TOP
  • Home
  • Asiika Obulamu
  • Gavumenti ekole enteekateeka ennung'amu okutereka ebisejja ebiva ku mafuta

Gavumenti ekole enteekateeka ennung'amu okutereka ebisejja ebiva ku mafuta

By Musasi wa Bukedde

Added 18th November 2019

Ababaka ba Paalamenti basabye Gavumenti okuteekateeka engeri y'okuterekamu ebisajje ebiva ku mafuta okwewala endwadde eziyinza okukosa abantu ssinga binaakozesebwa bubi

Ekifananyikyawamungaolukungaanaluweddewebuse 703x422

Ababaka ba Paalamenti n'abakungu abalala nga bali ne minisita Mary Karooro Okurut mu lugoye olwa kiragala

Bya Peace Navvuga

Ebibiina by’obyannakyewa bisabye Gavumenti okwekenneenya ensonga ezikwata ku bantu n’okuteekawo enkola ennung’amu mu kukuuma ebisejja ebiva mu kusengejja amafuta nga batandise okuyiikuula ebyobugaga by’omu ttaka.

 inisita ary aroro kurut nabakungu abalala mu lukungaana Minisita Mary Karooro Okurut n'abakungu abalala mu lukung'aana

 

Bino bibadde mu lukung’aana olwategekeddwa ekibiina ekikwataganya ensonga z’amafuta ekya ACODE (Civil Society Coalition for Oil and Gas) olwabadde e Munyonyo.

Ekigendererwa ky’olukung’aana luno kyabadde kubangula Babaka ba Paalamenti ku nsonga z’amafuta. Julius Ssenyonga akulira obutonde bw’ensi mu kitongole kino agamba nti, Gavumenti erina okuteekawo enkola ennungi ey’okutereka ebisejja ebiva mu kusima amafuta nga ssinga kino tekiifiibweko byandivunda ne bivaako endwadde ezeefaanaanyiriza kookolo ate era efeeyo ku buwangwa bw’abantu.

 ulius senyonjo owa  ngayogera mu lukungaana Julius Ssenyonjo owa ACODE ng'ayogera mu lukung'aana

 

Yasabye bawandiike n’obupande mu nnimi ennansi okusobozesa abakozi aba lejjalejja ne bannansi abalala okumanya amateeka oba ebiragiro mu kifo awagenda okusimibwa amafuta. Baasabye Gavumenti ng’eyita mu bitongole byayo okuyambako okusasulira abantu ettaka n’ebirime byabwe.

Ate esseewo amateeka aganaalung’amya abantu ku ttaka n’ebyabwe ate n’okulondoola ng’ebyo ebisalibwawo bye bikolebwa era bituukirizibwa.

Vincent Woboya, okuva e Budadiri East akubirizza Bannayuganda okukozesa omukisa guno okwenogera ensimbi nga bakola emirimu egitali gimu gamba ng’okukola kkampuni ezifumba emmere n’ebirala ebigwa mu kkowe eryo.

 Michael Mawanda, ssentebe w'ababaka ba Paalamenti ku kakiiko ak'ebyobugagga eby'omu ttaka

Minisita owa guno na guli okuva mu ofiisi ya Katikkiro wa Uganda, Mary Karooro Okurut, eyabadde omugenyi omukulu yeebazizza abategesi olw’olukung’aana luno n’ategeeza nga gavumenti bwe yatandise okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwayo gamba okukola enguudo n’okuzimba ekisaawe ky’ennyonyi nga bino bya kuyambako okutambuza obulungi omulimu  gw’okusima ebyobugagga by’omu ttaka.

Olukung'aana luno lwamaze ennaku bbiri era lwatambulidde ku mulamwa ogugamba nti, “Okubaga amateeka agalung’amya okusima ebyobugagga by’omu ttaka.”

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ras13 220x290

Laba ekyabadde ku kisaawe e Bugembe...

Laba ekyabadde ku kisaawe e Bugembe Bebe Cool n'abakungu ba ministry ya Health gye baamaze olunaku lulamba nga...

Sat13 220x290

Pass PLE addamu mu February

Pass PLE addamu mu February

Soz1 220x290

UNEB eraze ebintu 7 ebyasudde aba...

UNEB eraze ebintu 7 ebyasudde aba P7 ebyetaaga okukolako

Dit1 220x290

Obugagga bwange buli mu mbizzi...

Obugagga bwange buli mu mbizzi

Gat1 220x290

Owa LDU akubye omuntu essasi mu...

Owa LDU akubye omuntu essasi mu kumukwata