TOP

Ab’e Kangulumira bafunye obujjanjabi obw’obwereere

By Musasi wa Bukedde

Added 13th November 2019

E Kangulumira bennyamivu olw’abasawo ababasaba ssente okubakolako ku ddwaaliro lya Gavumenti

Omukubasawongakeberaomulwaddewebuse 703x422

Omu ku basawo ng'akebera amaaso g'omulwadde eyazze mu lusiisira

Bya Joanita Nakatte

Abatuuze b’e Kangulumira mu disitulikiti y’e Kayunga abasobye mu 1,000 bakung’aanidde ku ddwaaliro ly’e Kangulumira Health Centre IV okwefunira obujjanjabi obw’obwereere okuva mu bazirakisa aba House of Zakati ne Strive for Janah Foundation.

 bamu ku bantu abazze okufuna obujjanjabi obwobwereere ku ddwaaliro e angulumira Abamu ku bantu abazze okufuna obujjanjabi obw'obwereere ku ddwaaliro e Kangulumira

 

Bano baakozesezza omukisa guno ne babaloopera okusoomoozebwa kwe basanga okufuna obujjanjabi mwe baategeerezza nti, ebiseera ebisinga bajja ku ddwaaliro okujjanjabwa kyokka  bwe bamala okubakebera ne bakabatema nga bwe watali ddagala nga n’oluusi abasawo babazza ebbali ne babasaba ensimbi kyokka nga lya Gavumenti.

“Tulina obuzibu bw’okufuna obujjanjabi ku kyalo kyaffe naddala abamu ku ffe abatalina nsimbi zimala kubwetuusaako, ate era tusaba gavumenti enoonyereze ku basawo abatusaba ssente ng’ate eddwaaliro lya gavumenti.

mwogezi wolusiisira lwebyobulamu olwakubiddwa sma uwada ngaliko byannyonnyola ku byakoleddwaOmwogezi w'olusiisira lw’ebyobulamu olwakubiddwa, Isma Muwada ng'aliko by'annyonnyola ku byakoleddwa.

 

Tusaba etwongere ne ku ddagala erituweebwa kubanga ttono teritumala,” abatuuze bwe baagambye.   Ssekamwa w'olusiisira lw’ebyobulamu luno, Isma Muwada yategeezezza nga bwe bagaba obujjanjabi buno buli mwaka n'omulamwa gw'okuyamba abo abateesobola kubwetuusaako wadde okwebuuza ku basawo nga kino bakikola mu nkola ey'obwannakyewa.

“Kino tukikola mu ngeri ey’okuyamba n’okudduukirira abantu nga bano abatalina busobozi. Tukizudde nti, abantu bano basinga kutawaanyizibwa ndwadde ey’amaaso era tugenda kubajjanjaba tubawe ne gaalubindi basobole okulaba obulungi,” Muwada bwe yagambye.

 ajjati ibowa owa ouse of akat abaategese obujjanjabi obwobwereere Hajjati Faridah Kibowa owa House of Zakati abaategese obujjanjabi obw'obwereere

 

Omusawo Abdallah Teituk, omu ku baakulembeddemu enteekateeka eno yagambye nti, bajjanjabye era ne bakebera endwadde omuli kookolo, amagumba, omusujja, amannyo wabula era naye n’akkaatiriza ku bulwadde bw’amaaso obweriisa enkuuli awatali kutaliza muto na mukulu.

Hajjati Faridah Kibowa, okuva mu House of Zakati yennyamidde olw’obulwadde bw’amaaso obusinze okwekaaliisiza mu bantu b’e Kayunga n’asuubiza okulondoola ensonga eno okuzuula obuzibu kwe buva, kyokka n’alaga essanyu olwa bannakyewa bano okuvaayo ne badduukirira abantu b’e Kangulumira kubanga bangi tebalina busobozi bwa kwejjanjabisa naddala abakadde.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Melon1 220x290

Weyune enkola ya kontulakiti ofunemu...

OKUKOLA kontulakiti n’omuguzi y’emu ku ngeri omulimi n’omulunzi mw’asobola okuyita okufuna akatale k’ebintu bye...

Remagrad2 220x290

Rema alangiridde bw’addayo ku yunivasite...

REMA Namakula alangiridde nga bw’agenda okuddayo ku yunivasite e Kyambogo amalirize diguli ye omwaka guno oluvannyuma...

Kadodi 220x290

Emmotoka esse 8 abazina akadodi...

ABANTU 8 ababadde bazina akadodi bafiiridde mu kabenje n’abalala ne bagenda n’ebisago ttakisi bwe yabasaabadde...

Annotation20200120121207 220x290

Omuko yeetonze ku by’okufa kw’omwana...

“NSABA famire ya mukyala wange Nansubuga ne bannayuganda mwenna munsonyiwe olwa mukoddomi wange John William Bomboka...

Bugingo703422 220x290

Bugingo ayanukudde abamulumba ku...

PAASITA Bugingo ow’ekkanisa ya House of Prayer Ministries ayambalidde bannadiini abavuddeyo okuvumiriira ensomesa...