TOP

Abaana abafuna obulwadde bwa kookolo beeyongedde

By Ruth Nazziwa

Added 22nd November 2019

Abaana abalwala kookolo beeyongedde wadde nga ssinga bafunye mangu obujjanjabi bawona

Cancerdrbalagadde2webuse 703x422

Dr. Joyce Balagadde Kambugu

Bya Ruth Nazziwa

Abantu abamu tebamanyi nti, n’abaana bafuna obulwadde bwa kookolo. Era kiteeberezebwa nti, abaana abasoba mu 2,000 be balwala kookolo buli mwaka. Naye ng’abaana 600 bokka be baleetebwa mu ddwaaliro okufuna obujjanjabi ekitegeeza nti, abalala basigala eyo nga tebaweebwa buyambi.

“Tusuubira nti, bwe twongera okwogera n’abantu ne tubamanyisa obubonero n’ebikwata ku bulwadde bwa kookolo, tujja kwongera okubafuna mu budde tubajjanjabe,” Dr. Joyce Balagadde Kambugu, omukugu mu kujjanjaba kookolo mu baana okuva mu Uganda Cancer Institute bw’agamba.

Abaana abafuna kookolo bagenda beeyongera bw’ogeraageranya ku bwe kyali emyaka esatu emabega era ng’ebika ebisinga okubakwata mulimu: kookolo w’omusaayi, kookolo w’ensanjabavu, kookolo w’ebinywa ne kookolo w’ensigo.

Wabula obulwadde buno bwonna bujjanjabwa ng’ekigendererwa kya kuwonyezebwa mu Uganda Cancer Institute e Mulago era abaana ne bawona, kubanga obusobozi obukebera obulwadde buno n’eddagala eribujjanjaba tubirina mu ddwaaliro ku bwereere.

Noolwekyo, tugenda kwongera amaanyi mu kusomesa abantu ebikwata ku kookolo bamumanye naye tekimala, tulina okwongera okufuna abaana bano kuba bakyasigalayo eyo nga tebafuna buyambi.

Okwawukanako ne kookolo mu bantu abakulu, ekituufu ekivaako abaana okufuna kookolo tekimanyidwa era nga kino ky’ekizibu ekisinga obunene mu kujjanjaba kookolo mu baana.

Wabula abazadde tubakubiriza okwetegereza abaana babatwale mu ddwaaliro.

Obuzibu obuli mw’ekyo kwekuba nti, obubonero bwa kookolo mu baana bwefaanaanyiriza obw’endwadde endala.

Obumu ku bubonero bw’olina okwanguyira kuliko; omwana okuvaamu omusaayi, okukubwa ebiba ku mubiri, okuva omusaayi mu kamwa, okufuna ebizimba ku mubiri, ku mikono oba mu lubuto, ku magulu, alumizibwa amagulu, alina ekimunye mu munnye y’eriiso, ate nga tekimanyiddwa kwe biva, mutwale mu ddwaaliro eddene akeberebwe omwana afune obujjanjabi obusaanidde.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ras13 220x290

Laba ekyabadde ku kisaawe e Bugembe...

Laba ekyabadde ku kisaawe e Bugembe Bebe Cool n'abakungu ba ministry ya Health gye baamaze olunaku lulamba nga...

Sat13 220x290

Pass PLE addamu mu February

Pass PLE addamu mu February

Soz1 220x290

UNEB eraze ebintu 7 ebyasudde aba...

UNEB eraze ebintu 7 ebyasudde aba P7 ebyetaaga okukolako

Dit1 220x290

Obugagga bwange buli mu mbizzi...

Obugagga bwange buli mu mbizzi

Gat1 220x290

Owa LDU akubye omuntu essasi mu...

Owa LDU akubye omuntu essasi mu kumukwata