TOP
  • Home
  • Asiika Obulamu
  • Bakansala basimbidde eky’okuddiza disitulikiti obuyinza ku ddwaaliro ekkuuli

Bakansala basimbidde eky’okuddiza disitulikiti obuyinza ku ddwaaliro ekkuuli

By Musasi wa Bukedde

Added 21st January 2020

Bakansala mu lukiiko lwa munisipaali ya Mukono baagala eddwaaliro lya Mukono waakiri lireme kusuumusibwa bwe liba likwasibwa disitulikiti

Hosp81webuse 703x422

Meeya George Fred Kagimu n'abamu ku bakulira ebyobulamu ku ddwaaliro lya Mukono okuli Dr. Anthony Kkonde ku mukolo kwe baaweeredde eddwaaliro lino ebikozesebwa mu kujjanjaba omwabadde ebitanda, minzaani n'ebirala

Bya Madinah Sebyala

Bakansala ku lukiiko lw’ekibuga kya Mukono munisipaali bayisizza ekiteeso ekiwakanya okuggya obuyinza obuddukanya eddwaaliro ly’e Mukono ku munisipaali budde mu mikono gya disitulikiti y’e Mukono kye bagamba nti, bataddemu obudde ne ssente eddwaaliro lino okusuumusibwa ate nga n’etteeka erifuga Gavumenti z’ebitundu libawa obuyinza buno.

  mumyuka wa eeya we ukono amada ajoba mu kkanso ngategeeza bwe baawandiikira minisitule yebyobulamu okusuumusa eddwaaliro lyabwe kyokka basigale nga baliddukanya nga munisipaali Omumyuka wa Meeya w'e Mukono, Jamada Kajoba mu kkanso ng'ategeeza bwe baawandiikira minisitule y'ebyobulamu okusuumusa eddwaaliro lyabwe kyokka basigale nga baliddukanya nga munisipaali

 

Kino kiddiridde Meeya w’ekibuga Mukono, George Fred Kagimu okusomera bakansala ebbaluwa eyavudde mu minisitule y’ebyobulamu nga yawandiikibwa omuwandiisi ow’enkalakkalira Dr. Diana Atwine bwe yalagidde nti, disitulikiti y’e Mukono y’eteekeddwa okukulira okuddukanya eddwaaliro lya Mukono Health Centre V kubanga lifuuse ddwaaliro lya disitulikiti yonna nga bajjanjaba eddwadde ez’amaanyi.

Ebbaluwa eno yasaanudde bakansala n’abamu okutuuka okugamba nti, oba babaggyako obuyinza waakiri baleme kulisuumusa lisigale ku ddaala lya Mukono HC1V.

 ddwaaliro lye ukono erikaayanirwa aba munisipaali Eddwaaliro ly'e Mukono erikaayanirwa aba munisipaali

 

Kansala Peter Nsamba, akiikirira omuluka gwe Namumira ng’agamba nti, Dr. Atwiine  teyagoberedde mateeka  ng’alagira disitulikiti okweddiza obuyinza ku ddwaaliro lino ng’agamba nti, etteeka erifuga Gavumenti ez’ebitundu mu kawayiro nnamba 243 kawa obuyinza munisipaali okuddukanya amalwaliro, obuduuka ne kiraabu era nga bo nga munisipaali okuddukanya eddwaaliro babeera mu mateeka.

 ansala eter samba Kansala Peter Nsamba

 

Bagamba nti, baasaba okusuumusibwa kw’eddwaaliro lino mu 2013 mu buwandiike n’okugula ebikozesebwa ku ssente z’omuwi w’omusolo n’okutuukirira abagabi b’obuyambi omuli; Bill gates abagabira obukadde 600 buli mwaka ku nteekateeka y’okuteekerateekera amaka n’okulaba nti bafuna ekyapa ky’ettaka n’okuwa obujjanjabi nga bakwata bulungi abalwadde ne basobola okweyunira eddwaaliro lino.

Kansala Ben Nsamba, yeemulugunyiriza disitulikiti nti teyinza kutuukiriza buvunaanyizibwa bulungi nga munisipaali bw’ebadde ekola kubanga n’amalwaliro gaayo  tegafaako nga ssente ze bandigawadde baziwa malwaliro g’obwannanyini agabinika ebisale ebya waggulu eri abalwadde n’alabula nti, ssinga disitulikiti yeddiza eddwaaliro lyabwe omutindo gwalyo  guyinza okugwa.

 myuka sipiika wa ukono munisipaali ylvia usan iwuka Amyuka sipiika wa Mukono munisipaali, Sylvia Susan Kiwuka

 

Yabadde mu kkanso eyakubiriziddwa sipiika Sylvia Susan Kiwuka ne bayisa n’ekiteeso nga bawakanya disitulikiti okweddiza obuyinza bw’eddwaaliro era ne bakkaanya nti, ssinga bagaana okubaddiza obuyinza bwabwe bagenda mu Palamenti batwale okwemulugunya kwabwe.

Meeya George Fred Kagimu, yakubirizza abasawo okwongera okufaayo ku balwadde nga bababudaabuda  n’okubawonya kubanga kati eddwaaliro lyasuumusiddwa n’agamba nti, nga olukiiko lwa munisipaali beetegese bulungi okuddukanya eddwaaliro lino era ne basimbawo n’akapande akawandikiddwaako Mukono General Hospital era ng’endagiriro zonna za munisipaali.

 eeya agimu ku kkono ngatongoza akapande keddwaaliro mu munisipaali ye ukono ke baataddewo  okukakasa bwe baddukanya eddwaaliro lino Meeya Kagimu (ku kkono) ng'atongoza akapande k'eddwaaliro mu munisipaali y'e Mukono ke baataddewo okukakasa bwe baddukanya eddwaaliro lino

 

Ekiwandiiko BUKEDDE kye yalabyeko kiraga nti, disitulikiti y’e Mukono buli mwaka waliwo amalwaliro ag’obwannannyini geegabira ssente nga mu gano mulimu erya; St. Francis Naggalama erifuna obukadde 146,655,101, Mukono CU Hospital obukadde 7,437,585. Ate aga Gavumenti agafuna ssente okuva ku disitulikiti mulimu; Mukono Town Council Health Centre IV abafuna obukadde 83,735,697, Goma Health Centre III bafuna obukadde 42,851571, Kyungu Health Centre III bafuna obukadde  20,668,852, Nantabuulirirwa Health Centre III bafuna 20,668,852, Nyanja - Kojja Health Centre IV bafuna obukadde 32,816,819, n’amalala.

Kyokka Sipiika wa disitulikiti Emmanuel Mbonye bwe yabuuziddwa lwaki bawa amalwaliro ag’obwannannyini ssente nnyingi ng’ate gabinika abalwadde ssente yagambye nti, y’ensonga lwaki baagala ssente zino zonna okuzizza mu ddwaaliro lya Mukono lye basuumusizza.

 oseph akibinge awakanya disitulikiti okweddiza eddwaaliro lyabwe kubanga babadde bafuba okulaba nti bajjanjaba nokugula ebintu byeddwaaliro ngate ssente babawa ntono Joseph Nakibinge, awakanya disitulikiti okweddiza eddwaaliro lyabwe kubanga babadde bafuba okulaba nti bajjanjaba n'okugula ebintu by'eddwaaliro ng'ate ssente babawa ntono

 

Omwaka oguwedde eddwaaliro lya Mukono lyasuumusibwa okuva ku Mukono Health Centre IV okutuuka ku Mukono Health Centre V era nga Pulezidenti ye yatema evvuunike okuzimba ekizimbe eky’emyaliriro esatu ekizimbibwa kati.

Eno y’entikko y’obutakkaanya wakati wa disitulikiti ne munisipaali era ng’omwaka oguwedde, Ssentebbe wa disitulikiti y’e Mukono, Andrew Ssenyonga bwe yali mu kkanso ya disitulikiti eyali ekubirizibwa Sipiika Emmanuel Mbonye bakansala baamugobya amannya ge yali asoma okukulira olukiiko olufuga eddwaaliro lino.

Abantu kye boogera ku nsonga z’eddwaaliro

Jimmy Kalinda, kkansala wa Ggulu: Twagala minisitule eveeyo erung’amye ku ngeri munisipaali ne disitulikiti gye bayinza okukwataganamu okuddukanya eddwaaliro lino kubanga buli omu yeetaaga munne.

 ansala immy alinda Kansala Jimmy Kalinda

 

Ben Muwonge, akiikirira omuluka gwa Bukeerere: Aba disitulikiti kirabika balina kye beekweseemu bwe kiba nga munisipaali eggyibwaako obuyinza waakiri tusigaleyo ng’eddwaaliro bwe libadde kuba era obujjanjabi abantu babadde babufuna bulungi. Aba disitulikiti balondeyo amalwaliro amalala basuumuse ago.

 ansala en uwonge Kansala Ben Muwonge

 

Ssentebbe wa LC1 Butebe, Richard Ali Waali: Twagala eddwaaliro lisigale nga liddukanyizibwa munisipaali kuba balikoleredde era ng’abatuuze kye twava tuwaayo n’ettaka ne tulyongera ku ddwaaliro.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

St14 220x290

Obululu bwa Stambic Uganda Cup...

Obululu bwa Stambic Uganda Cup bukwatiddwa

Got12 220x290

Emmotoka z'empaka zizzeeyo e Jinja...

Emmotoka z'empaka zizzeeyo e Jinja

Muhabati 220x290

Abawanguzi ‘b‘Omuhabati ku kizinga’...

NG’EBULA ennaku mbale Bukedde TV okutwala abawagizi baayo ku bizinga e Kalangala, abantu bakyagenda mu maaso n’okwetaba...

Untitled5 220x290

Owa B2C baamunaaza olweza ne lunoga...

OMUYIMBI w’ekibiina kya B2C, Peterson Ssali amanyiddwa nga Boby Lash akuze. Okumanya akuze n’okukookolima akookolima....

Luke 220x290

Mmotoka y’abagole egudde mu mugga...

MMOTOKA ebaddemu abagole n’abooluganda lwabwe 7 egudde mu mugga abantu bataano okuli n’abagole ne bafiiramu