TOP

Ab’obuyinza batadde amateeka amakakali ku kasasiro mu Mukono

By Musasi wa Bukedde

Added 23rd January 2020

Kasasiro mu kibuga Mukono yeeraliikirizza abakulembeze n'abatuuze ne basaba Gavumenti ebayambe

Kasasiro11webuse 703x422

Kasasiro ayiiriddwa ku luguudo oludda e Kayunga abatambuze we bavuganyiza n'emmotoka okuyita

Bya Madinah Sebyala

Abasuubuzi n'abatuuze mu kibuga Mukono, basattira lwa kasasiro abamazeeko emirembe nga buli wamu ayiibwaawo.

 mar uyima agamba kasasiro yeetaaga bipipa Umar Luyima agamba kasasiro yeetaaga bipipa

 Umaru Luyima, musuubuzi e Mukono agamba nti, abantu buli we basanga we bayiwa kasasiro  ekibeeraliikiriza nti, endwadde enkambwe zandibalukawo olw'obujama obuva mu kasasiro kyokka ng’atwala ekiseera kiwanvu nga tannayoolebwa.

Ayongerako nti, ku lugenda e Kayunga kasasiro bamuyiwa mu kkubo kyokka abamuyoola nga bamala wiiki nga tebalabiseeko.

Mukono yeetaaga ebipipa ne bamuyiwamu nga bwe balinda emmotoka emutwale kubanga asiiba ku nguudo ng’awunyirira abantu, aziba ekkubo era abantu n’emmotoka tewali we bayita naddala ku luguudo lw’e Kayunga n'oluliraanye Colline  Hotel

 eeya red agimu Meeya Fred Kagimu

 Meeya w'ekibuga Mukono, George Fred Kagimu bwe ku nsonga eno agamba nti, bamaze okumusalira amagezi nga bakolagana ne kkampuni emu etunda obuveera nga bagenda kubuguza abantu abalina kasasiro ku bbeeyi eya wansi bakung’aanyizeemu kasasiro nga bamusunsudde oyo asobola okuvunda n’ayinza okuddamu okukolebwamu ebintu ebirala.

Kino kigenda kukendeeza ku bungi bwa kasasiro ajjudde mu kibuga Mukono.

Yalabudde nti, omuntu anaagaana okugondera amateeka gano waakuvunaanibwa mu mateeka agafuga ekibuga Mukono.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sam2 220x290

Sam Mukasa ayingidde goloofa ye...

Yiino goloofa ya Sam Mukasa eyogeza banne obwama!

8714805438505141082996706452061019224145920o 220x290

Museveni ne Kagame basisinkanye...

Kyaddaaki Pulezidenti Museveni ne mukulu munne owa Rwanda, Paul Kagame beefumbye akafubo ku nsalo ya Uganda ne...

Kasa 220x290

Maama kalimunda tonyiga bbebi ennyindo...

ONO maama kalimunda tatya kunyiga bbebi nnyindo olw’engeri gy’akulukuunya olubuto lwe ku musajja.

Omukyalangaatudde 220x290

Laba byana biwala ebyanywa amata...

Bw’oba otambula, osanga ebyana ebitambulira mu bibinja nga byesaze obugoye obukulengeza ‘waaka’ nga ‘n’ebithambi’...

Firimu 220x290

Eyali asoma obwafaaza alumbye Mbarara...

FERDINAND Lugobe Pike eyabulako akatono okufuuka omusosodooti ayingidde ekisaawe ky’okuzannya Ffirimu.