TOP

Okwennyamira kwali kunnessizza

By Musasi wa Bukedde

Added 22nd November 2019

Okusosolebwa n'okuyisibwamu emimwa kwe nayitamu olw'okuzaalibwa n'akawuka ka siriimu byannennyamiza katono nnette

Img3669webuse 703x422

Jackline Agutamba ng'annyonnyola bye yayitamu ng'azudde bw'alina akawuka ka siriimu

Bya Peace Navvuga

“Okuva lwe namanya nti, nazaalibwa n’akawuka ka siriimu kyakyusa obulamu bwange byonna,” Jackline Agutamba ow’emyaka 18 abeera e Buwama mu disitulikiti y’e Mpigi bw’atandika okunyumya bwe yamanya bw’alina akawuka ka siriimu. 

Annyonnyola nti, “Okuva lwe namanya nti, nnina akawuka ka siriimu nneekyawa nga kye njagala kufa nva mu bulamu bwe nsi eno.

Twazaalibwa abaana basatu nga babiri twazaalibwa n’akawuka ka siriimu era n’abazadde baffe bombi baafa abooluganda ne batugabana nze ne ntwalibwa maama omuto eyali teyeesobola nga n’olumu tusiiba njala. Nneekyawa nga kw’ogasse okusosolebwa awaka, okulwalalwala ne nnennyika omutima.

 r uth assanga ngannyonnyola Dr. Ruth Nassanga ng'annyonnyola

 

Embeera eno yannyiga okuva lwe nazaalibwa okutuusa aba MRC (Medical Research Council) bwe bajja mu kitundu kyaffe nga bakola okunoonyereza lwaki abantu abali ku ddagala obutoffaali bwabwe bukka. Bano bambudaabuda ne ntandika okufuna ku ssanyu,” Agutamba bw’agamba.

Josephine Nabukenya, eyabudaabuda Agutamba okutuuka okuwona okwennyamira, agamba nti yafangayo okumanya ensonga za Agutamba n’ebisinga okumweraliikiriza era bw’atyo baafubanga okubinogera eddagala.

Okugeza yafubanga okumuwa emmere nga bamuwaayo ne ku ssente (20,000/-)  kuba mu nkola yaabwe ky’alimu ekyamuyamba okugula eddagala n’ebyokulya. Eugene Kiyanda, owa MRC eyakulembedde enteekateeka eno agamba nti, oluvannyuma lw’okugabira abantu abalina akawuka ka siriimu eddagala naye ng’obutoffaali bwabwe bukka bussi, kyabawaliriza okunoonyereza kwe kiva era ne bakizuula ng’abantu abasinga balina obulwadde by’okwennyamira. 

bamuku bantu abajja mu musomoAbamu ku bantu abajja mu musomo

 

Kino baakisalira amagezi nga bayita mu kubabuulirira n’okubabudaabuda. Kino baakitandikidde Mpigi ku byalo bina (4) okuli Mpigi-Butuulo ne Buwama. Akulira ebyobulamu ku disitulikiti y’e Mpigi, Dr. Ruth Nassanga yategeezezza ng’enkola eno bw’eyambye Bannampigi era nga kino kyakusigala nga kikolebwa mu malwaliro.

Akulira ekitongole ekijjanjaba endwadde z’ekikaba ku minisitule y’ebyobulamu Geoffrey Taasi, yategeezezza ng’enkola eno bw’eri ennungi kyokka tebannafuna ngeri gye kiyinza kugenda mu maaso kubanga Gavumenti yagaana okusasulira bakansala mu malwaliro.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lim1 220x290

Ennyonyi ya UPDF egudde n'etemako...

Ennyonyi ya UPDF egudde n'etemako omujaasi omutwe ne gubula

Wez1 220x290

Alipoota ya TWAWEZA yennyamiza...

Alipoota ya TWAWEZA yennyamiza eri abantu be Buikwe

Fut2 220x290

Ssenga alaze obulabe obuli mu kulaga...

Ssenga alaze obulabe obuli mu kulaga abaana ebikolwa eby'ekikaba

Fut1 220x290

Obulabe bw’omuzadde okulaga omwana...

Obulabe bw’omuzadde okulaga omwana baganzi be

Sad1 220x290

Engeri abazadde gye bayingiza abaana...

Engeri abazadde gye bayingiza abaana mu nsonga z’obwenzi