TOP

Bangoba mu kifaananyi lwa ndabika yange

By Musasi wa Bukedde

Added 20th February 2020

Bw’alyoka ne bukukwata ng’omaze okuwasa, wandiwasizza ggwe?”, bw’atyo omu ku mikwano gya Mugala bwe yamugamba ng’amulabye n’amagondogondo ku lususu wano ge baakazaako okwokebwa abalongo (Vitiligo).

Namagoye 703x422

James Mugala bw’afaanana. Wano ng’aliko by’annyonnyola.

 

 ugala nabamu ku bantu bakola nabo ku asser oad Mugala n’abamu ku bantu b’akola nabo ku Nasser Road.

 

BYA GRACE NAMATOVU 

Bw’alyoka ne bukukwata ng’omaze okuwasa, wandiwasizza ggwe?”, bw’atyo omu ku mikwano gya Mugala bwe yamugamba ng’amulabye n’amagondogondo ku lususu wano ge baakazaako okwokebwa abalongo (Vitiligo).

James Mugala 61, omutuuze w’e Busega-Kabaale mu munisipaali y’e Lubaga ng’akolera ku Nasser Printers’ House, ku Nasser Road mu Kampala yazaalibwa mu 1959 nga muddugavu era alina abaana.

Alombojja engeri obulamu bwe gye bw’akyukamu ng’akizudde nti, olususu lukuba amagondogondo: “Obuzibu buno bwantandika mu 1996, nga nasooka kumyuka mimwa era abantu baatandika okunsongamu emimwa bwe nnina siriimu kuba ebiseera ebyo ako ke kabonero abantu ke baali balabirako.

Era olw’okuba nnali ngaba omusaayi mu kkanisa, abantu ne mukyala wange bankaka okugenda nneekebeze ntegeere ekituufu ekinnuma. Nakizuula nti, teyali siriimu era omutima gwange gwaguma kyokka nasigala nneebuuza ekika ky’obulwadde obutali siriimu obuyinza okumyukiriza omumwa gw’omuntu.

Nga wayise ebbanga, nasalawo okugenda okulaba omusawo omukugu mu kujjanjaba endwadde z’olususu e Wandegeya eyantegeeza nti, nnina Vitiligo.

Nakaluubirirwa okukkiriza omusawo bye yahhamba kubanga abantu abamu bahhambanga nti, abalongo b’ewaffe be banjokya. Omusawo bwe yanyinyonnyola ebikwata ku mbeera eno na biki ebigireeta, namala ne mmukkiriza ate ne nzikiriza ne kye nali nfuuse.

OKUBOOLEBWA Nzijukira twalina okumanyagana mu kika era omukolo gwali munene ddala. Ebintu byonna byali bitambula bulungi okutuusa lwe baatuyita twekubise ekifaananyi.

Nali nsembera ne mpulira omuntu ahhamba mu lwatu nti, “Oyo Mugala simwagala mu kifaananyi kyange agende eri”, ebigambo ebyo nabiwulira ng’omuntu anaakufumita akaso ku mutima.

Byankosa era n’okutuusa olwaleero bwe mbijjukira binnyungula amaziga. Ekyasinga okunnuma kwe kuba nti, eyabyogera yali waaluganda ate nga musawo mutendeke gwe nali sisuubira kufulumya bigambo bizito bwe bityo.

Okuboolebwa abantu kyafuuka kyabulijjo kubanga nze nakkiriza embeera eno.

Oluusi bwe ntambula ne nsisinkana abantu abatandabangako banneekanga era abamu bansongamu emimwa.

Gye buvuddeko nali hhenda kulinnya mmotoka mu ppaaka empya, mba nnyingira bwe nti, omukyala gwe nalina okutuula naye ku kifo ekimu n’anneekanga n’asituka n’anviira ntuule ye afune awalala kubanga yali tayagala 14 Bukedde Lwakuna February 20, 2020 mmusemberere.

Kye nakola kwe kumuviira nange ne nfuna ekifo ekirala we ntuula. Kye nneebaliza Katonda kimu nti, yahhumya n’ampa obuvumu okubeera mu bantu.

Bwe nafuna obulwadde buno mu 1996, bakozi bannange baafuna okutya era abamu ne bampa n’amagezi okugendako mu basawo b’ekinnansi kyokka olw’okuba nali sibikkiririzaamu, saatawaana kugendayo wabula okweyunira abasawo abatendeke. Abasinga baatandika okukkiriza nti, teyali siriimu oluvannyuma lw’amagondogondo okumbuna omubiri.

Kati bammanyiira era abasinga bankazaako lya Muchina, Black American ne Muzungu. Nze ssentebe w’aboogezi b’oku mikolo mu ssaza ly’e Kyaddondo.

Emirimu gy’okwogera ku mikolo bagimpa olw’obukugu bwe njolesa mu kwogera. Nnina n’emikwano okuva mu mawanga amalala olw’okuba nnina obusobozi bw’okwogera ennimi ezisukka mu ssatu. Ebyo binkuumye ne mpulira nti, nange ngya mu bantu.

ENGERI GYE YEERABIRIRA Mugala yagambye nti, agoberera amateeka g’abasawo abakugu mu kujjanjaba ensusu.

l Yeewala ebbugumu era engoye enzirugavu tazeesembereza kuba omusawo yamutegeeza nti, likendeeza obutoffaali obukola langi y’olususu obuzaala ekirungo kya melanin. l Yeebikka enkofiira n’okwambala engoye ezimubikka.

Nnina n’empeke ze mmira okugeza ‘Predsol’ n’endala eziyamba omubiri okuddamu okukola obutoffaali obukola langi y’omubiri.

l Okulya ebibala, enva endiirwa, ebikoola by’emiti egy’obutonde omuli eby’emiyembe, amapeera, n’ebirala.

Afumba ebikoola n’anywa amazzi ga kiragala (Cholorophyll) agavaamu. vitiligo buva ku kuken deera kwa bwerin zi bwa mubiri Dr. Michael Katwere, omukugu mu kunoonyereza ku ndwadde n’ebyobulamu ku Medical Access e Nakasero agamba nti, Vitiligo bulwadde obugwa mu ttuluba ly’endwadde ezirumba omuntu ng’abaserikale abakuuma omubiri banafuye oba nga balumbiddwa.

Vitiligo alumba olususu lw’omuntu n’alukyusa langi ng’obutoffaali obukola langi y’olususu bulemererwa okukola ekirungo ekivunaanyizibwa ku langi.

Ekyewuunyisa ku Vitiligo, abaserikale abakuuma omubiri bennyini ate be bagulumba (kye yagambye nti, kikyanoonyerezebwako) okugunafuya.

Kino kye kivaako obutoffaali buli okulekera awo okuweereza ekirungo ekikola langi y’olususu.

Olususu lw’omuntu lutandika okwewaata nga lweruka ku bitundu okuli; emimwa, emikono, engalo, enviiri (zifuuka nga envi) n’ekitundu kyonna ekirala oba omubiri gwonna.

Buno bulwadde obusaana okwekenneenya n’okukwata n’obwegendereza kubanga omuntu asobola okubeerawo nabwo ssinga amanya enkwata yaabwo entuufu.

BUZIYIZIBWA OBA BUWONA? Kizibu okumatiza omuntu nti, obulwadde buno busobola okuziyizibwa kubanga ebintu byennyini ebivaako Vitiligo tebinnazuulibwa wadde ng’okunoonyereza mu basawo abakugu kukyagenda mu maaso.

Wabula, okubufuna kisoboka, naddala ng’ewammwe eriyo omuntu eyali abufunyeeko. Kiteeberezebwa nti, Vitiligo asobola okutanulwa ebintu ebyetoolodde omuntu.

Vitiligo era asobola okujjanjabibwa ssinga amulina abeera n’obugumiikiriza.

ENZIJANJABA l Enzijanjaba yaabwo eyinza okwetaaga ebizigo ebikakasiddwa abasawo ebimanyiddwa nga ‘Steroids’.

Bino babisiiga ku bitundu ebyo ebikoseddwa ku lususu lw’omuntu okumala ebbanga eritakka wansi wa myezi mukaaga.

l Omuntu asobola okweyambisa ebintu ebiyambako okuzimba abaserikale abakuuma omubiri wadde nakyo kyetaaga ebbanga.

l Enkola endala ye y’okukalirira omuntu nga bakozesa amasannyalaze agayamba okulwanyisa obuwuka obutta obutoffaali obuleeta langi y’olususu.

l Okufumba olususu / okulubugumya: Edda abaganda baalina enkola y’okuteeka omwana nnamagoye eyaakazaalibwa mu kifo we baggye eryato mwe basogolodde omwenge era ebbugumu eryo lyayambanga omwana oyo okuddugalamu n’alema kulabika nnyo nga nnamagoye nga n’omusana tegumukosa nnyo.

l Waliyo n’ebizigo ebibuzaabuza langi eyo n’eterabika, wabula esobola okuleeta kookolo.

ENJAWULO WAKATI WA VITILIGO N’OBWANNAMAGOYE

l Nnamagoye bamuzaala talina kirungo kikola langi ya lususu.

Kitegeeza nti, omubiri gwe teguba na busobozi buzaala butoffaali obukola langi eno.

Alina Vitiligo abeera ne langi y’olususu lwe mu kuzaalibwa kyokka bwe wayita ebbanga, obutoffaali bulumbibwa olwo ne bulekera awo okukola ekirungo kino ekivaako olususu lw’omuntu okweruka.

ABAZAALIBWA N’EMBEERA ENO Dr. Katwere agamba nti, waliwo embeera ng’omukazi azadde abaana abalina obulwadde buno.

Kino tabeera Vitiligo kubanga ate ekiseera bwe kigenda kiyitawo n’amanyiira embeera emwetoolodde, afuna langi ye ey’obuzaale.

Embeera eno eyitibwa ‘Idiopathic Hypomelanosis’.

BY’OBA OMANYA KU VITILIGO 1 Temusosola muntu alina bulwadde buno kubanga kivaako ababulina okwekyawa, okweraliikirira ekisusse n’okwenyiwa.

2 Vitiligo tasaasaanyizibwa mu mpewo era takwata aliraanye amulina.

3 Vitiligo asobola okuweweezebwa ssinga abulina yeeyunira abakugu mu kujjanjaba ensusu.

4 Abalina obulwadde buno bantu ng’abalala tebasaana kwenyinyalwa. Mariam Namuyomba: Mu kusooka nali mmanyi nti, babeera balongo nga be bookezza omuntu naye bwe nakula ne nkizuula nti, omuntu abeera alina ekirungo mu mubiri gwe ky’atalina.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mknmu21 220x290

Ababadde batwala omulambo batuuyanye...

Abatuuze ku kyalo Nassuuti mu munisipaaali y’e Mukono baasitaanye okufuna ebiwandiiko ebitambuza omulambo gwa munnaabwe...

1bc8d9398e5f4a07a3307fdfeb1d90ad 220x290

Kasujja omukulu w'ekika ky'Engeye...

OMUTAKA Hajj Mohamood Minge Kibirige Kasujja abadde akulira ekika ky’engeye obulwadde bwa sukaali ne puleesa bimugye...

Mkncov11 220x290

Ab’e Mukono batandise ekifo aw’okukuumira...

Ab’e Mukono batandise ekifo aw’okukuumira abateeberezebwa okuba ne Coronavirus

414009d1dd2349e0bd6b4678886a42d21 220x290

Kabaka awaddeyo obukadde 100 okuyamba...

KABAKA Ronald Muwenda Mutebi II addukiridde Bannayuganda n’obuyambi obw’enjawulo obubalirirwa obukadde 100 ng’ensimbi...

Lop2 220x290

Omusumba Bp. Silvester Kisitu asabye...

Omusumba Bp. Silvester Kisitu asabye Bannayuganda okubeera abaweereza abalungi