TOP

Ab'e Kansanga beeraliikirivu olw'omwala

By Musasi wa Bukedde

Added 23rd January 2020

Abatuuze e Kansanga mu Makindye beeraliikirivu olw'omwala ogwasalamu ekkubo gwe bagamba nti gwandigwaamu abaana baabwe

Omwala2webuse 703x422

Omumyuka wa ssentebe, John Yiga ng'alaga omwala abantu gwe baagala abakulembeze babayambeko okuzimba

Bya Benjamin Ssemwanga

Abatuuze b’e Kansanga mu zooni ya Kiggundu mu munisipaali y’e Makindye basaba kuyambibwa abakulembeze abavunaanyizibwaako okubakolera ku mwala mu kitundu kino ogwakutulamu n’oluguudo olubagatta ku bitundu ebiriraanyeewo.

 sentebe oman seruge ngayogerako eri abatuuze ku nsonga yomwala Ssentebe Roman Sseruge ng'ayogerako eri abatuuze ku nsonga y'omwala

 Abatuuze bagamba nti, mu kaseera ng’enkuba etonnye emmotoka zaabwe ziba tezikyasobola kutambula era beeraliikirivu ne ku baana baabwe abayinza okugwa mu mwala guno mu kaseera  nga bazzeemu okusoma.

Stella Aleru, akulira poliisi ya Kansanga yategeezezza nti, kirungi abantu okuleeta ensonga zaabwe ezibaluma eri abakulembeze b’omu kitundu wabula beewale ebikolwa eby’okutwalira amateeka mu ngalo nga bagenda mu maaso n’okwekalakaasa olw’okuba ziba tezikoleddwaako.

Yabasabye babeere bagumiikiriza bagondere abakulembeze ng’ensonga zaabwe bwe zikolebwako.

Roman Sseruge, ssentebe wa zooni eno yasabye abantu  babeere bakkakkamu okusobola okugonjoola ensonga y’enguudo embi n’omwala era n’ategeeza nga bwe baategeeza abakulu ababasingako okusobola okutereeza omwala.

  tella leru ngayogera mu lukiiko lwabatuuze e ansanga OC Stella Aleru ng'ayogera mu lukiiko lw'abatuuze e Kansanga

 

Ibrahim Kagolola, RDC wa munisipaali y’e Makindye yategeezezza abantu baleme kulimbibwa bannabyabufuzi abeenoonyeza ebyabwe nti, omwala bagenda kugukolako olw’okuba banoonya okuganja naddala ng’ebiseera by’obululu bisembedde.


Yayongedde n’ategeeza nti, ensonga y’omwala gavumenti yamaze okuyisa embalirira y’okugukola era n’asaba abantu babeere bagumiikiriza kuba gavumenti yamaze okufuna ssente ez’okuguzimba.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

59148f0c79e3455bb2de95a2f1b5a89d 220x290

Ogwa Bajjo okunyiiza Museveni gugobeddwa...

Omulamuzi wa kkooti ya Buganda Road Stella Amabirisi agobye omusango ogubadde guvunaanwa omutegesi w'ebivvulu Andrew...

Top33 220x290

Aba FMU batongozza ez'oku ssande...

Aba FMU batongozza ez'oku ssande

Babe 220x290

Eyannimba okuba omuserikale anneefuulidde....

Nsobeddwa oluvannyuma lw’omusajja eyannimba nti muserikale wa tulafiki ku poliisi y’e Kanyanya okunfunyisa olubuto...

Funa 220x290

Mayinja ayogedde ku by'okufuna...

Mayinja bwe yatuukiriddwa yasoose kusambajja bimwogerwako nti yafuna ssente okulwanyisa People Power era n’ategeeza...

Dav11 220x290

Minisita w'ebyemizannyo asanyukidde...

Minisita w'ebyemizannyo asanyukidde abazadde abatatuulira bitone by'abaana