Malaika ng'ayanjula Hamza