TOP

Alina akawuka ka siriimu akwatibwa endwadde z'ekikaba endala?

By Ruth Nazziwa

Added 18th November 2019

Bwe mbeera n'akawuka ka siriimu nsobola okukwatibwa endwadde z'ekikaba endala kabootongo?

Abudabudawebusenew 703x422

Omusawo ng'abudaabuda omuvubuka ayagala okwekebeza omusaayi

 

Bya Ruth Nazziwa

Bw’oba olina akawuka ka siriimu, kisoboka okufuna obulwadde bw’ekikaba obulala mu kiseera kye kimu?

Dr. Flavia Matovu Kiweewa, omukugu mu kunoonyereza okuva mu Makerere University John Hopkin’s University Research Collaboration (MUJHU) e Mulago annyonnyola nti, kisoboka okufuna endwadde z’ekikaba ezisoba mu emu ate ng’olina n’akawuka ka siriimu ssinga weegatta n’abantu abazirina nga temukozesezza kondomu.

Kyokka abantu abamu tebafunirawo bubonero bulanga ndwadde zino nga baakazifuna ekibaleetera okugayaala okwejjanjabisa kyokka era babeera basobola okubusiiga abalala.

Olina okugenda mu ddwaaliro ne bakukebera era n’oweebwa obujjanjabi okusinziira ku yinfekisoni ebeera ekukutte kubanga obujjanjabi bwa njawulo.

Okwewala obulwadde buno olina okwejjanjabisa obulungi, okwekuumira omwagalwa wo, weewale okwegatta ng’oli ku ddagala okutuusa nga doozi eweddeyo.

Jjukira okwejjanjabisa ng’oli n’omwagalwa wo kubanga ate asobola okuddamu okubukusiiga ne bukuddamu.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Busy1 220x290

‘Nze ebya laavu nabivaako nneekubira...

BW’OBA onyumya n’omuyimbi w’ennyimba za laavu David Lutalo emboozi ye ewooma era mubeera mu kuseka n’okukuba obukule....

Gurad 220x290

Amasomero agatannafuna bigezo bya...

AMASOMERO agamu gakyalwana okuggyayo ebigezo by’abayizi baabwe ebya P7 mu UNEB, ekireese obweraliikirivu mu bazadde...

Won 220x290

Abagambibwa okuferera ku ssimu...

ABAVUBUKA abaakwatibwa oluvannyuma lw’okusangibwa n’obuuma obugambibwa nti babukozesa okubba kkampuni z’amasimu...

Pata 220x290

Abasajja bannemye okulondako

NNINA abasajja babiri era bombi bamalirivu okusinzira ku njogera n’ebikolwa. Naye omusajja omu alina abakyala babiri....

Send 220x290

Eyanfunira omulimu mufiirako

NZE Innocent Katusiime 29, mbeera Nakawa. Buli lwe ndowooza ku ngeri gye nnasisinkanamu maama w’omwana wange essuubi...